Malaki Ennyanjula
Ennyanjula
Ekitabo kya Malaki kyawandiikibwa awo nga mu mulembe ogwokutaano nga Kristo tannazaalibwa, nga mu 430 BC. Ennyumba ya Mukama yali emaze okuzimbibwa obuggya mu Yerusaalemi. Nnabbi Malaki kyafubako, kwe kuyita bakabona n'abantu bonna okuddamu okuba abeesigwa mu kukuuma endagaano gye baakola ne Mukama. Abantu baali baddiridde mu kusinza Katonda, empisa zaabwe zaali zoonoonese; bakabona n'abantu bonna nga balyazaamaanya Katonda, era nga bagaana okuwaayo ebirabo bye bateekwa okumuwa, ne kimu eky'ekkumi, era nga bagaana okugoberera by'ayigiriza. Abantu baali basaana okusaamu Katonda ekitiibwa nga bawaayo ebiweebwayo ebituufu ebisaanira era ne kimu eky'ekkumi ku bintu byabwe. Malaki ategeeza abantu nti, Mukama alijja okusalira abantu be omusango, n'okubatukuza, ng'atuma omubakawe okumukulemberamu, okutegeka ekkubo, n'okulangirira endagaano ye. Malaki era alaga ekifaananyi ky'olunaku lwa Mukama kw'alisalira emisango.
Ebiri mu kitabo
I. Okwagala kwa Mukama (1:1-5).
II. Ebibi bya bakabona (1:6—2:9).
III. Ebibi bya Isiraeri (2:10—3:15).
IV. Ebisuubizo eri eggwanga (3:16—4:6).
Currently Selected:
Malaki Ennyanjula: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.