YouVersion Logo
Search Icon

Lukka 7

7
Yesu awonya omuddu w'omuserikale Omuruumi
(Mat 8:5-13)
1Awo bwe yamala okwogera ebigambo byonna bye yayagala okutegeeza abantu, n'ayingira mu Kaperunawumu.#Mat 8:5-13
2Awo waaliwo omwami w'ekitongole Omuruumi, omuddu we gwe yali ayagala ennyo, yali ng'alwadde ng'agenda kufa.#Yok 4:47 3N'oyo bwe yawulira ebigambo bya Yesu, n'atuma ku bakadde b'Abayudaaya gy'ali ng'amusaba okujja okulokola omuddu we. 4Nabo bwe baatuuka awali Yesu, ne bamwegayirira nnyo, ne bagamba nti, “Omusajja oyo asaanidde ggwe okumukolera ekyo; 5kubanga ayagala eggwanga lyaffe, era n'ekkuŋŋaaniro ye yalituzimbira.” 6Awo Yesu n'agenda nabo. Awo bwe yali ng'ali kumpi okutuuka ku nnyumba, omwami oyo n'atuma mikwano gye gy'ali, ng'amugamba nti, “ Ssebo, teweeteganya kujja, kubanga nze sisaanira ggwe kuyingira wansi wa kasolya kange: 7era kyenvudde nnema okwesaanyiza nzekka okujja gy'oli, naye yogera kigambo bugambo, n'omwana wange anaawona. 8Kubanga nange ndi muntu mutwalibwa, nga nnina basserikale be ntwala: bwe ŋŋamba omu nti Genda, agenda, n'omulala nti Jjangu, ajja, n'omuddu wange nti Kola kino, akikola.” 9Yesu bwe yawulira ebyo n'amwewuunya n'akyukira ebibiina ebyali bimugoberera n'agamba nti, “ Mbagamba nti Sirabanga kukkiriza kunene nga kuno newakubadde mu Isiraeri.” 10Awo abantu abaatumibwa bwe baakomawo mu nnyumba, ne basanga omuddu ng'awonye.
Yesu azuukiza mutabani wa nnamwandu
11Awo olwatuuka bwe waayitawo ebbanga ttono n'agenda mu kibuga ekiyitibwa Nayini; abayigirizwa be n'ekibiina kinene ne bagenda naye. 12Awo bwe yasembera ku wankaaki w'ekibuga, laba, omulambo nga gufulumizibwa ebweru, gwa mwana nnyina gwe yazaala omu, ne nnyina oyo nga nnamwandu; n'abantu bangi ab'omu kibuga omwo nga bali naye.#Luk 8:42, 1 Bassek 17:17 13Awo Mukama waffe bwe yamulaba n'amusaasira, n'amugamba nti, “ Tokaaba.” 14N'asembera n'akoma ku lunnyo: bali abaali beetisse ne bayimirira. N'agamba nti, “Omulenzi, nkugamba nti Golokoka.” 15Oyo eyali afudde n'agolokoka, n'atuula n'atandika okwogera. N'amuwa nnyina.#1 Bassek 17:23, 2 Bassek 4:36 16Bonna ne batya ne bagulumiza Katonda; nga bagamba nti, “ Nnabbi omukulu ayimukidde mu ffe: era Katonda akyalidde abantu be.”#Luk 1:68; 19:44 17N'ekigambo kye ekyo ne kibuna mu Buyudaaya bwonna ne mu nsi yonna eriraanyeewo.
Yokaana Omubatiza atuma ababaka eri Yesu
(Mat 11:2-19)
18Awo abayigirizwa ba Yokaana ne bamubuulira ebigambo ebyo byonna.#Mat 11:2-19 19Yokaana n'ayita babiri ku bayigirizwa be n'abatuma eri Mukama waffe, ng'agamba nti, “ Ggwe wuuyo ajja, nantiki tulindirire mulala?”#Zab 40:7; 118:26, Mal 3:1, Dan 9:26 20Awo abasajja abo bwe baatuuka gy'ali, ne bamugamba nti, “ Yokaana Omubatiza atutumye gy'oli ng'agamba nti Ggwe wuuyo ajja, nantiki tulindirire mulala?” 21Awo mu kiseera ekyo Yesu n'awonya bangi endwadde n'okubonaabona ne dayimooni, n'abazibe b'amaaso bangi n'ebazibula. 22Yesu n'addamu n'abagamba nti, “ Mugende, mubuulire Yokaana ebyo bye mulabye, ne bye muwulidde; abazibe b'amaaso balaba, abalema batambula, abagenge balongoosebwa, abaggavu b'amatu bawulira, abafu bazuukira, n'abaavu babuulirwa Enjiri.#Is 35:5; 61:1 23Era alina omukisa oyo atalinneesittalako.” 24Awo ababaka ba Yokaana bwe baamala okugenda n'atandika okwogera n'ebibiina ebifa ku Yokaana nti, “ Kiki kye mwagenderera mu ddungu okulaba? olumuli olunyeenyezebwa n'empewo? 25Naye kiki kye mwagenderera okulaba? Omuntu ayambadde engoye ezinekaaneka? Laba, abambala engoye ez'obuyonjo, abalya emmere ennungi, baba mu mpya za bakabaka. 26Naye kiki kye mwagenderera okulaba? Nnabbi? Weewaawo, mbagamba, era asingira ddala nnabbi.#Luk 1:76 27Oyo ye yawandiikibwako nti,”
