Makko 14
14
Okubonyaabonyezebwa, okufa n'okuzuukira kwa Yesu
(14:1—16:8)
1Awo bwe waali wakyabulayo ennaku bbiri, embaga y'Okuyitako ne y'emigaati egitazimbulukusiddwa okutuuka, bakabona abakulu n'abawandiisi ne basala amagezi bwe banaamukwata bamutte;#Mat 26:1-5, Luk 22:1-2 2kubanga baagamba nti, “Si ku lunaku lwa mbaga, kubanga abantu bayinza okuleetawo akegugungo.”
Omukazi asiiga Yesu amafuta
(Mat 26:6-13, Yok 12:2-8)
3 #
Mat 26:6-13, Yok 12:1-8 Awo bwe yali mu Bessaniya mu nnyumba ya Simooni omugenge, ng'atudde ku mmere, omukazi eyalina eccupa ey'amafuta ag'omugavu ogw'omuwendo omungi ennyo n'ajja, n'ayasa eccupa, amafuta n'agafuka ku mutwe gwa Yesu.#Luk 7:36 4Naye waaliwo mu bo abamu abaasunguwala ne beebuuza nti, “ Amafuta gafudde ki bwe gatyo? 5Kubanga amafuta gano ganditundiddwa eddinaali bisatu (300) n'okusingawo ne ziweebwa abaavu.” Ne bamwemulugunyiza. 6Naye Yesu n'agamba nti, “Mumuleke; mumunakuwaliza ki? Ankoledde ekikolwa ekirungi. 7Kubanga abaavu be muli nabo bulijjo; na buli lwe mwagala muyinza okubakola obulungi: naye nze temuli nange bulijjo.#Ma 15:11 8Akoze nga bw'ayinzizza: asoose okufuka amafuta ku mubiri gwange nga bukyali okunziika. 9Mazima mbagamba nti Enjiri buli gy'eneebuulirwanga mu nsi zonna, kino omukazi ono ky'akoze kinaayogerwangako okumujjukira.”
Yuda ateekateeka okulya mu Yesu olukwe
(Mat 26:14-16, Luk 22:3-6)
10Awo Yuda Isukalyoti, eyali omu ku kkumi n'ababiri (12), n'agenda eri bakabona abakulu alabe bw'anaalyamu Yesu olukwe abamuwe.#Mat 26:14-16, Luk 22:3-6 11Awo bwe baawulira ne basanyuka, ne basuubiza okumuwa effeeza. N'anoonya ebbanga wanaamuliramu olukwe.
Okuteekateeka embaga ey'Okuyitako
(Mat 26:17-19, Luk 22:3-6)
12Awo ku lunaku olwasooka olw'embaga ey'emigaati egitazimbulukusiddwa kwe battira omwana gw'endiga ogw'Okuyitako, abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Oyagala tugende wa tutegeke gy'onooliira Okuyitako?”#Mat 26:17-19, Luk 22:7-13 13N'atuma ab'oku bayigirizwa be babiri, n'abagamba nti, “Mugende mu kibuga, anaasisinkana nammwe omusajja nga yeetisse ensuwa y'amazzi: mumugoberere; 14muyingire mu nnyumba mw'anaayingira, mugambe nnannyini nnyumba nti, ‘Omuyigiriza agambye nti, Ekisenge kiri ludda wa mwe nnaaliira Okuyitako n'abayigirizwa bange?’#Mak 11:3 15Anaabalaga ye yennyini ekisenge ekinene ekya waggulu ekitegeke era ekirongooseddwa, mututegekere omwo.” 16Awo abayigirizwa ne bagenda ne bajja ku kibuga, ne balaba nga bwe yabagambye: ne bategeka Okuyitako.
Yesu akwata Okuyitako n'abayigiriza be
(Mat 26:20-25, Luk 22:14-16, Yok 13:21-30)
17Awo bwe bwawungeera n'ajja n'ekkumi n'ababiri (12).#Mat 26:20-29, Luk 22:14-23, Yok 13:21-30 18Awo bwe baali batudde ku mmere, Yesu n'agamba nti, “ Mazima mbagamba nti Omu ku mmwe alya nange anandyamu olukwe.” #Zab 41:9 19ne batandika okunakuwala, n'okumubuuza kinnoomu nti, “Ye nze?” 20N'abagamba nti, “Omu ku kkumi n'ababiri (12) akoza nange mu kibya ye wuuyo. 21Kubanga Omwana w'omuntu agenda nga bwe kyamuwandiikwako: naye zirimusanga omuntu oyo alyamu olukwe Omwana w'omuntu! kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalibwa.”
