YouVersion Logo
Search Icon

Engero 23

23
1Bw'otuulanga ku mmere wamu n'omukungu,
Wetegerezanga nnyo ebyo ebiteekeddwa mu maaso go.
2weefugenga nnyo,
Bw'oba nga oli muntu muluvu.
3Tolulunkaniranga byasava by'agabula;
aba ayagala kukugeza alabe bw'ofaanana.
4Teweekooyanga ng'okolerera obugagga,
Beeranga mugezi olemenga okwetawaanya ennyo.#Nge 3:5; 28:20, 1 Tim 6:9,10
5Oneekalirizanga amaaso ku ekyo ekitaliiwo?
Kubanga mazima obugagga bwefunira ebiwaawaatiro,
Ng'empungu ne bubuuka mu bbanga.#Nge 27:24
6Tolyanga mmere y'oyo alina eriiso ebbi,
So tolulunkaniranga byassava bye.#Ma 15:9, Zab 141:4, Nge 11:14; 28:22
7Kubanga nga bw'alowooza mu nda ye, bw'ali bw'atyo:
Lya, nywa, bw'akugamba;
Naye omutima gwe teguli wamu naawe.#Zab 12:2
8Ojja kusesema gy'olidde;
N'ebigambo byo ebirungi bijja ku kufa bwereere.
9Toyogeranga omusiru ng'awulira;
Kubanga ajja kunyooma eby'amagezi by'oyogera.
10Tojjululanga kabonero ka nsalo ak'edda;
So toyingiranga nnimiro za bamulekwa.#Nge 22:28
11Kubanga omununuzi waabwe wa maanyi;
Anaawozanga ensonga yaabwe naawe.#Nge 22:23
12Ssangayo omutima gwo eri okuyigirizibwa,
N'amatu go eri ebigambo eby'okumanya.
13Tolekanga kubuulirira omwana:
Kubanga okumukubako n'omuggo, tekijja kumutta.#Nge 13:24; 19:18
14Omukubanga n'omuggo,
N'owonya emmeeme ye mu magombe.
15Mwana wange, bw'obeera ow'amagezi,
nange nsanyuka.#Nge 29:3
16Weewaawo, emmeeme yange eneesanyuka,
Bw'onooyogeranga eby'ensonga.
17Omutima gwo gulemenga okukwatirwa obuggya abalina ebibi:
Naye obeerenga mu kutya Mukama okuzibya obudde:#Zab 37:1, Nge 28:14
18Kubanga mazima empeera weeri;
N'essuubi lyo teririmalibwawo.#Nge 24:14
19Mwana wange, wulira obeerenga n'amagezi,
Oluŋŋamyenga omutima gwo mu kkubo.#Nge 9:6
20Tobanga ku muwendo gw'abo abeekamirira omwenge;
Wadde mu abo abeevuubiika ennyama:#Nge 28:7, Is 5:11, Luk 21:34, Bef 5:18
21Kubanga omutamiivu n'omuluvu balituuka mu bwavu:
N'okubongoota kunaayambazanga omuntu enziina.#Nge 6:10,11
22Owuliranga kitaawo eyakuzaala,
So tonyoomanga nnyoko ng'akaddiye.#Nge 1:8; 30:17, Bef 6:1
23Gulanga amazima, so togatundanga;
Gulanga amagezi, okuyigirizibwa n'okutegeera.#Nge 4:5,7
24Kitaawe w'omutuukirivu anaasanyukanga nnyo:
N'oyo azaala omwana ow'amagezi anaamwenyumiririzangamu.
25Osaanye osanyusenga Kitaawo ne nnyoko,
Omukazi eyakuzaala ajaganyenga.
26Mwana wange, mpa omutima gwo,
Weetegerezenga amakubo gange.
27Kubanga omukazi malaaya lukonko luwanvu;
N'omukazi omwenzi bunnya bwa kanyigo.#Nge 22:14
28Akuteega ng'omunyazi,
Aleetera abasajja bangi obutaba beesigwa.#Nge 7:12
29Ani alaba obuyinike? Ani alaba ennaku? Ani alina ennyombo?
Ani alina okwemulugunya? Ani alina ebiwundu eby'obwereere?
Ani amyuse amaaso?#Lub 49:12
30Abo abalwawo ku mwenge;
Abo abagenda okunoonya omwenge ogwa buli kika.#Nge 9:2,5, Is 5:11,22
31Totunuuliranga mwenge nga gumyuse,
Bwe gwolesanga ebbala lyagwo mu kikompe,
Bwe gukka empola:
32Enkomerero guluma ng'omusota,
Gusonsomola ng'embalasaasa.#Yob 20:16
33Ojja kutandika okulaba ebitategeerekeka,
Otandike okwogera ebigambo eby'obubambaavu.
34Oliba ng'oyo agalamira wakati mu nnyanja,
Oba ng'oyo agalamira waggulu ku mulongooti.
35Olitandika okugamba nti, “Bankubye, ne ssirumwa;
Bankubye, ne ssiwulira:
Nnaazuukuka ddi,
nzireyo ngunoonye nate?”#Is 56:12, 2 Peet 2:22

Currently Selected:

Engero 23: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in