Makko 12
12
Olugero lw'Abalimi mu lusuku lw'emizabbibu
(Mat 21:33-46, Luk 20:9-19)
1 #
Mat 21:33-46, Luk 20:9-19 Awo Yesu n'atandika okwogerera nabo mu ngero ng'agamba nti, “ Omuntu yasimba olusuku lw'emizabbibu, n'alwetooloozako olukomera, n'asimamu essogolero, n'azimbamu ekigo, n'alupangisa abalimi, n'agenda mu nsi endala.#Is 5:1,2 2Awo omwaka bwe gwatuuka n'atuma omuddu eri abalimi, abalimi bamuwe ebibala by'emizabbibu gye. 3Ne bamukwata, ne bamukuba, n'addayo ngalo nsa. 4Ate n'abatumira omuddu omulala, oyo ne bamukuba olubale, ne bamuswaza. 5N'atuma omulala; oyo ne bamutta: n'abalala bangi; abamu nga babakuba, abalala nga babatta. 6Yali asigazzaawo omu yekka ow'okutuma, ye mutabani we omwagalwa, bw'atyo n'amutuma gyebali, ng'agamba nti, ‘Bajja kussaamu mutabani wange ekitiibwa.’ 7Naye abalimi bali ne bateesa bokka na bokka nti, ‘Ono ye musika, kale tumutte, n'obusika buliba bwaffe.’ 8Ne bamukwata, ne bamutta, ne bamusuula ebweru w'olusuku lw'emizabbibu.#Beb 13:12 9Kiki nannyini lusuku lw'emizabbibu kyalikola? Alijja, alizikiriza abalimi, n'olusuku lw'emizabbibu aliruwa balala.” 10Temusomanga n'akatono ekyo ekyawandiikibwa nti,
“Ejjinja abazimbi lye baagaana,
Eryo lyafuulibwa omutwe ogw'oku nsonda: #
Zab 118:22,23
11 Ekyo kyava eri Mukama,
Era kya kitalo mu maaso gaffe?”
12Ne basala amagezi okumukwata; ne batya ebibiina: kubanga baategeera ng'ageredde ku bo olugero olwo: ne bamuleka, ne bagenda. #Mat 22:15-22, Luk 20:20-26
Yesu abuuzibwa ku kuwa omusolo
(Mat 22:15-22, Luk 20:20-26)
13Ne batuma gy'ali ab'omu Bafalisaayo n'Abakerodiyaani okumutega mu bigambo.#Mak 3:6 14Awo bwe bajja, ne bamugamba nti, “ Omuyigiriza, tumanyi ggwe ng'oli wa mazima, so ebigambo by'omuntu yenna tobissaako mwoyo: kubanga tososola mu bantu, naye oyigiriza ekkubo lya Katonda mu mazima: kale kirungi okuwanga Kayisaali omusolo, nantiki si weewaawo? 15Tuwengayo, oba tetuwangayo?” Naye bwe yategeera bunnanfuusi bwabwe, n'abagamba nti, “ Munkemera ki? Mundeetere eddinaali, ngirabe.” 16Ne bagireeta. N'abagamba nti, “Ekifaananyi kino n'obuwandiikeko buno by'ani?” Ne bamugamba nti, “ Bya Kayisaali.” 17Yesu n'abagamba nti, “ Ebya Kayisaali mumuwenga Kayisaali, n'ebya Katonda mumuwenga Katonda.” Ne bamwewuunya nnyo.#Bar 13:7
Yesu bamubuuza ku by'okuzuukira
(Mat 22:23-33, Luk 20:27-40)
18Awo Abasaddukaayo, abagamba nti tewali kuzuukira, ne bajja w'ali; ne bamubuuza nti, #Mat 22:23-33, Luk 20:27-38 19“Omuyigiriza, Musa yatuwandiikira nti Muganda w'omuntu bw'afanga, n'aleka mukazi we, nga tazadde mwana, muganda we atwalanga mukazi we, n'azaalira muganda we abaana.#Ma 25:5,6, Lub 38:8 20Kale waaliwo ab'oluganda musanvu: ow'olubereberye n'awasa omukazi, n'afa, nga talese baana; 21ow'okubiri n'amuwasa, n'afa, era naye nga talese baana; n'ow'okusatu bw'atyo: 22bonna omusanvu ne bafa nga tebalesewo baana. Oluvannyuma bonna nga baweddewo n'omukazi n'afa. 23Kale bwe balizuukira aliba muka ani ku bo? Kubanga bonna omusanvu baamuwasa.” 24Yesu n'abagamba nti, “Si kyemuva mukyama nga temumanyi ebyawandiikibwa newakubadde amaanyi ga Katonda? 25Kubanga bwe balizuukira mu bafu tebaliwasa, so tebaliwayira; naye baliba nga bamalayika ab'omu ggulu. 26Naye eby'abafu okuzuukizibwa; temusomanga mu kitabo kya Musa ku Kisaka, Katonda bwe yamubuulira ng'agamba nti, ‘ Nze ndi Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo?#Kuv 3:2,6, Mat 8:11, Luk 16:22 27Si Katonda wa bafu, naye wa balamu,’ mukyama nnyo.”