Emmere ya Mukama waffe esibwawo
(Mat 26:26-29, Luk 22:17-23)
22Awo bwe baali balya, n'atoola omugaati, awo bwe yamala okwebaza n'agumenyamu, n'abawa, n'agamba nti, “Mutoole; guno gwe mubiri gwange.”#1 Kol 11:23-25 23Ate n'addira ekikompe, awo bwe yamala okwebaza, n'akibawa; ne bakinywako bonna. 24N'abagamba nti, “Guno gwe musaayi gwange ogw'endagaano, oguyiika olw'abangi.#Kuv 24:8, Zek 9:11 25Mazima mbagamba nti Sirinywa nate ku kibala ku muzabbibu, okutuusa ku lunaku luli lwe ndikinywa nga kiggya mu bwakabaka bwa Katonda.”
Yesu ategeeza Peetero nga bwanaamwegaana
(Mat 26:30-35, Luk 22:31-39, Yok 13:36-38)
26 #
Mat 26:30-35, Luk 22:31-34,39 Awo bwe baamala okuyimba oluyimba, ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni.#Zab 113—118 27Awo Yesu n'abagamba nti, “Muneesittala mwenna: kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Ndikuba omusumba, n'endiga zirisaasaana.’#Zek 13:7 28Naye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibakulembera okugenda mu Ggaliraaya.”#Mak 16:7 29Naye Peetero n'amugamba nti, “Newakubadde nga bonna baneesittala, naye si nze.” 30Yesu n'amugamba nti, “ Mazima nkugamba nti ggwe leero, ekiro kino, enkoko eneeba tennakookolima emirundi ebiri, ononneegaana emirundi esatu.”#Yok 13:38 31Naye ne yeeyongera nnyo okwogera nti, “Newakubadde nga kiŋŋwanira okufiira awamu naawe, siikwegaane n'akatono.” Era bonna ne bagamba bwe batyo.#Yok 11:16
Yesu mu lusuku e Gesusemane
(Mat 26:36-46, Luk 22:39-46)
32 #
Mat 26:36-46, Luk 22:40-46 Awo ne bajja mu kifo erinnya lyakyo Gesusemane: n'agamba abayigirizwa be nti, “Mutuule wano mmale okusaba.”#Yok 18:1 33N'atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana wamu naye, n'atandika okuwuniikirira n'okweraliikirira ennyo. 34N'abagamba nti, “ emmeeme yange eriko ennaku nnyingi, zigenda kunzita: mubeere wano, mutunule.”#Yok 12:27, Zab 43:5 35N'atambulako katono, n'avuunama n'asaba, oba nga kiyinzika, ekiseera kimuyiteko. 36N'agamba nti, “Aba, Kitange, byonna biyinzika gy'oli; nzigyako ekikompe kino; naye si nga nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw'oyagala.”#Mak 10:38 37Awo n'ajja, n'abasanga nga beebase, n'agamba Peetero nti, “Simooni, weebase? Tosobodde kutunula wadde essaawa emu bw'eti? 38Mutunule, musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa: omwoyo gwagala, naye omubiri munafu.” 39Nate n'addayo, n'asaba, n'ayogera ebigambo bye bimu na biri. 40N'akomawo nate, n'abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gakambira. Ne batamanya kya kumuddamu. 41N'ajja omulundi ogwokusatu, n'abagamba nti, “ Mwebakire ddala kaakano, muwummule: kinaamala; ekiseera kituuse; laba, Omwana w'omuntu aweebwayo mu mikono gy'abalina ebibi. 42Muyimuke, tugende; laba, andyamu olukwe anaatera okutuuka.”#Yok 14:31
Yuda alyamu Yesu olukwe
(Mat 26:47-56, Luk 22:47-53, Yok 18:1-11)
43Awo amangwago, bwe yali akyayogera, Yuda, omu ku kkumi n'ababiri (12), n'ajja n'ekibiina wamu naye abaalina ebitala n'emiggo, nga bava eri bakabona abakulu, n'abawandiisi n'abakadde.#Mat 26:47-58, Luk 22:47-55, Yok 18:2-18 44Yuda eyamulyamu olukwe yali abawadde akabonero nti, “Gwe nnaanywegera, nga ye wuuyo; mumukwate, mumutwale nga mumunywezezza.” 45Awo bwe yatuuka, amangwago n'ajja gy'ali n'agamba nti, “Labbi;” n'amunywegera nnyo. 46Ne bamussaako emikono gyabwe, ne bamukwata. 47Naye omu ku abo abaali bayimiridde awo n'asowola ekitala, n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu n'amusalako okutu. 48Awo Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Munjijiridde nga bwe mujjira omunyazi, n'ebitala n'emiggo okunkwata? 49Buli lunaku nnabeeranga nammwe mu Yeekaalu nga njigiriza, nga temwankwata: naye kino kikoleddwa, ebyawandiikibwa bituukirire.” 50Awo bonna ne bamwabulira ne badduka.
