YouVersion Logo
Search Icon

Eby'Abaleevi 25

25
Omwaka ogw'omusanvu
(Ma 15:1-11)
1Mukama n'agambira Musa ku lusozi Sinaayi nti 2“Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti, Bwe muliyingira mu nsi gye mbawa, mulissaamu Mukama ekitiibwa nga temulima nsi eyo buli mwaka ogw'omusanvu.#Kuv 23:10,11 3Ennimiro yo onoogisigiranga emyaka mukaaga, n'olusuku lwo olw'emizabbibu onoolusaliranga emyaka mukaaga, era n'okungula ebibala byalwo; 4naye mu mwaka ogw'omusanvu wanaabangawo Ssabbiiti ey'okuwummula, ey'okwewombeekerako eri ensi, Ssabbiiti eri Mukama; tosiganga nnimiro yo, so tosaliranga lusuku lwo. 5Ekyo ekimera kyokka ku bikungulwa byo tokikungulanga, ne zabbibu ez'oku muzabbibu gwo ogutali musalire tozinoganga; gunaabanga mwaka gwa kuleka ttaka liwummule. 6Era Ssabbiiti ey'ensi eneebanga kya kulya gye muli; eri ggwe n'eri omuddu wo n'omuzaana wo, n'omusenze wo akolera empeera n'omugenyi wo atuula naawe; 7n'eri ebisibo byo n'ensolo eziri mu nsi yo, ekyengera kyayo kyonna kinaabanga kya kulya.”
8“Era oneebaliranga Ssabbiiti musanvu ez'emyaka, emyaka musanvu emirundi musanvu; era wanaabangawo gy'oli ennaku eza Ssabbiiti musanvu ez'emyaka, gye myaka ana mu mwenda (49). 9Awo n'olyokanga otambuza ekkondeere ery'eddoboozi eddene ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogw'omusanvu; ku lunaku olw'okutangiririrako kwe munaatambulizanga ekkondeere okubunya ensi yammwe yonna.#Leev 23:27, Kubal 10:10 10Era munaatukuzanga omwaka ogw'ataano (50), ne mulangira eddembe mu nsi yonna eri abo bonna abagituulamu: gunaabanga jjubiri gye muli; era munaakomangawo buli muntu mu butaka bwe, era munaakomangawo buli muntu mu nda ze.#Leev 27:24, Kubal 36:4 11Omwaka ogwo ogw'ataano (50) gunaabanga jjubiri gye muli: temusiganga, so temukungulanga ekyo ekimera kyokka mu gwo so temunoganga mu gwo ku mizabbibu egitali misalire.#Leev 25:4,5 12Kubanga jjubiri; gunaabanga mutukuvu gye muli: munaalyanga ekyengera kyagwo nga mukiggya mu nnimiro.”#Leev 25:6,7
13“Mu mwaka ogwo ogwa jjubiri mwe munaakomerangawo buli muntu mu butaka bwe. 14Kale bwemubanga muguza Baisiraeri bannammwe ettaka, oba nga mulibagulako temulyazaamanyagananga.#Leev 19:13 15Omuwendo gunaagerekebwanga okusinziira ku myaka eginaabanga gisigaddeyo okulirimirako nga terinnaddizibwa nannyini lyo.#Leev 27:18,23 16Emyaka egikyabulayo bwe ginaabanga emingi, omuwendo gunaabanga munene. Emyaka egikyabulayo bwe ginaabanga emitono, n'omuwendo gunaabanga mutono, kubanga omuwendo gunaasinziiranga ku makungula agasigaddeyo ng'ettaka terinnaddizibwa nnannyini lyo. 17So temulyazaamaanyagananga; naye mutyenga Katonda wammwe; kubanga nze Mukama Katonda wammwe.”#Leev 19:14
