Oluyimba 5
5
Omusajja
1Nzize mu nnimiro yange, omwagalwa, mugole wange;
Nnoze mooli yange n'eby'akaloosa byange;
Ndidde ebisenge byange eby'enjuki n'omubisi gwange;
Nnywedde omwenge gwange n'amata gange.
Abakazi
Mulye, mmwe ab'omukwano;
Munywe, weewaawo, mukkute, mmwe baganzi bange.#Lu 4:11,16; 6:2, Yok 3:29
Oluyimba olwokuna
Omukazi
2Nnali neebase, naye omutima
gwange nga gulaba:
Ne mpulira eddoboozi lya muganzi wange,
nga akonkona ku luggi ng'ayogera nti:
Omusajja
Nzigulira, omwagalwa, gwe njagala, ejjiba lyange, owange ataliiko bbala:
Kubanga omutwe gwange gutobye omusulo,
Emivumbo gy'enviiri zange gitobye amatondo g'omusulo ag'ekiro.#Lu 4:7
Omukazi
3Nnyambudde ekizibawo kyange;
nnaakyambala ntya?
Nnaabye ebigere, nnaabyonoona ntya?#Luk 11:7
4Muganzi wange n'ayingiza omukono gwe awali ekituli eky'omu luggi,
Omwoyo ne gunnuma ku lulwe.
5Ne ngolokoka okuggulirawo muganzi wange;
Emikono gyange ne gitonnya mooli,
N'engalo zange nga zitonnya mooli ekulukuta,
Ku mikonda egy'ekisiba eky'oluggi.
6Ne nzigulirawo muganzi wange;
Naye muganzi wange yali nga yagenze dda, ng'avuddewo.
Bw'ayogedde omwoyo gwange ne guntyemuka,
Ne mmunoonya, naye ne ssiyinza kumulaba;
Ne mmuyita, naye n'atanziramu.#Nge 1:28, Lu 3:1
7Abakuumi abatambulatambula mu kibuga ne bandaba,
Ne bankuba ne banfumita;
Abakuumi babbugwe ne banziggyako omunagiro gwange.#Lu 3:3
8Mbalayiza, mmwe abawala ba Yerusaalemi,
bwe munaalaba muganzi wange,
Mumubuulirenga ng'okwagala kugenda kunzita.#Lu 2:5,7
Abakazi
9Muganzi wo kye ki okusinga omulala,
Ggwe akira abakazi bonna obulungi?
Muganzi wo kye okusinga omuganzi omulala,
N'okutulayiza n'otulayiza bw'otyo?
Omukazi
10Muganzi wange mulungi era mumyufu
Ali omu yekka mu bantu omutwalo.
11Omutwe gwe gulinga zaabu ennungi ennyo nnyini,
Emivumbo gy'enviiri ze gya masadde era middugavu nga nnamuŋŋoona.
12Amaaso ge gali ng'amayiba ku mabbali g'obugga obw'amazzi;
Agaanaazibwa n'amata era agaateekebwamu obulungi.#Lu 1:15
13Amatama ge gali ng'omusiri ogw'emiddo egy'akaloosa,
ng'ebifunvu ebimerako enva eziwunya obulungi,
Emimwa gye giri ng'amalanga,
nga gitonnya mooli ekulukuta.
14Emikono gye giri ng'empeta eza zaabu eziteekebwamu berulo,
Omubiri gwe guli ng'omulimu ogw'amasanga ogubikkiddwako safiro.
15Amagulu ge gali ng'empagi ez'amayinja amanyirivu ezisimbibwa ku binnya ebya zaabu ennungi:
Enfaanana ye eringa Lebanooni,
ewooma nnyo nnyini ng'emivule.
16Akamwa ke kalungi nnyo nnyini,
weewaawo, yenna wa kwagalwa.
Muganzi wange bw'ali bw'atyo,
era bw'ali bw'atyo mukwano gwange,
Mmwe abawala ba Yerusaalemi.#Zab 45:2
Currently Selected:
Oluyimba 5: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.