Eby'Abaleevi 24
24
Okulabirira ettaala
(Kuv 27:20-21)
1Mukama n'agamba Musa nti,#Kuv 27:20,21 2“Lagira abaana ba Isiraeri, bakuleetere amafuta amalungi agakenenuddwa mu muzeyituuni ag'okuteekanga mu ttaala, eyakenga bulijjo obutazikira. 3Buli kawungeezi, Alooni anaagirongoserezanga wabweru w'olutimbe oluli mu maaso g'essanduuko ey'Endagaano, mu Weema ey'okusisinkanirangamu, n'agikoleeza n'eyaka obutazikira okutuusa enkeera ng'eri mu maaso ga Mukama. 4Alooni anaalongoosanga ettaala eyo ng'eri ku kikondo kyayo ekya zaabu ennungi, eyakirenga mu maaso ga Mukama obutazikira.”#Kuv 39:37
Emigaati Egiweebwayo eri Katonda
5“Onoddiranga obutta obuŋŋuntiddwa obulungi, n'obufumbamu emigaati kkumi n'ebiri (12), nga buli bitundu bibiri eby'ekkumi ebya efa bivaamu omugaati gumu.#Kuv 25:30, Beb 9:2 6Era onoogitegekanga ku mmeeza eya zaabu ennongoose, mu maaso ga Mukama mu mbu bbiri, buli lubu nga lulimu emigaati mukaaga.#Kuv 25:23,24; 40:22,23, 1 Bassek 7:48 7Era onooteekanga omugavu omulongoofu ku buli lubu, gubeerenga ekijjukizo eri emigaati, ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama. 8Buli Ssabbiiti anaagitegekanga mu maaso ga Mukama olutata; ye ndagaano eteriggwaawo ku lw'abaana ba Isiraeri.#1 Byom 9:32, 2 Byom 2:4 9Era ginaabanga gya Alooni ne batabani be; era banaagiriiranga mu kifo ekitukuvu; kubanga mitukuvu nnyo gyali, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro olw'etteeka eritaliggwaawo.”#Leev 8:31, 1 Sam 21:6, Mak 2:26
10Awo mutabani w'omukazi Omuisiraeri, kitaawe nga Mumisiri, n'afuluma n'agenda mu baana ba Isiraeri; mutabani w'omukazi Omuisiraeri ono n'omusajja wa Isiraeri ne bawakanira mu lusiisira; 11mutabani w'omukazi Omuisiraeri n'avvoola Erinnya lya Mukama n'akolima; ne bamuleetera Musa. Nnyina nga ayitibwa Seromisi, muwala wa Dibuli, ow'omu kika kya Ddaani.#Kuv 3:14,15, Kubal 15:33, 1 Bassek 21:13, Mat 26:65, Mak 14:64 12Ne bamusiba nga balinda Mukama okubategeeza eky'okumukolera.#Kubal 15:34; 27:5,6
13Mukama n'agamba Musa nti, 14“Oyo akolimye, mumufulumye ebweru w'olusiisira; n'abo bonna abamuwulidde bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwe, ekibiina kyonna kimukube amayinja.#Ma 17:5,7 15Era onoogamba abaana ba Isiraeri nti buli anaakolimiranga Katonda we, anaabangako ekibi kye.#Leev 5:1, Kubal 9:13 16N'oyo anavvoolanga erinnya lya Mukama talemanga kuttibwa; ekibiina kyonna tekiremanga kumukuba mayinja; k'abe munnaggwanga oba nzaalwa, bw'anavvoolanga erinnya lya Mukama, anattibwanga.#Yok 10:31-33 17N'oyo anaakubanga omuntu yenna n'amutta talemanga kuttibwa;#Lub 9:6, Kuv 21:12, Kubal 35:31, Ma 19:11,12 18n'oyo anaakubanga ensolo n'agitta anaagiriwanga; obulamu olw'obulamu. 19Era omuntu bw'anaalemazanga muliraanwa we; nga bw'akoze, bw'anaakolebwanga bw'atyo;#Kuv 21:23-25, Ma 19:21, Mat 5:38 20ekinuubule olw'ekinuubule, eriiso olw'eriiso, erinnyo olw'erinnyo; nga bw'alemazizza omuntu, bw'anaasasulibwanga bw'atyo. 21N'oyo anattanga ensolo anaagiriwanga; n'oyo anattanga omuntu anattibwanga. 22Munaabanga n'etteeka limu eri munnaggwanga era n'enzaalwa: kubanga nze Mukama Katonda wammwe.”#Kuv 12:49 23Awo Musa n'agamba abaana ba Isiraeri, oyo eyakolima ne bamufulumya ebweru w'olusiisira, ne bamukuba amayinja. Abaana ba Isiraeri ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa.#Leev 24:14
Currently Selected:
Eby'Abaleevi 24: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: