Zekkaliya 2
2
1Ne nnyimusa amaaso gange ne ntunuulira; era, laba, omuntu ng'alina omugwa ogugera mu ngalo ze.#Ez 40:3 2Ne njogera nti, “Ogenda wa ggwe?” N'aŋŋamba nti, “ Okugera Yerusaalemi, ndabe obugazi bwakyo bwe buli n'obuwanvu bwakyo bwe buli.” 3Era, laba, malayika eyali ayogera nange n'avaayo ne malayika omulala n'avaayo okumusisinkana 4n'amugamba nti, “Dduka, mugambe omuvubuka oyo nti, ‘Yerusaalemi kijja kuba kibuga ekitaliiko bbugwe olw'obungi bw'abantu n'ebisibo ebinaabeeramu.#Es 9:19, Is 49:19 5Kubanga nze ndiba ku kyo bbugwe ow'omuliro enjuyi zonna era ndiba kitiibwa wakati mu kyo, bw'ayogera Mukama.’ ”#Zab 125:2, Is 4:5 6Mukale, mukale, mudduke muve mu nsi ey'obukiikakkono, bw'ayogera Mukama; kubanga ng'empewo ennya ez'eggulu bwe ziri, bwe mbasaasaanyizza, bw'ayogera Mukama.#Is 48:20, Ez 5:10 7Kale, Sayuuni, dduka owone, ggwe atuula n'omuwala wa Babbulooni. 8Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Oluvannyuma lw'ekitiibwa antumye eri amawanga agaabanyaga; kubanga abakomako mmwe akoma ku mmunye y'eriiso lye.#Ma 32:10, Yer 12:14 9“Kubanga, laba, ndibakunkumulirako omukono gwange ne baba mwandu gw'abaddu baabwe; nammwe munaamanya nga Mukama w'eggye ye yantuma.#Is 11:15; 19:16, Ez 33:33; 39:10 10Yimba, sanyuka, ggwe omuwala wa Sayuuni: kubanga, laba, njija nange nnaabeeranga wakati mu ggwe, bw'ayogera Mukama.#Leev 26:12, Ez 37:27, Zef 3:14,15, Zek 8:3 11Ku lunaku olwo amawanga mangi agalyegatta ne Mukama ne gafuuka bantu bange; nange nnaabeeranga wakati mu ggwe, naawe onootegeeranga nga Mukama w'eggye yantuma gy'oli.#Is 2:2 12Era Mukama alisikira Yuda, okuba omugabo gwe mu nsi entukuvu, era alyeroboza nate Yerusaalemi.”#Ma 32:9 13Musirike, abalina omubiri mwenna mu maaso ga Mukama; kubanga azuukuse mu kifo kye ekitukuvu mw'abeera.#Kaab 2:20
Currently Selected:
Zekkaliya 2: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.