YouVersion Logo
Search Icon

Lukka 13

13
Kwenenya oba kuzikirira
1Awo mu biro ebyo waaliwo abantu abaali bali awo, ne baabuulira Yesu eby'Abagaliraaya bali, Piraato be yatabulira omusaayi gwabwe ne ssaddaaka zaabwe.#Bik 5:37 2Yesu n'addamu n'abagamba nti, “ Mulowooza nga Abagaliraaya abo kubanga baabonyaabonyezebwa bwe batyo baali boonoonyi okusinga Abagaliraaya abalala bonna?#Yok 9:2 3Mbagamba nti Si bwe kityo: naye bwe muteenenya, nammwe mwenna mulizikirira bwe mutyo.#Zab 7:12 4Oba bali ekkumi n'omunaana (18), ekigo eky'omu Sirowamu be kyagwako ne kibatta, mulowooza baali bakozi ba bubi okusinga abantu bonna abaali mu Yerusaalemi? 5Mbagamba nti Si bwe kityo: naye bwe muteenenya, mwenna mulizikirira bwe mutyo.”
Olugero lw'omuti omutiini ogutabala
6N'ayogera olugero luno nti, “ Waaliwo omuntu eyalina omuti omutiini ogwali gusimbiddwa mu lusuku lwe olw'emizabbibu; n'ajja ng'agunoonyaako ebibala n'atabiraba.#Luk 3:9, Mat 3:10; 21:19, Mak 11:13 7N'agamba omulimi nti Laba, leero emyaka esatu nga njija okunoonya ebibala ku mutiini guno, ne ssibiraba, guteme; n'okwemala gwemalira ki ekifo obwereere? 8Kyokka omulimi n'addamu n'amugamba nti Mukama wange, guleke mu mwaka guno, mmale okugutemeratemera, nguteekeko n'obusa;#1 Peet 3:9,15 9bwe gulibala ebibala oluvannyuma, kirungi; naye oba nga si bwe kityo, oligutema.”
Yesu awonya omukazi ku Ssabbiiti
10Awo ku lunaku lwa ssabbiiti Yesu yali ng'ayigiriza mu limu ku makuŋŋaaniro. 11Era, laba, waaliwo omukazi eyali yaakalwalira dayimooni ow'obunafu emyaka kkumi na munaana (18); ng'agongobadde nga tayinza kwegolola n'akatono. 12Awo Yesu bwe yamulaba, n'amuyita n'amugamba nti, “Omukazi, osumuluddwa obulwadde bwo.” 13N'amussaako n'emikono gye, amangwago omukazi n'aba mugolokofu, n'atendereza Katonda. 14Naye omukulu w'ekkuŋŋaaniro n'anyiiga kubanga Yesu awonyezza omuntu ku ssabbiiti, n'addamu n'agamba ekibiina nti, “ Waliwo ennaku omukaaga ezigwana okukolerangako emirimu: kale mujjirenga ku ezo okuwonyezebwa, naye si ku lunaku lwa ssabbiiti.”#Kuv 20:9, Ma 5:13 15Naye Mukama waffe n'amuddamu n'agamba nti, “ Bannanfuusi mmwe, buli omu ku mmwe ku lunaku lwa ssabbiiti tayimbula nte ye oba ndogoyi ye mu kisibo, n'agitwala okuginywesa? 16Era oyo omwana wa Ibulayimu eyasibibwa Setaani okumala emyaka kkumi na munaana (18), tagwanidde kusumululwa mu busibe obwo ku lunaku lwa ssabbiiti?”#Luk 19:9, Bik 3:25 17Awo bwe yali ng'ayogera ebyo, abalabe be bonna ne baswala: n'ekibiina kyonna ne basanyukira byonna eby'ekitiibwa bye yakola.
Olugero lw'akaweke ka kalidaali
(Mat 13:31-32, Mak 4:30-32)
18Yesu kyeyava agamba nti, “ Obwakabaka bwa Katonda bufaanana na ki? Era nnaabugeraageranya na ki?#Mat 13:31-33, Mak 4:30 19Bufaanana akaweke ka kalidaali, omuntu ke yaddira n'akasuula mu nnimiro ye; ne kakula, ne kaba muti; ennyonyi ez'omu bbanga ne zituula ku matabi gaagwo.”#Dan 4:12,21, Ez 17:23; 31:6
Olugero lw'ekizimbulukusa
(Mat 13:33)
20Yesu era n'agamba nti, “ Obwakabaka bwa Katonda nnaabufaananya na ki? 21Bufaanana ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira n'akikisa mu bibbo bisatu eby'obutta, bwonna ne buzimbulukuka.”
Omulyango omufunda
(Mat 7:13-14,21-23)
22Awo Yesu n'atambula ng'ayita mu bibuga ne mu byalo ng'ayigiriza ng'agenda e Yerusaalemi. 23Omuntu omu n'amubuuza nti, “ Mukama wange, be batono abalokolebwa?” Yesu n'amuddamu nti, 24“Mufubenga okuyingira mu mulyango omufunda: kubanga mbagamba nti bangi abalinoonya okuyingira, so tebaliyinza.#Mat 7:13,14, Baf 3:12, 1 Tim 6:12 25Nannyini nnyumba bw'alimala okusituka, n'aggalawo oluggi, muliyimirira ebweru, ne mutandika okukonkona ku luggi, nga mugamba nti Mukama waffe, tuggulirewo; kale alibaddamu n'abagamba nti Sibamanyi gye muva; 26ne mulyoka mutandika okugamba nti Twaliiranga era twanyweranga mu maaso go, era wayigiririzanga mu nguudo zaffe;#Mat 7:22,23 27kale aligamba nti Mbagamba nti simanyi gye muva: muve we ndi, mwenna abakola ebitali bya butuukirivu.#Zab 6:8 28Eyo eribaayo okukaaba n'okulumwa obujiji bwe muliraba Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo ne bannabbi bonna mu bwakabaka bwa Katonda, naye mmwe nga musuuliddwa ebweru. 29Balijja nga bava ebuvanjuba n'ebugwanjuba, ne mu bukiikakkono ne mu bukiikaddyo, balituula ku mbaga mu bwakabaka bwa Katonda.#Mal 1:11, Is 49:12; 59:19, Zab 107:3, Luk 14:15 30Era, laba, waliwo ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye, era waliwo ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma.”#Mat 19:30
Yesu akungubagira Yerusaalemi
(Mat 23:37-39)
31Mu kiseera ekyo kyennyini Abafalisaayo ne bajja, ne bamugamba nti, “ Va wano, ogende: kubanga Kerode ayagala kukutta.” 32N'abagamba nti, “ Mugende mugambe ekibe ekyo nti Laba, ngoba baddayimooni, mponya abantu leero n'enkya ne ku lunaku olwokusatu ndituukirizibwa. 33Naye kiŋŋwanidde okutambulako leero n'enkya n'olunaku oluddirira; kubanga tekiyinzika nnabbi kuzikiririra bweru wa Yerusaalemi. 34Ggwe Yerusaalemi, Yerusaalemi, atta bannabbi, akuba amayinja abatumibwa gy'oli! emirundi emeka nga njagala okukuŋŋaanya abaana bo, ng'enkoko bw'ekuŋŋaanyiza obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, naye ne mutakkiriza!#Mat 23:37-39 35Laba, ennyumba yammwe ebalekeddwa kifulukwa; era mbagamba nti Temulindaba, okutuusa lwe muligamba nti, ‘Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.’”#Yer 12:7; 22:5, Zab 69:25; 118:26

Currently Selected:

Lukka 13: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy