YouVersion Logo
Search Icon

Makko 16

16
Yesu azuukira
(Mat 28:1-8, Luk 24:1-9)
1Awo Ssabbiiti bwe yaggwaako, Malyamu Magudaleene ne Malyamu nnyina Yakobo, ne Saalome ne bagula eby'akaloosa, eby'okusiiga omulambo gwa Yesu.#Mat 28:1-8, Luk 24:1-12, Yok 20:1-10 2Awo bwe bwakya enkya ku lunaku olusooka mu wiiki, enjuba bwe yali yaakavaayo ne bajja ku ntaana. 3Awo baali beebuuzaganya bokka nti, “ Ani anaatuyiringisiza ejjinja okuliggya ku mulyango gw'entaana?” 4Awo bwe baatunuulira, ne balaba ejjinja nga liyiringisibbwa ku bbali ate nga lyali ddene nnyo. 5Awo bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omulenzi ng'atudde ku luuyi olwa ddyo, ng'ayambadde olugoye olweru, ne bawuniikirira. 6N'abagamba nti, “Temuwuniikirira: munoonya Yesu, Omunazaaleesi, eyakomererwa: azuukidde; tali wano: laba, ekifo we baamussa. 7Naye mugende, mubuulire abayigirizwa be ne Peetero nti, Abakulembedde okugenda e Ggaliraaya. Eyo gye mulimulabira nga bwe yabagamba.”#Mak 14:28 8Awo ne bafuluma ne bava ku ntaana nga badduka, kubanga okukankana n'okusamaalirira byali bibakutte: so ne batabuulirako muntu kigambo, kubanga baatya.
Ebisembayo
(16:9-20)
9Awo bwe yamala okuzuukira ku makya ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, n'asooka okulabikira Malyamu Magudaleene gwe yagobako dayimooni omusanvu.#Luk 8:2, Yok 20:11-18 10Oyo n'agenda n'abuulira abaayitanga naye, n'abasanga nga bakungubaga era nga bakaaba. 11Awo bo, bwe baawulira nga mulamu, ng'alabiddwa ye, ne batakkiriza.
Yesu alabikira abayigirizwa ababiri
(Luk 24:13-48)
12Ebyo bwe byaggwa n'alabikira bannaabwe babiri mu kifaananyi kirala, nga batambula nga bagenda mu kyalo.#Luk 24:13-35 13Awo abo ne bagenda ne babuulira bali abalala, naye nabo ne batabakkiriza.
Yesu alabikira Abayigirizwa be Ekkumi n'Omu
(Mat 28:19)
14 # Luk 24:36-49, Yok 20:19-23 Oluvannyuma n'alabikira ekkumi n'omu (11) nga batudde ku mmere; n'abanenya olw'obutakkiriza n'obukakanyavu bw'emitima gyabwe, kubanga tebakkiriza abaamulaba ng'amaze okuzuukira.#1 Kol 15:5 15N'abagamba nti, “ Mugende mu nsi zonna, mubuulire Enjiri eri ebitonde byonna. 16Akkiriza n'abatizibwa, alirokoka, naye atakkiriza omusango gulimusinga.#Bik 2:38 17Era obubonero buno bunaagendanga n'abo abakkiriza: banaagobanga emizimu mu linnya lyange; banaayogeranga ennimi empya;#Bik 16:18; 2:4,11; 10:46 18banaakwatanga ku misota, bwe banaanywanga ekintu ekitta, tekiibakolenga kabi n'akatono; banassangako emikono abalwadde, nabo banaawonanga.”#Luk 10:19, Bik 28:3-6, Yak 5:14,15
Yesu atwalibwa mu ggulu
(Luk 24:49-53, Bik 1:9)
19Awo Mukama waffe Yesu bwe yamala okwogera nabo, n'atwalibwa mu ggulu, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.#Luk 24:50-53, Bik 1:4-11, 1 Tim 3:16, Zab 110:1, Bik 7:55, 2 Bassek 2:11 20Bali ne bafuluma, ne babuulira wonna wonna, Mukama waffe ng'akoleranga wamu nabo era ng'anyweza ekigambo mu bubonero obwakiddiriranga. Amiina.#Beb 2:4

Currently Selected:

Makko 16: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in