YouVersion Logo
Search Icon

Makko 13

13
Obubonero bw'ekiseera eky'enkomerero
(Mat 24:1-26, Luk 21:5-24)
1Awo bwe yafuluma mu Yeekaalu, omu ku bayigirizwa be n'amugamba nti, “Omuyigiriza, laba, amayinja gano bwe gali, n'enzimba eno bw'eri.”#Mat 24:1-51, Luk 21:5-36 2Yesu n'amugamba nti, “ Olaba ebizimbe bino eby'ekitalo? Tewalisigala wano jjinja na limu ku linnaalyo eritalisuulibwa wansi.”
3Bwe yali atudde ku lusozi olwa Zeyituuni ng'ayolekedde Yeekaalu, Peetero ne Yakobo ne Yokaana ne Andereya ne bamubuuza mu kyama nti, 4“Tubuulire, ebyo biribaawo ddi? Era akabonero ki akalibaawo ng'ebyo byonna bigenda okutuukirira?” 5Yesu n'atandika okubagamba nti, Mwekuume, omuntu yenna tabakyamyanga. 6Bangi abalijja mu linnya lyange nga boogera nti, Nze nzuuyo; era balikyamya bangi. 7Awo bwe muwuliranga entalo n'ettutumo ly'entalo, temweraliikiriranga: kibigwanira okubaawo; naye enkomerero ng'ekyali. 8Kubanga eggwanga lirirumba ggwanga linnaalyo, n'obwakabaka obwakabaka bunnaabwo: walibaawo ebikankano mu bifo bingi; walibaawo enjala: ebyo lwe lubereberye lw'okulumwa.#Is 19:2, 2 Byom 15:6 9Naye mwekuume mwekka: kubanga balibawaayo mu nkiiko: mulikubirwa ne mu makuŋŋaaniro; era muliyimirira mu maaso g'abaamasaza ne bakabaka ku lwange, okubeera abajulirwa mu bo.#Mat 10:17-22, Luk 21:12-17 10Enjiri kigigwanira okumala okubuulirwa amawanga gonna.#Mak 16:15 11Era bwe babatwalanga okubawaayo, temusookanga kweraliikirira bwe munaayogera: naye kyonna kyonna kye muweebwanga mu kiseera ekyo, ekyo kye mwogeranga, kubanga si mmwe mwogera, wabula Omwoyo Omutukuvu. 12Ow'oluganda anaawangayo muganda we okumutta, ne kitaawe w'omwana anaamuwangayo; abaana banaajeemeranga abaabazaala, banaabassissanga.#Mi 7:6 13Munnaakyayibwanga bonna olw'erinnya lyange: naye agumiikiriza okutuusa enkomerero oyo ye alirokoka.#Yok 15:21
14 Naye bwe muliraba eky'omuzizo ekizikiriza nnabbi Danyeri kye yayogerako nga kiyimiridde awatakisaanira (asoma ategeere) kale abali mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi;#Dan 9:27; 12:4,10 15ali waggulu ku nju takkanga, so tayingiranga kuggyamu kintu mu nju ye: 16n'ali mu nnimiro taddanga kutwala lugoye lwe. 17Naye ziribasanga abaliba embuto, n'abaliba bayonsa mu nnaku ezo. 18Musabe bireme okutuukira mu kiseera eky'obutiti. 19Kubanga ennaku ezo ziriba za kulabiramu nnaku, nga tezibangawo bwe zityo kasookedde Katonda atonda ebyatondebwa okutuusa kaakano, era teziriddamu nate.#Dan 12:1, Yo 2:2 20Era singa Mukama teyasala ku nnaku ezo, tewandirokose muntu yenna, naye olw'abalonde be yalonda yazisalako. 21Mu biro ebyo omuntu bw'abagambanga nti Laba, Kristo ali wano; oba ali wali; temukkirizanga: 22kubanga bakristo ab'obulimba ne bannabbi ab'obulimba balijja, balikola obubonero n'ebyewuunyo, okukyamya, oba nga kiyinzika n'abalonde.#Ma 13:1 23Naye mwekuume mmwe: laba, mbabuulidde byonna nga tebinnabaawo.
24 Naye mu nnaku ezo, okulaba ennaku okwo nga kuwedde, enjuba erikwata ekizikiza, n'omwezi teguliwa kitangaala kyagwo, # Is 13:4 25n'emmunyeenye zirigwa okuva mu ggulu, n'amaanyi ag'omu ggulu galikankanyizibwa. 26Kale ne balyoka balaba Omwana w'omuntu ng'ajjira mu bire n'amaanyi amangi n'ekitiibwa.#Dan 7:13 27Awo n'alyoka atuma bamalayika be, alikuŋŋaanya abalonde be okuva mu mpewo ennya, okuva ku nkomerero y'ensi okutuusa ku nkomerero y'eggulu.#Zek 2:6, Ma 30:4, Mat 13:41
28 Era muyigire ku mutiini, ettabi lyagwo bwe ligejja n'amalagala ne gatojjera, mutegeera ng'omwaka guli kumpi; 29era nammwe bwe mutyo, bwe mulabanga ebyo nga bituuse, mutegeere ng'ali kumpi, ku luggi. 30Mazima mbagamba nti, Emirembe gino tegiriggwaawo n'akatono, okutuusa ebyo byonna lwe birituukirira. 31Eggulu n'ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo n'akatono.
32 Naye eby'olunaku olwo oba ekiseera ekyo tewali amanyi, newakubadde bamalayika abali mu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange. 33Mwekuumenga, mutunulenga, musabenga: kubanga temumanyi biro we birituukira. 34Ng'omuntu eyaleka ennyumba ye n'atambula mu nsi endala ng'awadde abaddu be obuyinza, buli muntu omulimu gwe, n'alagira omuggazi okutunula. 35Kale mutunule: kubanga temumanyi mukama w'ennyumba w'alijjira, oba kawungeezi, oba ttumbi, oba ng'enkoko ekookolima, oba nkya;#Luk 12:38 36si kulwa ng'akomawo amangwago n'abasanga nga mwebase. 37Era kye mbagamba mmwe mbagamba bonna nti, Mutunule.

Currently Selected:

Makko 13: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in