Makko 15
15
Yesu mu maaso ga Piraato
(Mat 27:1,2,11-23, Luk 23:1-5,13-23, Yok 18:28—19:15)
1Awo amangwago bwe bwakya enkya, bakabona abakulu n'abakadde n'abawandiisi n'ab'omu lukiiko bonna ne bateesa, ne basiba Yesu, ne bamutwala, ne bamuwaayo eri Piraato.#Mat 27:1-2, Luk 22:66; 23:1, Yok 18:28 2Awo Piraato n'amubuuza nti, “ Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Yesu n'amuddamu nti, “ Kyoyogedde kye kyo.”#Mat 27:11-30, Luk 23:2-25, Yok 18:29—19:16 3Awo bakabona abakulu ne bamuloopa ebigambo bingi. 4Awo Piraato n'amubuuza nate, ng'agamba nti, “ Toyanukula n'akatono? Laba ebigambo bingi bye bakuloopa.” 5Naye Yesu n'ataddamu nate kigambo; Piraato n'okwewuunya ne yeewuunya.#Mak 14:61, Is 53:7
6Awo ku mbaga yabateeranga omusibe omu gwe baamusaba. 7Awo waaliwo omu ayitibwa Balaba, eyasibibwa n'abo abaajeema, abatta abantu mu kegugungo. 8Awo ekibiina ne kijja ne kitandika okusaba Piraato okubakola nga bwe yabakolanga. 9Awo Piraato n'abaddamu, nti, “Mwagala mbateere Kabaka w'Abayudaaya?” 10Kubanga yategeera nga bakabona abakulu baamuweesezzaayo buggya.#Yok 11:48; 12:19, Mat 21:38 11Naye bakabona abakulu ne bafukuutirira ekibiina babateere Balaba mu kifo kya Yesu. 12Awo Piraato n'addamu nate n'ababuuza nti, “ Kale nnaamukola ntya gwe muyita Kabaka w'Abayudaaya?” 13Awo ne boogerera waggulu nate nti, “ Mukomerere.” 14Awo Piraato n'abagamba nti, “Kazzi kibi ki ky'akoze?” Naye ne beeyongera nnyo okwogerera waggulu nti, “Mukomerere.”
Yesu akubibwa
(Mat 27:26-34, Luk 23:24-32, Yok 19:16-22)
15Awo Piraato bwe yali ayagala okusanyusa ekibiina, n'abateera Balaba, n'awaayo Yesu okukomererwa ng'amaze okumukuba. 16Awo abasserikale ne bamutwala munda mu luggya oluyitibwa Pulayitoliyo; ne bayita ekitongole kyonna okukuŋŋaana. 17Ne bamwambaza olugoye olw'effulungu ne baluka engule ey'amaggwa ne bagimutikkira; 18ne batandika okumulamusa nti, “Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya!” 19Ne bamukuba olumuli mu mutwe, ne bamuwandira amalusu, ne bafukamira, ne bamusinza. 20Awo bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulamu olugoye olw'effulungu, ne bamwambaza engoye ze, ne bamutwala ne bamufulumya okumukomerera.#Mat 27:31-56, Luk 23:26-49, Yok 19:16-30
Yesu akomererwa ku musalaba
(Mat 27:35-56, Luk 23:33-49, Yok 19:18,23-30)
21Ne bawaliriza omuntu eyali ayita, Simooni ow'e Kuleene, ng'ava mu kyalo, kitaawe wa Alegezanda ne Luufo, okugenda nabo okwetikka omusalaba gwe.#Bar 16:13 22Ne bamuleeta mu kifo Gologoosa, amakulu gaakyo, “Kifo kya kiwanga.” 23Ne bamuwa omwenge ogutabuddwamu envumbo: naye ye n'atagukkiriza.#Zab 69:21 24Awo ne bamukomerera, ne bagabana ebyambalo bye, nga babikubirako obululu, buli muntu ky'anaatwala.#Zab 22:18 25Awo essaawa zaali ziri ssatu, ne bamukomerera. 