Omukisa gwa Katonda mu Mwaka ogw'omusanvu
18“Bwemunaawuliranga amateeka gange ne mugagondera munaabanga n'emirembe mu nsi.#Leev 26:3,5, Ez 34:27,28 19Ensi eneebalanga ebibala byayo, nammwe munaalyanga ne mukkuta, ne mugituulamu mirembe. 20Era muyinza okwebuuza nti, ‘Mu mwaka ogw'omusanvu tulirya ki nga tetusize so nga tetukungudde?’#Leev 25:4,5 21Ndibawa omukisa mu mwaka ogw'omukaaga, ensi n'ebaza emmere eribamala mu myaka gyonsatule.#Kuv 16:29, Ma 28:8 22Bwe munaasiganga mu mwaka ogw'omunaana, munaabanga mukyalya ku bye mwakungula edda, era munaabanga mukyalina emmere ebamala okutuusa amakungula ag'omwaka ogw'omwenda lwe gunaatuukanga.#Leev 26:10, 2 Bassek 19:29 23Ettaka teritundibwanga okulyeggyirako ddala olubeerera kubanga lyange, kubanga mmwe muli bagenyi era abayise be nnasenza.#Ma 32:43, 1 Byom 29:15, 2 Byom 7:20, Zab 39:12; 85:1, Kos 9:3, Yo 2:18; 3:2, Beb 11:13, 1 Peet 2:11 24Bwe munaatundanga ettaka ery'obutaka bwammwe, munakkirizanga nannyiniryo eyasooka okulinunula.”
25“Muganda wo bw'aba ng'ayavuwadde, n'atunda ku butaka bwe, kale muganda we asinga okumuba okumpi mu luganda anajjanga, n'anunula ekyo muganda we ky'atunze.#Luus 2:20; 3:12,13; 4:3-6 26Atalina ayinza kulinunula, bw'agaggawalanga n'afuna ebimala okulinunula, 27anaabalanga emyaka gy'amaze ng'alitunze, n'asasula eyaligula ekyo ekigya mu myaka egikyasigaddeyo okutuuka ku mwaka ogwa jjubiri, n'alyoka alyeddiza. 28Bw'anaabanga tasobola kulyeddiza, linaasigalanga mu mikono gy'oyo eyaligula, okutuusa mu mwaka ogwa jjubiri; olwo ne liryoka liteebwa mu mwaka ogwa jjubiri ne liddira nannyiniryo.”#Leev 25:13
29“Era omuntu bw'anaatundanga ennyumba ye gy'abeeramu ng'eri mu kibuga ekiriko bbugwe, anaayinzanga okuginunula ng'omwaka omulamba tegunnaggwaako kasookedde etundibwa; anaamalanga omwaka omulamba ng'alina obuyinza obw'okuginunula. 30Era bw'eteenunulibwenga mu bbanga ery'omwaka omulamba, kale ennyumba eyo eri mu kibuga ekiriko bbugwe, eneefuukiranga ddala y'oyo eyagigula ennaku zonna, teddizibwanga nnannyiniyo mu mwaka ogwa jjubiri. 31Naye ennyumba ez'omu byalo ebitaliiko bbugwe okubyetooloola zinaabalibwanga bumu n'ennimiro ez'omu byalo; zinaayinzanga okununulibwa, ne ziddira bannannyinizo mu mwaka ogwa jjubiri. 32Naye ennyumba ez'Abaleevi eziri mu bibuga eby'obutaka bwabwe, banaayinzanga okuzinunula ebbanga lyonna.#Kubal 35:2, Yos 21:2 33Omuleevi bw'anaatundanga ennyumba ye eri mu bibuga ebyo, eneemuddizibwanga mu mwaka ogwa jjubiri, kubanga amayumba Abaleevi ge balina mu bibuga byabwe, bwe butaka bwabwe ennaku zonna mu Baisiraeri. 34Naye ettaka erirundirwako eririraanye ebibuga byabwe, teriitundibwenga kubanga obwo bwe butaka bwabwe ennaku zonna.”#Yos 21:41,42, Bik 4:36,37