Yesu abuuzibwa ku Tteeka ekkulu
(Mat 22:34-40)
28Awo omu ku bawandiisi n'ajja n'awulira nga beebuuzaganya bokka na bokka, n'amanya ng'abazzeemu bulungi, n'amubuuza nti, “ Tteeka ki ery'olubereberye ku gonna?”#Luk 10:25-28 29Yesu n'addamu nti, “ Ery'olubereberye lye lino nti, ‘Wulira Isiraeri; Mukama Katonda waffe, Mukama ye omu;#Ma 6:4,5 30era yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'obulamu bwo bwonna, n'amagezi go gonna, n'amaanyi go gonna.’#Yok 15:12 31Eryokubiri lye lino nti, ‘ Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ Tewali tteeka ddala erisinga ago obukulu.”#Leev 19:18 32Omuwandiisi n'amugamba nti, “Mazima, Omuyigiriza, oyogedde bulungi nga Katonda ali omu. So tewali mulala wabula ye:#Ma 4:35; 6:4 33n'okumwagala n'omutima gwonna, n'okutegeera kwonna, n'amaanyi gonna, n'okwagala muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka kusinga nnyo ebiweebwayo byonna ebiramba ebyokebwa ne ssaddaaka.”#1 Sam 15:22 34Awo Yesu bwe yalaba ng'amuzzeemu ng'omutegeevu, n'amugamba nti, “ Toli wala obwakabaka bwa Katonda.” Awo ne wataba muntu ayaŋŋaanga okumubuuza nate.#Bik 26:27-29
Yesu abuuza abakulembeze ku Kristo
(Mat 22:41-45, Luk 20:41-44)
35Yesu bwe yali ng'ayigiriza mu Yeekaalu n'abuuza nti, “Lwaki abawandiisi bagamba nti, Kristo mwana wa Dawudi?”#Mat 22:41-46, Luk 20:41-44 36Dawudi yennyini yagamba mu Mwoyo Omutukuvu nti,
“Mukama yagamba Mukama wange nti
Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo.” #
Zab 110:1, 2 Sam 23:2, Yok 7:42
37 Dawudi yennyini amuyita Mukama we, abeera atya omwana we? Ab'omu kibiina ne bamuwulira n'essanyu.
Yesu alabula abayigirizwa be
(Mat 23:1-14, Luk 20:45—21:4)
38Awo mu kuyigiriza kwe n'abagamba nti, “Mwekuume abawandiisi abaagala okutambula nga bambadde engoye empanvu, n'okulamusibwa mu butale,#Mat 23:1-39, Luk 20:45-47 39n'entebe ez'oku mwanjo mu makuŋŋaaniro n'ebifo eby'ekitiibwa mu mbaga; 40abalya ennyumba za bannamwandu, era abasaba ennyo mu bunnanfuusi; abo balizza omusango ogusinga obunene.”
Yesu asiima nnamwandu omwavu
(Luk 21:1-4)
41 #
Luk 21:1-4
Awo Yesu n'atuula okwolekera eggwanika, n'alaba ebibiina bwe bisuula ensimbi mu ggwanika: bangi abaali abagagga abaasuulamu ebingi.#2 Bassek 12:9 42Awo nnamwandu omu omwavu n'ajja, n'asuulamu ebitundu bibiri, ye kodulante. 43N'ayita abayigirizwa be, n'abagamba nti, “ Mazima mbagamba nti Nnamwandu ono omwavu asuddemu bingi okusinga bonna abasuula mu ggwanika: 44kubanga bonna basuddemu ku bibafikkiridde; naye oyo mu kwetaaga kwe asuddemu byonna by'ali nabyo, bwe bulamu bwe bwonna.”#2 Kol 8:12
Currently Selected:
Makko 12: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: