YouVersion Logo
Search Icon

Lukka Ennyanjula

Ennyanjula
Omuwandiisi w'Enjiri eno ye Lukka. Yali Muyonaani ate nga musawo (Bak 4:14). Yatambula nnyo n'Omutume Pawulo mu ŋŋendo ze Ez'okubuulira Enjiri nga bwakiraga mu kitabo ky'Ebikolwa by'Abatume era nakyo kye yawandiika (Bik 16:1-17; 20:5—21:18; 27:1—28:16). Enjiri yagiwandiika ng'ajanjulira omusajja mukwano gwe ayitibwa, Teefiro, nga amunnyonnyola n'obwegendereza ebyo byonna Yesu bye yakola. Lukka ayogera nnyo ku Yesu ng'Omwana w'Omuntu (19:10). Alaga Yesu ng'omulokozi w'abantu bonna aba buli ngeri. Nga Makko, Lukka naye asengeka bye yawandiika ku Yesu ng'agoberera ebitundu Yesu gye yatambuliranga ng'akola omulimu gwe.
Ebiri mu kitabo
I. Ennyanjula (1:1-4).
II. Eby'okuzaalibwa kwa Yesu (1:5—2:52).
III. Okwetegekera Yesu (3:1—4:13).
IV. Omulimu gwa Yesu mu Ggaliraaya (4:14—9:50).
V. Okwambuka e Yerusaalemi (9:51—19:28).
VI. Yesu mu Yerusaalemi (19:29—21:38).
VII. Okubonyaabonyezebwa, n'okuttibwa kwa Yesu (22:1—23:56).
VIII. Okuzuukira kwa Yesu (24:1-53).

Currently Selected:

Lukka Ennyanjula: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in