26Awo ebbaluwa ey'omusango gwe n'ewandiikibwa waggulu nti, “KABAKA w'Abayudaaya.” 27Era n'abanyazi babiri ne babakomerera wamu naye; omu ku mukono gwe ogwa ddyo, n'omulala ku gwa kkono. 28Olwo ekyawandiikibwa ne kituukirira, ekigamba nti, “N'abalirwa awamu n'abasobya.” 29Awo abaali bayita ne bamuvuma nga banyeenya emitwe gyabwe, nga bagamba nti, “So, ggwe amenya Yeekaalu n'ogizimbira ennaku essatu,#Zab 22:7; 109:25, Mak 14:58 30weerokole, ove ku musalaba.” 31Era bakabona abakulu ne baduula bwe batyo n'abawandiisi nabo ne bagamba nti, “ Yalokola balala; tayinza kwerokola yekka. 32Kristo Kabaka wa Isiraeri ave kaakano ku musalaba, tulyoke tulabe tukkirize.” Ne bali abaakomererwa naye ne bamuvuma.#Mat 16:1,4
33Awo essaawa bwe zaali ziri mukaaga ne waba ekizikiza ku nsi yonna okutuusa ku ssaawa ey'omwenda.#Am 8:9 34Awo mu ssaawa ey'omwenda Yesu n'akaaba n'eddoboozi ddene nti, “Eloi, Eloi, lama sabakusaani?” Amakulu gaakyo nti, “Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza?”#Zab 22:1 35Awo abamu ku abo abaali bayimiridde awo bwe baawulira ne bagamba nti, “Laba, ayita Eriya.” 36Awo ne wabaawo omu n'adduka, n'annyika ekyangwe mu nvinnyo enkaatuufu, n'akissa ku lumuli, n'amuwa okunywa, ng'agamba nti, “ Leka tulabe nga Eriya anajja okumuwanula.”#Zab 69:21 37Awo Yesu n'akaaba n'eddoboozi ddene n'awaayo obulamu. 38Awo n'eggigi ly'omu Yeekaalu ne liyulikamu wabiri, okuva waggulu okutuuka wansi. 39Awo omwami w'ekitongole eyali ayimiridde awo ng'amwolekedde bwe yalaba ng'awaddeyo obulamu bw'atyo, n'agamba nti, “ Mazima omuntu ono abadde Mwana wa Katonda.” 40Era waaliwo walako abakazi nga balengera: mu abo mwalimu ne Malyamu Magudaleene, ne Malyamu nnyina Yakobo omuto ne Yose, ne Saalome;#Luk 8:2,3 41abo bwe yali mu Ggaliraaya be baayitanga naye nga bamuweereza; n'abakazi abalala bangi abajja naye e Yerusaalemi.
Yesu aziikibwa
(Mat 27:57-61, Luk 23:50-55, Yok 19:38-42)
42Awo bwe bwawungeera, kubanga lwali lunaku lwa Kuteekateeka, lwe lunaku olusooka ssabbiiti,#Mat 27:57-61, Luk 23:50-55, Yok 19:38-42 43Yusufu ow'e Alimasaya, omukulu asibwamu ekitiibwa mu lukiiko olukulu, era eyasuubiranga yennyini obwakabaka bwa Katonda; n'aguma n'ayingira eri Piraato nga tatya, n'asaba omulambo gwa Yesu. 44Awo Piraato ne yeewuunya bw'afudde amangu, n'ayita omwami w'ekitongole n'amubuuza oba ng'ekiseera kiyiseewo yaakafiira. 45Awo bwe yakiwulira okuva eri omwami, n'awa Yusufu omulambo. 46Ye n'agula olugoye olw'ekitaani, n'amuwanula, n'amuzinga mu lugoye olw'ekitaani olwo, n'amussa mu ntaana eyasimwa mu lwazi, n'ayiringisiza ejjinja ku mulyango gw'entaana. 47Malyamu Magudaleene ne Malyamu nnyina Yose ne balaba we yateekebwa.
Currently Selected:
Makko 15: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: