Oluyimba 7
7
Omusajja
1Ebigere byo nga birungi mu ngatto, ggwe omwana w'omulangira!
Ennyingo z'ebisambi byo ziri ng'eby'obuyonjo,
Omulimu ogw'emikono gy'omukozi omukabakaba.#Zab 45:13
2Ekkundi lyo kikompe kyekulungirivu,
kye bataddemu omwenge ogutabuddwamu ebiguwoomesa:
Olubuto lwo ntuumu ya ŋŋaano
Eyetooloddwa amalanga.
3Amabeere go gombi gali ng'abalongo ababiri
Abaana b'empeewo.#Lu 4:4,5
4Ensingo yo eri ng'ekigo eky'amasanga;
Amaaso go galinga ebidiba ebiri mu Kesuboni,
awali omulyango ogw'e Basulabbimu.
Ennyindo yo eri ng'ekigo eky'oku Lebanooni
Ekyolekera Ddamasiko.
5Omutwe gwo guli ku ggwe nga Kalumeeri,
N'enviiri ez'oku mutwe gwo ng'olugoye olw'effulungu;
Kabaka asikirizibwa emivumbo gyazo ne gimusiba.
6Ng'oli mulungi, mubalagavu,
Ayi gwe njagala, olw'okusanyusa!
7Obuwanvu bwo buno buli ng'olukindu,
N'amabeere go ng'ebirimba by'ezabbibu.
8N'ayogera nti N'alinnya mu lukindu olwo,
Naakwata amatabi gaalwo;
Amabeere go gabe ng'ebirimba eby'oku muzabbibu,
N'akawoowo k'omukka gwo ng'amacungwa;
9Ebigambo by'omu kamwa ko biri ng'omwenge ogusinga okuwooma,
Omukazi
Ogwo gwe mwenge ogusanidde okunywebwa muganzi wange,
Nga guyita mu mimwa gye n'amannyo ge biryoke byenuguune.
10Nze ndi wa muganzi wange,
Naye yeegomba nze.#Zab 45:11, Lu 2:16
11Jjangu, muganzi wange, tufulume mu nsiko;
Tusule mu byalo.
12Tugende mu nsuku z'emizabbibu ku makya;
Tulabe omuzabbibu oba nga gumulisizza, n'ekimuli kyagwo oba nga kyeyanjuluzza,
N'emikomamawanga oba nga gyanyizza:
Naakuweera eyo okwagala kwange.#Lu 2:13,15; 6:11
13Amadudayimu gawunya kaloosa,
Ne ku nzigi zaffe waliwo ebibala eby'omuwendo omungi eby'engeri zonna, ebiggya n'ebikadde,
Bye nkuterekedde, ayi muganzi wange.#Lub 30:14, Lu 4:13
Currently Selected:
Oluyimba 7: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.