YouVersion Logo
Search Icon

Okubala 33

33
Olugendo lwonna okuva e Misiri okutuuka e Mowaabu
1Bino bye bifo Abaisiraeri bye baasiisiramu nga bali mu bibinja byabwe, bwe baava mu nsi y'e Misiri nga bakulemberwa Musa ne Alooni. 2Musa yawandiikanga, nga Mukama bwe yamulagira, ebifo bye baavangamu okweyongerayo mu lugendo lwabwe. Bino bye bifo bye baayitamu okuva mu kimu okutuuka mu kirala. 3Abaana ba Isiraeri ne basitula okuva e Lameseesi ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano, olw'omwezi ogwolubereberye, lwe lunaku olwaddirira Okuyitako, abaana ba Isiraeri ne bavaayo n'omukono gwa Mukama ogw'amaanyi ng'Abamisiri bonna balaba.#Lub 47:11, Kuv 12:2; 13:4; 14:8 4Abamisiri baali bakyaziika abaggulanda baabwe bonna, Mukama be yatta mu bo, n'alaga bw'ali ow'obuyiza okusinga bakatonda baabwe.#Kuv 12:12,29 5Abaana ba Isiraeri ne basitula okuva e Lameseesi, ne basiisira e Sukkosi.#Kuv 12:37 6Ne basitula okuva e Sukkosi, ne basiisira e Yesamu, ekiri ku mabbali g'eddungu.#Kuv 13:20 7Ne basitula okuva e Yesamu ne badda emabega okutuuka e Pikakirosi, ekyolekera Baalizefoni; ne basiisira okwolekera Migudooli.#Ma 3:12,13, Kuv 14:2 8Ne basitula okuva e Kakirosi, ne bayita wakati mu nnyanja ne bayingira mu ddungu; ne batambula olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu ery'e Yesamu, ne basiisira e Maala.#Kuv 14:22; 15:22,23 9Ne basitula okuva e Maala ne batuuka e Erimu. Era mu Erimu waaliwo enzizi z'amazzi kkumi na bbiri (12), n'enkindu nsanvu (70); ne basiisira awo#Kuv 15:27 10Ne basitula okuva e Erimu, ne basiisira ku Nnyanja Emmyufu. 11Ne basitula okuva ku Nnyanja Emmyufu, ne basiisira mu ddungu Sini#Kuv 16:1 12Ne basitula okuva mu ddungu Sini, ne basiisira e Dofuka. 13Ne basitula okuva e Dofuka, ne basiisira e Yalusi. 14Ne basitula e Yalusi, ne basiisira e Lefidimu, awataali mazzi bantu ge bayinza kunywa.#Kuv 17:1 15Ne basitula okuva e Lefidimu, ne basiisira mu ddungu ly'e Sinaayi.#Kuv 19:1,2 16Ne basitula okuva mu ddungu ly'e Sinaayi, ne basiisira e Kiberosukataava.#Kubal 11:34 17Ne basitula okuva e Kiberosukataava, ne basiisira e Kazerosi.#Kubal 11:35 18Ne basitula okuva e Kazerosi, ne basiisira e Lisuma.#Kubal 12:16 19Ne basitula okuva e Lisuma, ne basiisira e Limoniperezi. 20Ne basitula okuva e Limoniperezi, ne basiisira e Libuna. 21Ne basitula okuva e Libuna, ne basiisira e Lisa. 22Ne basitula okuva e Lisa, ne basiisira e Kekerasa. 23Ne basitula okuva e Kekerasa, ne basiisira ku lusozi Seferi. 24Ne basitula okuva ku lusozi Seferi, ne basiisira e Kalada. 25Ne basitula okuva e Kalada, ne basiisira e Makerosi. 26Ne basitula okuva e Makerosi, ne basiisira e Takasi. 27Ne basitula okuva e Takasi, ne basiisira e Tera. 28Ne basitula okuva e Tera, ne basiisira e Misuka. 29Ne basitula okuva e Misuka, ne basiisira e Kasumona. 30Ne basitula okuva e Kasumona, ne basiisira e Moserosi. 31Ne basitula okuva e Moserosi, ne basiisira e Beneyakani.