Engero 7
7
1Mwana wange, okwatanga ebigambo byange,
Teweerabiranga biragiro byange.
2Kwatanga ebiragiro byange obeerenga omulamu.
Kuumanga bye nkuyigiriza ng'emmunye ey'eriiso lyo.#Ma 32:10, Nge 4:4
3Bisibenga ku mukono gwo,
Biwandiikenga mu mutima gwo.#Ma 6:8, Nge 3:3
4Gambanga amagezi nti, “Ggwe mwannyinaze,”
Oyitenga okutegeera ow'ekika kyammwe.
5Birikukuuma eri omukazi muk'omusajja,
N'eri buli mukazi asikiriza n'ebigambo bye ebiwoomerevu.#Nge 6:32
6Kubanga lumu nnalingiza,
Mu ddirisa ery'omu nnyumba yange,
7Ne ndaba mu batalina magezi,
Ne ntegereza mu balenzi,
Mwe nalabira omuvubuka atalina kutegeera.
8Yali atambula mu luguudo n'atuuka mu kakoona akaali okumpi n'ennyumba y'omwenzi,
N'akwata ekkubo eridda mu nnyumba y'omwenzi.
9Bwali obudde nga buwungedde,
Mu kizikiza eky'ekiro zigizigi.#Yob 24:15
10Omukazi n'amusisinkana,
Ng'ayambadde ebyambalo eby'omwenzi,
era ow'omutima omugerengetanya.
11Muyombi era mukakanyavu;
Nga tatereera waka,#1 Tim 5:13
12Oluusi ateegera mu nguudo,
oluusi mu bifo ebyalukale,
Era ateegera ku buli mugguukiriro.
13Awo n'agwa omuvubuka mu kifuba, n'amunywegera,
N'amugamba ng'amusimbye amaaso nti:
14“Mpaddeyo ssaddaaka,
Leero mmaze okusasula obweyamo bwange.#Leev 7:11, Zab 50:14
15Kyenvudde nfuluma okukusisinkana,
nfubye okukunoonya era nkulabye.
16Obuliri bwange maze okubwala,
N'essuuka ez'ebikuubo eza ppamba w'e Misiri.#Nge 31:22, Is 19:9
17Obuliri mbutaddemu ebyakawoowo,
Eby'obubaane n'omugavu n'eby'akaloosa ebirala.#Zab 45:8
18Jjangu tusule ffembi okukeesa obudde;
Twesanyuse n'okwagala.
19Kubanga baze tali ka,
Yatambula lugendo lwa wala:
20Yagenda n'ensimbi nnyingi nnyo.
Alikomawo omwezi nga gwa ggabogabo.”
21Amukkirizisa n'ebigambo bye ebirungi bingi,
Amuwaliriza okugenda naye olw'ebigambo bye ebiwoomerevu.#Zab 12:2
22Amangu ago amugoberera,
Ng'ente gye batwala okusala,
Oba ng'ensolo egwa mu mutego.
23Mw'eneefumitirwa akasaale efe.
Yali ng'ekinyonyi ekyanguwa okugwa mu kitimba.
Yali tamanyi nti afiirwa obulamu bwe.#Mub 9:12
24Kale nno, baana bange, mumpulirenga,
Era mussengayo omwoyo eri ebigambo bye mbagamba.
25Omutima gwo tegukyamiranga mu makubo ge,
Towabiranga mu mpenda ze.
26Kubanga yasuula bangi nga bafumitiddwa ebiwundu:
Abafiiridde ewuwe tobabala n'obamalayo.#Nek 13:26
27Ennyumba ye lye kkubo lyennyini eridda mu magombe
Kuba kusemberera kufa.#Nge 2:18; 5:5; 9:18
Currently Selected:
Engero 7: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

:
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.