Bible App logo
Search Icon

Tito 3

3
Abakkiriza okussa omwoyo ku bikolwa ebirungi
1Obajjukizenga okugonderanga abafuga n'abalina obuyinza, okuwuliranga, okubeera abeetegefu okukola omulimu omulungi, #1 Peet 2:13 2nga teboogera bubi ku muntu yenna, nga beewala okuyomba, abawombeefu, era nga bassaamu ekitiibwa abantu bonna.#1 Kol 6:11, Bef 2:2; 5:8 3Kubanga era naffe edda twali basirusiru, abatawulira, abalimbibwa, nga tuli baddu ba buli kwegomba okubi, n'ebinyumu ebitali bimu, nga tuli ba ttima era ab'obuggya, nga tukyayibwa abantu era nga tukyawagana ffekka na ffekka. 4Naye obulungi n'okwagala okw'ekisa okwa Katonda Omulokozi waffe bwe byalabika,#Tit 2:11, Nge 8:31 5n'atulokola, si lwa bikolwa bye twakola mu butuukirivu, wabula olw'okusaasira kwe, olw'okunaazibwa okw'okuzaalibwa omulundi ogwokubiri n'okufuulibwa abaggya Omwoyo Omutukuvu,#Bef 2:8,9; 5:26, Yok 3:5, 2 Tim 1:9 6gwe yatufukako mu bungi mu Yesu Kristo Omulokozi waffe;#Yo 2:28 7tulyoke tutukuzibwe olw'ekisa kye, era tufuuke abasika mu kusuubira obulamu obutaggwaawo.#Bar 3:24 8Ekigambo kino kyesigwa, ne ku bino njagala ggwe okukakasizanga ddala, abakkiriza Katonda bajjukirenga okussaako omwoyo ku bikolwa ebirungi. Ebyo birungi, era bigasa abantu: 9naye weewalenga empaka ez'obusirusiru, enkalala ez'endyo, ennyombo n'okuwakanira amateeka, kubanga tebiriiko kye bigasa so tebiriimu.#1 Tim 4:7 10Omuntu omukyamu, bw'omalanga okumubuulirira omulundi ogwolubereberye n'ogwokubiri, omwewalanga, #2 Yok 10, Mat 18:15,16 11ng'omanya ng'ali ng'oyo amaze okukyamizibwa era mwonoonyi; nga yeesalira yekka omusango.#1 Tim 6:4,5
Okumaliriza
12Bwe ntumanga Atema oba Tukiko gy'oli ofubanga okujja gye ndi mu Nikopoli, kubanga nsazeewo okubeera eyo mu biseera eby'obutiti. #2 Tim 4:12 13Fuba okwanguyaako Zeena munnamateeka ne Apolo, laba nga balina byonna bye beetaaga. #Bik 18:24, 1 Kol 3:5,6 14Era fubisa abantu baffe bayige okussangako omwoyo ku bikolwa ebirungi mu bigambo ebyetaagibwa, baleme okuba nga tebaabala bibala. #Tit 2:14, Mat 7:19, Bef 4:28,29
15Abali nange bonna bakulamusizza. Olamuse abatwagala mu kukkiriza.
Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.

Currently Selected:

Tito 3: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in