Engero 8
8
1Amagezi tegoogerera waggulu
N'okutegeera tekuleekaana okuwulirwa?#Nge 1:20,21; 9:3
2Ku butunnumba okumpi n'ekkubo,
Mu masaŋŋanzira g'enguudo.
3Ku mabbali g'emiryango awayingirirwa mu kibuga,
Galeekaanira ku nzigi abantu we bayingirira.
4“Mmwe abantu, mbakoowoola,
Mbayita mwenna abaana b'abantu.
5Mmwe abatalina magezi, muyige okwegendereza.
Nammwe abasirusiru, mubeerenga n'omutima ogutegeera.
6Muwulire, kubanga njogera ebigambo ebirungi ennyo.
Byonna bye njogera bya nsonga.
7Kubanga bye njogera bya mazima,
Soogera bya bulimba nakatono.#Zab 37:30
8Ebigambo byonna eby'omu kamwa kange biri mu butuukirivu;
Mu byo temuli kikyamu wadde ekikyukakyuka.
9Byonna byangu eri oyo ategeera,
Era bya nsonga eri oyo ayagala okumanya.#Nge 14:6
10Mwagale bye njigiriza okusinga ffeeza,
Era mwagale okumanya okusinga zaabu ow'omuwendo.#Zab 119:72,127, Nge 3:14
11Kubanga amagezi gasinga amayinja ag'omuwendo,
Tewali na kintu kyegombebwa ky'oyinza okugeraageranya nago.
12Nze magezi, nsangibwa mu bwegendereza.
Era nnoonya okumanya n'okuteesa.
13Okutya Mukama kwe kukyawa obubi;
Nkyawa amalala n'okwepanka,
N'okwogera eby'obulimba.#Zab 97:10, Nge 16:5,6
14Mbuulirira era nnina amagezi amatuufu.
Nnina okutegeera, nnina amaanyi.#Mub 7:19, Is 11:2
15Nnyamba bakabaka okufuga,
N'abafuzi okulagira eby'obwenkanya.#Bar 13:1
16Nnyamba abalangira okufuga,
N'abakungu, n'abalamuzi bonna ab'oku nsi.
17Njagala abo abanjagala;
N'abo abanyiikira okunnoonya balindaba.#1 Sam 2:30, Zab 91:14, Yok 14:21, Yak 1:5
18Obugagga n'ekitiibwa biri nange;
Obugagga obutuufu era obw'enkalakkalira.#Zab 112:3, Nge 3:16, Mat 6:33
19Ebibala byange bisinga zaabu obulungi,
Zaabu ow'omuwendo,
N'amagoba gange gasinga ffeeza omuyooyoote.#Yob 28:15
20Ntambulira mu kkubo ery'obutuukirivu,
N'ekkubo ery'obwenkanya.
21Abanjagala mbawa obugagga,
Ne njijuza amawanika gaabwe.
22Mukama yantonda ku ntandikwa ye mirimu gye,
Omubereberye w'omulimu gwe ogw'edda.#Zab 104:24, Nge 3:19, Yok 1:1, Bak 1:16,17
23Nnateekebwawo okuva emirembe n'emirembe, okuva ku lubereberye,
Ensi nga tennabaawo.#Yob 15:7, Zab 90:2
24Najja tewannabaawo nnyanja,
wadde ensulo ezireeta amazzi.
25Ensozi nga tezinnaba kussibwawo,
N'obusozi nze nnabusookawo.
26Katonda yali tannatonda nsi newakubadde ennimiro,
Wadde enfuufu embereberye ey'ensi.
27Bwe yali abamba eggulu, nnaliwo,
Bwe yali assaawo enkulungo mu buziba bwe nnyanja.
28Bwe yawanika ebire mu bbanga,
N'assaawo ensulo ez'ennyanja.#Lub 1:6
29Bwe yawa ennyanja ensalo yaayo,
Amazzi galemenga okubuuka ensalo zaayo,
Bwe yalamba emisingi gy'ensi:#Lub 1:9,10, Yob 26:10, Zab 104:5
30Kale nze nnamuli ku lusegere ng'omukoza.
Era bulijjo yansanyukiranga,
Nga ndigitira waali.#Yok 1:1,2
31Nga nsanyukira ensi ye n'ebigirimu,
N'essanyu lyange kwe kubeera n'abaana b'abantu.#Zab 16:3; 104:31, Is 45:18
32Kale nno, baana bange, mumpulirenga:
Kubanga balina omukisa abakwata bye mbagamba.#Zab 128:1, Luk 11:28
33Muwulirenga okuyigirizibwa mubenga n'amagezi,
So temugagaananga.
34Alina omukisa omuntu ampulira,
Abeera ku luggi lwange bulijjo,
Ng'alindirira ku mulyango gw'enju yange,#Nge 3:13
35Kubanga buli anzuula aba azudde obulamu,
Era alifuna okuganja eri Mukama.#Nge 3:18; 4:22, Yok 1:4; 17:3
36Naye oyo alemwa okunzuula, yeerumya yekka.
Bonna abankyawa, baba baagala kufa.”#Nge 15:32; 21:6
Currently Selected:
Engero 8: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: