YouVersion Logo
Search Icon

Eby'Abaleevi 4

4
Ekiweebwayo olw'ekibi
1Mukama n'agamba Musa ng'ayogera nti, 2“Gamba abaana ba Isiraeri nti omuntu yenna bw'anaayonoonanga nga tagenderedde, mu kigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, n'amala akola kyonna ku ebyo;#Leev 5:15,17,18, Kubal 15:27, 1 Sam 14:27 3kabona eyafukibwako amafuta bw'anaayonoonanga n'okuleeta n'aleetera abantu omusango; anaawangayo eri Mukama ente ennume envubuka, eteriiko bulema, okuba ekiweebwayo olw'ekibi ky'akoze.#Beb 5:3; 7:27,28 4Awo anaaleetanga ente eri omulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu mu maaso ga Mukama; anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ente, n'agittira mu maaso ga Mukama. 5Awo kabona eyafukibwako amafuta anaatoolanga ku musaayi gw'ente, n'aguleeta eri Eweema ey'okusisinkanirangamu;#Leev 5:9; 16:14, Kubal 19:4 6awo kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi, n'agumansira emirundi musanvu mu maaso ga Mukama, mu maaso g'olutimbe olw'awatukuvu. 7Awo kabona anaasiiganga ogumu ku musaayi ku mayembe g'ekyoto eky'okwoterezangako eby'akaloosa mu maaso ga Mukama, ekiri mu Weema ey'okusisinkanirangamu; n'omusaayi gwonna ogufisseewo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, ekiri ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.#Leev 8:15; 9:9 8Anagiggyangamu amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda, 9n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba anaabiggyangako, 10nga bwe gaggyibwa ku nte eya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona anaabyokeranga ku kyoto ekiweerwako ebyokebwa. 11Eddiba ly'ente, ennyama, omutwe, amagulu, eby'enda n'obusa bwayo,#Kuv 29:14, Kubal 19:5 12byonna anaabitwalanga ebweru w'olusiisira, mu ekifo ekyateekebwawo ekiyiibwamu evvu; abyokerenga eyo.”#Leev 6:11, Beb 13:11
13Era ekibiina kyonna ekya Isiraeri bwe kinaasobyanga, mu kigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, n'ekitamanyibwa abasinga obungi mu kibiina, nga bazizza omusango.#Leev 5:2-4, Kubal 15:22-26 14Amangu ng'ekibi ekyo kye bakoze kimanyiddwa, ekibiina kinaawangayo ente ennume envubuka, okuba ekiweebwayo olw'ekibi, banaagiretanga mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu. 15Awo abakadde b'ekibiina banaateekanga engalo zaabwe ku mutwe gw'ente mu maaso ga Mukama; ne bagittira mu maaso ga Mukama.#Kuv 29:10-14 16Awo kabona eyafukibwako amafuta anaaleetanga ku musaayi gw'ente mu Weema ey'okusisinkanirangamu; 17awo kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi, n'agumansira emirundi musanvu mu maaso ga Mukama mu maaso g'eggigi. 18Awo kabona anaasiiganga ogumu ku musaayi ku mayembe g'ekyoto eky'okwoterezangako eby'akaloosa mu maaso ga Mukama, ekiri mu Weema ey'okusisinkanirangamu; n'omusaayi gwonna ogufisseewo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, ekiri ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu. 19Anaagiggyangamu amasavu gaayo gonna n'agookera ku kyoto. 20Bw'atyo bw'anaakolanga ente eno; kabona anaatangiriranga abantu ne basonyiyibwa.#Kubal 15:25 21Awo anaatwalanga ente ebweru w'olusiisira, n'agyokya nga bwe yayokya ente eyolubereberye; kye kiweebwayo olw'ekibi olw'ekibiina.
22“Omukulembeze yenna bw'ayonoonanga, nga tagenderedde mu kigambo kyonna ku ebyo byonna Mukama Katonda we bye yalagira obutabikolanga, ng'azzizza omusango; 23Era bw'anaategeezebwanga ky'ayonoonye, anaaleetanga embuzi ennume eteriiko bulema, okuba ekiweebwayo kye; 24awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'embuzi, n'agittira mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa mu maaso ga Mukama; kye kiweebwayo olw'ekibi. 25Awo kabona anaatoolanga ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agusiiga n'engalo ye ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'ogufisseewo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto. 26Amasavu gaayo gonna anaagookeranga ku kyoto, ng'amasavu aga ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona anaamutangiriranga olw'ekibi kye, naye anaasonyiyibwanga.#Leev 3:3-5, Kubal 15:28
27“Era omuntu yenna owa bulijjo bw'anaayonoonanga nga tagenderedde, n'akola ekigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, ng'azzizza omusango;#Kubal 15:27 28bw'anaategeezebwanga ekibi ky'akoze, anaaleetanga embuzi enkazi eteriiko bulema okuba ekiweebwayo olw'ekibi kye. 29Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'attira ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo eky'ekiweebwayo ekyokebwa. 30Awo kabona anaatoolanga ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agusiiga n'engalo ye ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'ogufisseewo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa. 31Anaagiggyangamu amasavu gaayo gonna nga bwe gaggyibwa ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona anaagookeranga ku kyoto okuba evvumbe eddungi eri Mukama; kabona anaamutangiriranga, naye anaasonyiyibwanga.
32“Era bw'anaaleetanga omwana gw'endiga okuguwaayo okuba ekiweebwayo olw'ekibi, anaaleetanga nkazi eteriiko bulema. 33Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agitta okuba ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa. 34Awo kabona anaatoolanga ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agusiiga n'engalo ye ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'ogufisseewo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa. 35Anaggyangamu amasavu gaayo gonna, ng'amasavu g'omwana gw'endiga bwe gaggyibwa ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona anaabyokeranga ku kyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa n'omuliro ekya Mukama; awo kabona anaamutangiriranga olw'ekibi ky'akoze, naye anaasonyiyibwanga.

Currently Selected:

Eby'Abaleevi 4: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Eby'Abaleevi 4