Okuwola abaavu
35“Muisiraeri munno bw'ayavuwalanga nga tasobola kweyimirizaawo, omuyambanga n'abeera naawe ng'omunoonyi w'obubudamo era omutuuze ow'ekiseera.#Ma 15:7,8, Bik 11:29, 1 Yok 3:17 36Tomuggyangako magoba; naye otyanga Katonda wo, muganda wo alyoke abeerenga naawe.#Kuv 22:25, Leev 25:17, Ma 23:19 37Toomusabenga magoba ku nsimbi z'omuwola, wadde okumusasuza emmere gy'omuwa okulya. 38Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, okubawa ensi ya Kanani, era okuba Katonda wammwe.”#Leev 22:32,33
Okuta abaddu
39“Era muganda wo bw'aba ng'ayavuwalidde ddala, nga takyesobola, ne yeetunda gy'oli; tomufuulanga muddu okukuweerezanga;#Kuv 21:2, Ma 15:12, 1 Bassek 9:22, 2 Bassek 4:1, Yer 34:14 40anaabeeranga naawe ng'omukozi ow'empeera era ng'omutambuze akolera empeera era; anaakuweerezanga okutuusa ku mwaka gwa jjubiri, 41n'alyokanga akuvaako, ye n'abaana be, n'adda mu butaka bwa kitaawe.#Kuv 21:3, Leev 25:13 42Kubanga Abaisiraeri baddu bange, be n'aggya mu nsi y'e Misiri; temutundibwanga kuba baddu. 43Tomufuganga lwa maanyi; naye otyanga Katonda wo.#Leev 25:17, Bef 6:9, Bak 4:1 44Munaagulanga abaddu n'abazaana okuva mu mawanga agabeetoolodde. 45Era ne ku baana ba bannamawanga abatuula mu mmwe oba ku ŋŋanda zaabwe, oba be baazaalira mu nsi yammwe; nabo banaabanga nvuma zammwe.#Is 14:1,2 46Era banaabanga nvuma eri abaana bammwe abanaabaddiriranga; ku abo kwe munaggyanga abaddu ennaku zonna; naye baganda bammwe, abaana ba Isiraeri temubafuulanga baddu.”
47“Era munnaggwanga oba omutambuze bw'aba ng'agaggawadde, ne muganda wo ng'ayavuwalidde ddala, ne yeetunda eri munnaggwanga oba omutambuze ali naawe, oba eri ow'olulyo lwabwe, 48bw'anaamalanga okutundibwa anaayinzanga okununulibwa omu ku baganda be; 49akyayinza okuba kojja we, oba omuntu yenna amuli okumpi mu luganda, oba bw'aba nga agaggawadde anaayinzanga okwenunula yekka.#Leev 25:26 50Anaateesanga n'oyo eyamugula, ne babalirira emyaka okuva mu kiseera kye yeetundiramu, okutuuka ku mwaka ogwa jjubiri, era omuwendo gw'anaamusasulanga gunaabanga ng'ogw'omukozi ow'empeera bwe guba, ogw'ebbanga eryo. 51Ekiseera ekisigaddeyo bwe kinaabanga ekinene anaamuddizanga ku muwendo gwe yamugula. 52Emyaka bwe ginaabanga emitono okutuuka ku mwaka ogwa jjubiri, anaamusasulanga omuwendo ogubalirirwa mu myaka egyo egisigaddeyo. 53Anaabanga naye ng'omukozi ow'empeera buli mwaka, naye tamufuulanga muddu. 54Era bw'ataanunulibwenga bw'atyo, kale anaanunulibwanga mu mwaka gwa jjubiri n'abaana be.#Leev 25:41 55Kubanga muli baddu bange be nnaggya mu nsi y'e Misiri: Nze Mukama Katonda wammwe.”

Currently Selected:

Eby'Abaleevi 25: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in