YouVersion Logo
Search Icon

Okubala 5

5
Okuggya abatali balongoofu mu Lusiisira
1Mukama n'agamba Musa nti, 2“Lagira abaana ba Isiraeri, baggye mu lusiisira buli mugenge, na buli muziku, na buli afuuse atali mulongoofu olw'okukoma ku kifudde.#Leev 13:45,46; 15:2; 21:1, Kubal 12:10,14; 19:11,13 3Abasajja n'abakazi munaabaggyangamu, munaabafulumyanga ebweru w'olusiisira; balemenga okwonoona olusiisira lwe ntuulamu wakati.”#Kuv 25:8; 29:45, Leev 26:11,12 4Abaana ba Isiraeri ne bakola bwe batyo, ne babafulumya ebweru w'olusiisira; nga Mukama bwe yagamba Musa.
Okuliwa olw'omusango
5Mukama n'agamba Musa nti, 6“Gamba abaana ba Isiraeri nti, Omusajja oba omukazi bw'anaakolanga ekibi kyonna ku muntu munne, ng'asobezza Mukama, era anaabangako omusango;#Leev 6:2,3 7kale anaayatulanga ekibi kye ky'akoze; era anaaliyiranga ddala byonna olw'omusango gwe, n'agattako n'ekitundu kyabyo ekyokutaano, n'abiwa oyo gw'azzizzaako omusango.#Leev 5:5; 6:5, Yos 7:19 8Naye gwe bazzaako omusango bw'aba nga yafa, ate nga talina wa luganda lwe olw'okumpi ayinza kuliyirwa, ekyo ekiriyibwa olw'omusango kinaabanga kya Mukama, ne kabona anaakitwalanga ne kiba kikye, ne kyongerwako endiga ennume eweebwayo nga ssaddaaka olw'okusonyiwa ebibi by'oyo eyazza omusango.#Leev 6:6,7 9Na buli kiweebwayo ekitukuvu abaana ba Isiraeri kye baleeta eri kabona, kinaabanga kikye.#Kubal 18:19 10Buli kintu kyonna ekitukuvu, omuntu ky'anaaleetanga eri kabona, kinaabanga kya kabona oyo gwe bakikwasizza.”#Leev 10:12,13
Ebinaakolebwanga ku mukazi atebeerezebwa bba okuba omwenzi
11Mukama n'ayogera ne Musa nti, 12“Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti, Omusajja yenna bw'anaateeberezanga mukazi we obutaba mwesigwa gyali, 13nga yeegasse n'omusajja omulala mu nkiso ne yeyonoona, so nga ne bba takimanyi era nga tewali muntu amusisinkanirizza okumulumiriza;#Leev 18:20, Yok 8:4 14bba bw'anaamukwatirwanga obuggya nga kituufu ng'omukazi ayonoonye, oba bw'anaamukwatirwanga obuggya nga sikituufu ng'omukazi tayonoonye, 15kale omusajja oyo anaatwalanga mukazi we eri kabona, n'amuweerayo ekiweebwayo eky'ekitundu eky'ekkumi ekya efa eky'obutta obwa sayiri. Takifukangako mafuta gonna, so takiteekangako mugavu; kubanga kye kiweebwayo eky'obutta olw'obuggya, ekijjukiza obutali butuukirivu.#Leev 2:1; 5:11, 1 Bassek 17:18, Ez 29:16 16Awo kabona anaamusembezanga, n'amuteeka mu maaso ga Mukama, 17kabona n'addira amazzi amatukuvu agali mu kibya n'agatabulamu enfuufu gy'ayodde wansi mu weema. 18Kabona n'ateeka omukazi mu maaso ga Mukama, n'amusumulula enviiri n'amukwasa mu ngalo ekiweebwayo eky'obutta eky'okujjukiza obuggya; era kabona anaakwatanga mu mukono gwe amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo. 19Awo kabona anaamulayizanga n'agamba omukazi nti, oba nga tewali musajja eyeegatta naawe, era nga tokyamanga eri obutali bulongoofu ng'ofugibwa balo, amazzi gano agakaawa, agaleeta ekikolimo tegaakukole kabi; 20naye oba nga wakyama, ng'ofugibwa balo, era ng'oyonoonese, era omusajja omulala atali balo nga yeegatta naawe, ganaakukolako akabi. 21Awo kabona anaalayizanga omukazi ekirayiro eky'ekikolimo, n'agamba omukazi nti, Mukama akufuule ekikolimo n'eky'okulabirako mu bantu bo, ng'akoozimbya ekisambi kyo, n'atumbiiza n'olubuto lwo;#Yer 29:22 22n'amazzi gano agaleeta ekikolimo ganaagenda mu byenda byo, ne gatumbiiza olubuto lwo, ne gakoozimbya ekisambi kyo. Omukazi n'addamu nti Amiina, Amiina.”#Ma 27:15, Zab 109:18
23“Awo kabona anaawandiikanga ebikolimo ebyo mu kitabo, n'abyozaako n'amazzi agakaawa; 24n'anywesa omukazi amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo; amazzi agaleeta ekikolimo ne gayingira mu ye ne gakaawa. 25Awo kabona anaaggyanga ekiweebwayo eky'obutta eky'obuggya mu mukono gw'omukazi, n'awuuba ekiweebwayo eky'obutta mu maaso ga Mukama, n'akitwala ku kyoto;#Leev 8:27 26kabona n'addira olubatu olw'obutta obuweebwayo, okuba ekijjukizo, n'abwokera ku kyoto, oluvannyuma n'anywesa omukazi amazzi ago.#Leev 2:2,9; 5:12 27Awo bw'anaamalanga okumunywesa amazzi, era bw'anaabanga ayonoonese, nga tabadde mwesigwa eri bbaawe, amazzi agaleeta ekikolimo ganaayingiranga mu ye ne gakaawa, n'olubuto lwe ne lutumbiira, n'ekisambi kye ne kikoozimba: n'omukazi anaabanga kikolimo mu bantu be.#Ma 28:37, Yer 24:9, Zek 8:13 28Era omukazi bw'anaabanga tayonoonese, nga mulongoofu; kale taabengako kabi konna, era anaasobolanga okuzaala abaana.” 29Eryo lye tteeka ery'obuggya, omukazi bw'aba ng'afugibwa bba bw'ataabenga mwesigwa n'ayonooneka; 30oba obuggya bwe bunaakwatanga omusajja, anaaleetanga mukazi we mu maaso ga Mukama, ne kabona anaakolanga byonna ng'etteeka bwe liri. 31Omusajja taabengako butali butuukirivu, naye omukazi oyo anaabangako obutali butuukirivu bwe.#Ez 18:4

Currently Selected:

Okubala 5: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Okubala 5