#Ma 10:6 32Ne basitula okuva e Beneyakani, ne basiisira e Kolukagidugada. 33Ne basitula okuva e Kolukagidugada, ne basiisira e Yotubasa.#Ma 10:7 34Ne basitula okuva e Yotubasa, ne basiisira e Yabulona. 35Ne basitula okuva e Yabulona, ne basiisira e Ezyonigeba.#Ma 2:8, 1 Bassek 9:26; 22:48 36Ne basitula okuva e Ezyonigeba, ne basiisira mu ddungu lye Zini e Kadesi.#Kubal 20:1 37Ne basitula okuva e Kadesi, ne basiisira ku lusozi Koola, oluliraanye ensi ya Edomu.#Kubal 20:25-28 38Alooni kabona, n'alinnya ku lusozi Koola, nga Mukama bwe yalagira, n'afiira eyo, ku lunaku olusooka mu mwezi ogw'okutaano, ogw'omwaka ogw'ana (40), okuva Abaisiraeri lwe baava mu nsi y'e Misiri. 39Era Alooni yali awangadde emyaka kikumi mu abiri mu esatu (123), bwe yafiira ku lusozi Koola. 40Kabaka w'e Kanani eyabeeranga mu Yaladi, mu bukiikaddyo ddyo bw'ensi eyo Kanani, n'awulira nti Abaisiraeri bajja.#Kubal 21:1 41Ne basitula okuva ku lusozi Koola, ne basiisira e Zalumona.#Kubal 21:4 42Ne basitula okuva e Zalumona, ne basiisira e Punoni. 43Ne basitula okuva e Punoni, ne basiisira e Yobosi.#Kubal 21:10 44Ne basitula okuva e Yobosi, ne basiisira e Iyeabalimu, ekiriraanye Mowaabu.#Kubal 21:11 45Ne basitula okuva e Iyimu, ne basiisira e Dibonugadi.#Kubal 21:30; 32:34 46Ne basitula e Dibonugadi, ne basiisira e Yalumonudibulasaimu.#Yer 48:22 47Ne basitula okuva e Yalumonudibulasaimu, ne basiisira ku nsozi za Abalimu, ezoolekera Nebo.#Kubal 27:12, Ma 32:49 48Ne basitula okuva ku nsozi ze Abalimu, ne basiisira mu nsenyi ze Mowaabu, ku Yoludaani okwolekera Yeriko.#Kubal 22:1 49Ne basiisira ku Yoludaani, okuva e Besuyesimosi okutuuka e Yaberisitimu mu nsenyi z'e Mowaabu.#Kubal 25:1
Ebiragiro ebyaweebwa abaana ba Isiraeri nga tebannasomoka Yoludaani
50Mukama n'agambira Musa mu nsenyi z'e Mowaabu ku Yoludaani okwolekera Yeriko nti, 51“Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti, ‘Bwe mulisomoka Yoludaani ne muyingira mu nsi ya Kanani,#Ma 9:1 52mugobangamu abantu bonna be mulisangamu, ne muzikiriza ebifaananyi byabwe ebyole ku mayinja n'ebiweeseddwa, ne musaanyawo n'ebifo byabwe byonna mwe basinziza ba katonda baabwe.#Kuv 23:24,31, Leev 26:1, Ma 7:2,5 53Mulyefuga ensi eyo, ne mugibeeramu, kubanga ngibawadde mmwe ebe yammwe. 54Muligigabana mu bika byammwe ne mu nnyumba za bajjajjammwe, nga mukuba kalulu, abangi nga mubawa ekitundu ky'ensi kinene, n'abatono ne mubawa kitono. Buli muntu akalulu we kalimuwa, we waliba awawe, ng'agabanira mu kika kye.#Kubal 26:53-54,55 55Naye bwe mutalikkiriza kugobamu abo abatuula mu nsi mu maaso gammwe; kale abo be mulirekamu, balibafuukira ng'enfuufu mu maaso gammwe, n'amaggwa agabafumita mu mbiriizi, era banaabatawanyanga mu nsi eyo gye mulibeeramu.#Yos 23:13 56Awo olulituuka, nga bwe nnali ndowooza okubakola bo, bwe ntyo bwe ndibakola mmwe.’ ”

Currently Selected:

Okubala 33: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Okubala 33