51Awo omulenzi omu n'amugoberera, eyali yeebikkiridde olugoye olw'ekitaani lwokka ku mubiri: ne bamukwata; 52naye n'abalekera olugoye olw'ekitaani, n'adduka bwereere.
Yesu mu maaso g'olukiiko
(Mat 26:57-68, Luk 22:54,55,63-65, Yok 18:12,18,24)
53Awo ne batwala Yesu eri kabona asinga obukulu. Bakabona abakulu bonna n'abakadde n'abawandiisi ne bakuŋŋaana. 54Awo Peetero n'agoberera Yesu ng'ali walako, n'atuuka munda mu luggya lwa kabona asinga obukulu, n'atuula n'abakuumi ng'ayota omuliro. 55Awo bakabona abakulu n'ab'omu lukiiko bonna ne banoonya obujulizi kwe banaasinziira okutta Yesu, naye ne bubula.#Mat 26:59-68, Luk 22:63-71, Yok 18:19-24 56Kubanga bangi abaaleeta obujulizi obw'obulimba ku ye, era obujulizi bwabwe bwali bukoonagana. 57Awo abamu ne bayimuka ne bamuwaayiriza, nga bagamba nti, 58“Ffe twamuwulira ng'agamba nti, ‘Ndimenya Yeekaalu eno eyakolebwa n'emikono, ne mu nnaku ssatu ndizimba endala etalikolebwa na mikono.’ ”#Yok 2:19; 4:21,23 59Era n'obujulizi obwo tebwakwatagana. 60Awo kabona asinga obukulu n'ayimirira wakati, n'abuuza Yesu, nti, “Ggwe toyanukula n'akatono? Kiki kye bakulumiriza bano?” 61Naye n'asirika busirisi, n'atayanukula n'akatono. Nate kabona asinga obukulu n'amubuuza nti, “Ggwe Kristo, Omwana w'oyo eyeebazibwa?”#Mak 15:5, Is 53:7 62Yesu n'agamba nti, “Ye Nze, nammwe muliraba Omwana w'omuntu ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi, ng'ajja n'ebire eby'eggulu.”#Dan 7:13, Zab 110:1 63Awo kabona asinga obukulu n'ayuza engoye ze, n'agamba nti, “Twetaagira ki nate abajulirwa? 64Muwulidde obuvvoozi bwe: mulowooza mutya?” Bonna ne bamusalira omusango ng'asaanira okufa.#Yok 19:7 65Awo abamu ne batandika okumuwandira amalusu, n'okumubikka mu maaso, n'okumukuba ebikonde n'okumugamba nti, “Lagula.” Abakuumi nabo ne bamutwala nga bamukuba empi.
Peetero yeegaana Yesu
(Mat 26:69-75, Luk 22:55-62, Yok 18:15-18,25-27)
66Awo Peetero bwe yali wansi mu luggya, omu ku bazaana bakabona asinga obukulu n'ajja;#Mat 26:69-75, Luk 22:56-62, Yok 18:27 67awo bwe yalaba Peetero ng'ayota omuliro, n'amutunuulira, n'amugamba nti, “Naawe wali n'Omunazaaleesi, Yesu.” 68Naye ye ne yeegaana ng'agamba nti, “ Simanyi, so sitegeera ky'oyogera.” N'agenda ebweru mu kisasi; enkoko n'ekookolima. 69Awo omuzaana n'amulaba, n'atandika era okubagamba abaali bayimiridde awo nti, “ Omusajja oyo omu ku bo.” 70Peetero n'ayongera okwegaana. Awo bwe waayitawo ekiseera kitono, abaali bayimiridde awo ne bagamba Peetero nate nti, “Mazima oli omu ku bo, kubanga oli Mugaliraaya.” 71Peetero n'atandika okukolima n'okulayira nti, “Simanyi muntu ono gwe mwogerako.” 72Amangwago enkoko n'ekookolima omulundi ogwokubiri. Awo Peetero n'ajjukira ekigambo Yesu bwe yamugambye nti, “Enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, ononneegaana emirundi esatu.”Awo Peetero n'atulika n'akaaba amaziga.#Mat 14:30
Currently Selected:
Makko 14: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.