Engero 22
22
1Okulondawo erinnya eddungi, kusinga bugagga obungi.
Okuganja n'okwagalibwa kusinga okuba ne ffeeza ne zaabu.#Mub 7:1
2Omugagga n'omwavu balina ekibagatta,
Ye Mukama, bonna eyabatonda.#Nge 29:13, Yob 31:15
3Omuntu omutegeevu alaba akabi nga kajja, n'akeewala;
Naye abatalina magezi bagenda bugenzi ne bakagwamu.#Nge 14:16; 27:12
4Obugagga n'ekitiibwa n'obulamu
Ye mpeera ey'okwetoowazanga n'okutyanga Mukama.#Nge 21:20,21
5Amaggwa n'emitego, biri mu kkubo ery'omubambaavu:
Ayagala okukuuma obulamu bwe, abyewala.#Nge 21:23
6Manyiiza omwana omuto mu kkubo erimugwanira okutambuliramu,
Awo newakubadde nga mukadde talirivaamu.#Bef 6:4
7Omugagga afuga abaavu,
N'eyeewola aba muddu w'awola.
8Asiga obutali butuukirivu alikungula obuyinike:
N'omuggo ogw'obusungu bwe guliggwaawo.#Yob 4:8, Kos 10:13
9Alina eriiso erigabaagaba anaabanga n'omukisa;
Kubanga awa omwavu ku mmere ye.#Nge 19:17, Luk 14:13,14
10Gobanga omunyoomi, n'okuyomba kunaavangawo;
Empaka n'okuswala birikoma.#Nge 26:20
11Ayagala omutima omulongoofu,
n'okwogera eby'ekisa, afuuka mukwano gwa kabaka.#Nge 16:13, Mub 10:12
12Mukama yeekaliriza okulaba ng'amazima gakuumibwa;
Naye azikiriza enkwe z'abalimba.
13Omugayaavu ayogera nti, “Empologoma eri bweru,
Ejja kunzitira mu nguudo.”#Nge 26:13
14Akalimi k'omukazi atali wuwo, bunnya buwanvu:
Mukama gw'asunguwalidde aligwa omwo.#Nge 2:16; 23:27, Mub 7:26
15Kya butonde omwana omuto okukola eby'obusirusiru;
Naye okubonerezebwa, kubimuggyamu.#Nge 13:24
16Anyigiriza omwavu okwongera ku magoba ge,
N'oyo agabira omugagga, tebalirema kwavuwala.#Yob 20:19-23, Nge 28:22, Am 5:11
Enjogera asatu ez'amagezi (22:17—24:22)
17Tega okutu kwo owulire ebigambo eby'ab'amagezi,
Era ssaayo omutima gwo eri okumanya kwange.
18Kiba kirungi, singa osobola okubijjukira,
Era n'obijulizanga.
19Njagala oyige okwesiganga Mukama,
Kyenvudde mbikumanyisa ggwe leero.
20Nkuwandiikidde ebigambo asatu (30),
Ebirimu okulabula n'okumanya.
21Okukutegeeza ebituufu era eby'amazima;
Olyoke osobole okuddamu abo abaakutuma.#Luk 1:3,4
22Tonyaganga mwavu kubanga mwavu,
Era tonyigirizanga mwavu awasalirwa omusango.#Yob 5:4; 31:21, Zek 7:10
23Kubanga Mukama ye aliwoza ensonga yaabwe,
Era abo ababanyaga alibanyagako obulamu.#1 Sam 24:15, Nge 23:11, Yer 50:34
24Tokwananga muntu wa busungu:
Togendanga na muntu ow'ekiruyi:
25si kulwa ng'oyiga emize gye,
Ate n'olemwa okugivaamu.
26Tobanga omu ku abo abeeyama,
Okusasula amabanja ga balala.#Nge 6:1,2; 20:16
27Bw'olemwa okugasasula,
Batwala n'ekitanda ky'osulako.
28Tojjululanga kabonero ka nsalo ak'edda,
Bajjajjaabo ke baasimba.#Ma 19:14, Nge 23:10
29Olaba omuntu anyiikira mu mulimu gwe?
aliyimirira mu maaso ga bakabaka;
Taliyimirira mu maaso g'abakopi.#1 Sam 16:21, 1 Bassek 11:28; 12:6,8
Currently Selected:
Engero 22: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: