Matayo 22:37-39
Matayo 22:37-39 LBR
Yesu n'amuddamu nti, “Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'obulamu bwo bwonna, n'amagezi go gonna. Kino kye kiragiro ekikulu eky'olubereberye. N'eky'okubiri ekikifaanana kye kino nti Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.