“Laba nze ntuma omubaka wange mu maaso go,
Alirongoosa oluguudo lwo gy'ogenda.” # Mal 3:1
28 “Mbagamba nti mu abo abazaalibwa abakazi, temuli asinga Yokaana obukulu: naye omuto mu bwakabaka bwa Katonda ye mukulu okusinga Yokaana.” # Luk 1:15 29Abantu bonna, n'abawooza bwe baawulira ne bakkiriza Katonda okuba omutuukirivu, abo bonna abaabatizibwa mu kubatiza kwa Yokaana.#Luk 3:7,12, Mat 21:32 30Naye Abafalisaayo n'abayigiriza b'amateeka ne beegaana okuteesa kwa Katonda kubanga tebaabatizibwa Yokaana.#Bik 13:46 31Yesu n'ayongera n'agamba nti, “Kale abantu ab'emirembe gino n'abafaananya ki? Era balinga ki? 32Balinga abaana abatuula mu katale, nga bayitaŋŋana; ne bagamba nti Tubafuuyidde emirere ne mutazina; tukubye ebiwoobe, ne mutakaaba maziga. 33Kubanga Yokaana Omubatiza yajja nga talya mmere so nga tanywa mwenge; ne mugamba nti Aliko dayimooni.#Luk 15:2 34Omwana w'omuntu yajja ng'alya ng'anywa, ne mugamba nti Laba, omuntu omuluvu, omutamiivu, mukwano gw'abawooza era ogw'abalina ebibi! 35Era amagezi gaweebwa obutuukirivu olw'abaana baago bonna.”
Omukazi asiiga Yesu amafuta mu maka ga Simooni Omufalisaayo
36Awo Omufalisaayo omu n'ayita Yesu okulya naye. N'ayingira mu nnyumba ey'Omufalisaayo oyo n'atuula ku mmere.#Luk 11:37 37Kale, laba, omukazi eyali mu kibuga omwo, eyalina ebibi, bwe yamanya nga Yesu atudde ku mmere mu nnyumba ey'Omufalisaayo, n'aleeta eccupa ey'amafuta ag'omugavu,#Mat 26:7-13, Yok 12:3-8 38n'ayimirira emirannamiro ku bigere bye ng'akaaba, n'atandika okumutonnyeza amaziga ku bigere bye n'abisiimuula n'enviiri ez'oku mutwe gwe, n'anywegera ebigere bye n'abisiiga amafuta ago. 39Awo Omufalisaayo eyamuyita bwe yalaba, n'ayogera munda mu ye nti, “ Omuntu ono, singa abadde nnabbi, yanditegedde omukazi amukwatako bw'ali, era bw'afaanana, ng'alina ebibi.” 40Yesu n'addamu n'amugamba nti, “ Simooni, ndiko kye njagala okukubuulira.” N'agamba nti, “ Omuyigiriza, yogera.” 41“Waliwo omuntu eyawolanga, naye yalina b'abanja babiri; omu ng'abanjibwa eddinaali bitaano (500), n'omulala ataano (50). 42Awo bwe baali nga tebalina kya kumusasula n'abasonyiwa bombi. Kale ku abo alisinga okumwagala aluwa?” 43Simooni n'addamu n'agamba nti, “Ndowooza oyo gwe yasinga okusonyiwa ennyingi.” N'amugamba nti, “ Osaze bulungi.” 44N'akyukira omukazi oyo, n'agamba Simooni nti, “ Olaba omukazi ono? Nnyingidde mu nnyumba yo, n'otompa mazzi ga bigere byange: naye ono atonnyezza amaziga ge ku bigere byange, n'abisiimuuza enviiri ze.#Lub 18:4 45Tonywegedde ggwe, naye ono nnaakayingirira tannalekayo kunywegera bigere byange. #Bar 16:16 46Tonsiize mafuta ku mutwe: naye ono ansiize amafuta ag'omugavu ku bigere byange. 47Kyenva nkugamba nti Asonyiyiddwa ebibi bye ebingi kubanga okwagala kwe kungi; naye asonyiyibwa akatono, okwagala kwe kutono.” 48N'amugamba nti, “ Osonyiyiddwa ebibi byo.”#Luk 5:20,21 49Awo abaali batudde ku mmere naye ne batandika okwogera bokka na bokka nti, “ Ono y'ani asonyiwa n'ebibi?” 50Yesu n'agamba omukazi nti, “Okukkiriza kwo kukulokodde; genda mirembe.”#Luk 8:48; 17:19; 18:42

Currently Selected:

Lukka 7: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy