Okubala 31
31
Olutalo ku Bamidiyaani
1Mukama n'agamba Musa nti, 2“Woolera eggwanga ly'abaana ba Isiraeri ku Bamidiyaani olw'ebyo bye baakola abaana ba Isiraeri, oluvannyuma olyoke ofe.”#Kubal 25:17 3Musa n'agamba abantu nti, “Mulonde abasajja mu mmwe, mubawe eby'okulwanyisa, balwanyise Abamidiyaani bababonereze olw'ekyo kye baakola Mukama. 4Mulonde mu buli kika kya Isiraeri abasajja lukumi (1,000), mubatume okutabaala.” 5Awo ne balonda mu nkumi n'enkumi z'Abaisiraeri, abasajja lukumi (1,000) okuva mu buli kika, ne baweza abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), nga balina eby'okulwanyisa. 6Musa n'abasindika okutabaala, nga bakulembeddwa Fenekansi, mutabani wa Eriyazaali kabona, eyagenda n'ebintu eby'omu watukuvu, n'amakondeere ag'okufuuwa.#Kubal 10:9 7Ne balwana ne Midiyaani, nga Mukama bwe yalagira Musa; ne batta abasajja bonna.#Ma 20:13, Balam 21:11 8Mu abo abattibwa mu lutalo olwo, mwalimu ne bakabaka abataano Abamidiyaani bano: Evi, Lekemu, Zuuli, Kuula, ne Leeba. Era mwe battira ne Balamu mutabani wa Byoli.#Yos 13:21,22 9Abaana ba Isiraeri ne banyaga abakazi Abamidiyaani n'abaana baabwe abato; amagana g'ente, ebisibo by'endiga n'embuzi, n'ebintu ebirala byonna. 10N'ebibuga byabwe byonna mu bifo mwe baasulanga, n'ensiisira zaabwe zonna, ne ba byokya omuliro. 11Ne batwala omunyago gwonna gwe baafuna, omwali abantu n'ensolo.#Ma 20:14 12Ne baleeta omunyago eri Musa n'eri Eriyazaali kabona, n'eri ekibiina eky'abaana ba Isiraeri, ekyali mu lusiisira, mu nsenyi z'e Mowaabu eziri ku Yoludaani, okwolekera Yeriko.
Eggye lya Isiraeri likomawo
13Awo Musa ne Eriyazaali kabona, n'abakulu bonna ab'ekibiina ne bafuluma okusisinkana eggye lya Isiraeri ebweru w'olusiisira. 14Musa n'asunguwalira abakulu b'eggye abakulira enkumi n'abaami b'ebikumi, abaakomawo nga bava mu lutabaalo. 15Musa n'abagamba nti, “Abakazi bonna mubalese nga balamu?#Ma 2:34; 20:13-17, Yos 6:21; 8:25, 1 Sam 15:3 16Mujjukire nga baali bakazi abo mu mitawaana gye Peoli, abaagoberera amagezi ga Balamu, ne basendasenda Abaisiraeri obutaba beesigwa eri Mukama, bw'atyo kawumpuli n'ajja mu bantu ba Mukama.#Kubal 25:17 17Kale kaakano mutte buli mwana ow'obulenzi, era mutte buli mukazi eyali yeegasseeko n'omusajja.#Balam 21:11 18Naye abawala abakyali embeerera, temubatta, mubeesigalize. 19Era musigale ebweru w'olusiisira okumala ennaku musanvu. Buli eyatta omuntu yenna, oba eyakoma ku mulambo; mmwe mwenna n'abawambe bammwe mwerongoose ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw'omusanvu.#Kubal 5:2; 19:12,16 20Era mutukuze buli kyambalo, na buli kintu eky'eddiba, n'ebintu ebirala byonna ebyakolebwa mu byoya by'embuzi, era n'ebintu byonna eby'emiti.” 21Eriyazaali kabona n'agamba abatabaazi nti, “Bino bye biragiro Mukama byawadde Musa: 22Zaabu, feeza, ekikomo, ebbaati n'ekyuma ekizito, 23buli kintu ekiyinza okugumira omuliro, munaakiyisa mu muliro, ne kiryoka kiba ekirongoofu, naye era ne kitukuzibwa ne mu mazzi ag'okwetukuza. N'ebyo byonna ebitayinza kugumira muliro, munaabitukuza nga mubiyisa mu mazzi.#Kubal 19:9,17,18 24Era mulyoza engoye zammwe ku lunaku olw'omusanvu, ne muba balongoofu, oluvannyuma ne mulyoka muyingira mu lusiisira.”#Leev 11:25
Okugabanyaamu omunyago
25Mukama n'agamba Musa nti, 26“Ggwe ne Eriyazaali kabona, n'abakulembeze b'abantu, mubale omuwendo ogw'omunyago ogw'abantu era n'ensolo. 27Omunyago mugwawulemu ebitundu bibiri: ekitundu ekimu mukiwe abatabaazi abaatabaala, ekitundu ekirala mukiwe ekibiina ky'abantu abalala bonna abasigaddewo.#Yos 22:8, 1 Sam 30:24 28Ku mugabo gw'abatabaazi abaatabaala, onoosoloolezaako Mukama omusolo: omuntu omu ku buli bawambe bitaano (500). Era onookola bw'otyo ku nte, ku ndogoyi, ku mbuzi ne ku ndiga. 29Omusolo ogwo guggye ku mugabo gwabwe, oguwe Eriyazaali kabona, okuba ekiweebwayo ekisitulibwa, ekya Mukama. 30Ku mugabo ogw'Abaisiraeri abataatabaala, onoosoloozaako omuntu omu, ku buli bawambe ataano, era onookola bw'otyo ku nte, ku ndogoyi, ku mbuzi, ku ndiga ne ku nsolo endala zonna; obiwe Abaleevi abalabirira Eweema ya Mukama.”#Kubal 1:53 31Musa ne Eriyazaali kabona ne bakola nga Mukama bwe yabalagira 32Ebintu ebyasigalawo ku mugabo abatabaazi gwe baanyaga nga bamaze okuggyako omusolo gwa Mukama byali: endiga obusiriivu mukaaga mu emitwalo musanvu mu enkumi ttaano (675,000), 33ente emitwalo musanvu mu enkumi bbiri (72,000), 34endogoyi emitwalo mukaaga mu lukumi (61,000), 35n'abawala embeerera emitwalo esatu mu enkumi bbiri (32,000). 36Omugabo gw'abo abaatabaala gwali: endiga obusiriivu busatu mu emitwalo esatu mu kasanvu mu bitaano (337,500), 37n'omusolo gwa Mukama ogwasoloozeebwa ku ndiga gwali endiga lukaaga mu nsanvu mu ttaano; (675) 38ku nte emitwalo esatu mu kakaaga (36,000), omusolo gwa Mukama gwali ente nsanvu mu bbiri (72), 39ku ndogoyi emitwalo esatu mu bitaano (30,500), omusolo gwa Mukama, gwali nkaaga mu emu (61), 40ku bawala embeerera omutwalo gumu mu kakaaga (16,000), omusolo gwa Mukama gwali abawala asatu mu babiri (32). 41Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira; n'awa Eriyazaali kabona, omusolo ogwo gwonna, nga kye kiweebwayo ekisitulibwa ekya Mukama.#Kubal 18:8,19 42N'omugabo gw'ekibiina ky'abantu bonna Musa gweyayawulako gwali gwe nkanankana n'ogw'abatabaazi abaatabaala; 43endiga ez'abantu zaali obusiriivu busatu mu emitwalo esatu mu kasanvu mu bitaano (337,500), 44ente zaali emitwalo esatu mu kakaaga (36,000), 45endogoyi zaali emitwalo esatu mu bitaano (30,500), 46n'abawala embeerera omutwalo gumu mu kakaaga (16,000). 47Ku mugabo ogwaweebwa abantu, Musa n'aggyako omuntu omu ku buli bantu ataano (50), n'ensolo emu ku buli nsolo ataano (50), nga Mukama bwe yamulagira, n'abiwa Abaleevi abaalabiriranga Eweema ya Mukama.
Ebirabo abatabaazi bye baatonera Mukama
48Awo abakulembeze mu ggye ab'enkumi n'ab'ebikumi ne bajja eri Musa, 49ne bamugamba nti, “Ffe abaweereza bo tubaze abatabaazi be twakulembera, ne kutabulako n'omu. 50Kye tuvudde tuleeta ekirabo kya Mukama ku by'obuyonjo buli omu by'afunye: zaabu, emikuufu, emisagga, empeta eziriko obubonero n'ez'omu matu, ebikomo, okutangirira obulamu bwaffe mu maaso ga Mukama.”#Kuv 30:12 51Musa ne Eriyazaali kabona, ne babaggyako ezaabu, n'eby'obuyonjo byonna ebiweese. 52Ne zaabu yonna ey'ekiweebwayo ekisitulibwa abakulembeze b'enkumi n'ab'ebikumi gye baawaayo eri Mukama, yali eweza sekeri omutwalo gumu mu kakaaga mu lusanvu mu ataano (16,750). 53Abasajja abatabaazi baali beenyagidde ebintu, buli muntu ebibye.#Kubal 31:32, Ma 20:14 54Musa ne Eriyazaali kabona, ne batwala ezaabu abakulembeze b'enkumi n'ab'ebikumi gye baaleeta, ne bagissa mu weema ey'okusisinkanirangamu, ebeerenga ekijjukizo eri abaana ba Isiraeri mu maaso ga Mukama.
Currently Selected:
Okubala 31: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.