Eby'Abaleevi 19
19
Amateeka ag'obutukuvu n'obwenkanya
1Mukama n'ayogera ne Musa nti, 2“Yogera n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, obagambe nti, Munaabanga batukuvu; kubanga Nze Mukama Katonda wammwe ndi mutukuvu.#Leev 11:44,45; 20:7,26, 1 Peet 1:16 3Buli muntu assengamu ekitiibwa kitaawe ne nnyina; Nze Mukama Katonda wammwe.#Kuv 20:8,12, Is 56:2; 58:13 4Temunvangako ne musinza ebifaananyi, so temwekoleranga bakatonda basaanuuse: Nze Mukama Katonda wammwe.”#Kuv 20:3-5; 34:17, Leev 26:1
5“Era bwe munaawangayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama, munaagiwangayo mulyoke mukkirizibwe.#Leev 7:15-18 6Munaagiriiranga ku lunaku olwo lwe mugiweereddeko n'oluddirira, era bw'efikkangawo okutuusa ku lunaku olwokusatu eneeyokebwanga n'omuliro. 7Etuusizza olunaku olwokusatu, teribwangako n'akatono; yamuzizo. 8Buli anaakiryangako anaabanga atali mutuukirivu, kubanga ayonoonye ekintu ekitukuvu ekya Mukama era anaazikirizibwanga okuva mu bantu be.”
9“Bwe munaabanga mukungula ebirime byammwe, temubimalirangamu ddala byonna mu nnimiro zammwe, so temuddangayo kulonderera ebiba bisigaddemu;#Leev 23:22, Ma 24:19,21 10so temumalirangamu ddala bibala bya mizabbibu, so temuddengayo kulonderera bibala biba bikunkumuse; on'obirekeranga omwavu ne munnaggwanga: Nze Mukama Katonda wammwe.”
11“Temubbanga; so temulyazaamaanyanga, so temulimbagananga mwekka na mwekka.#Kuv 20:15, Leev 6:2,3, Bef 4:25, Bak 3:9, Kuv 20:7 12So temulayiriranga bwereere linnya lyange, n'okuvumisa ne muvumisa erinnya lya Katonda wammwe: Nze Mukama.#Kuv 20:7 13Tojooganga muliraanwa wo, so tomunyaganga; empeera y'omukozi tosulanga nayo okukeesa obudde.#Leev 6:2, Ma 24:14,15, Mal 3:5 14Tokolimiranga muggavu wa matu, so toteerangawo muzibe w'amaaso nkonge okugyesittalako, naye onootyanga Katonda wo: Nze Mukama.#Leev 19:32; 25:17, Ma 27:18, Mub 12:13, 1 Peet 2:17 15Musalenga emisango mu mazima n'obwenkanya, tosalirizanga mwavu olw'omugagga ali naawe, ne muliraanwawo onoomusaliranga omusango mu mazima.#Kuv 23:2,3, Ma 1:17; 16:19, Nge 24:23, Yak 2:9 16Tobanga wa lugambo mu bantu bo, so tewekobanaanga kukola kabi ku muliraanwa wo: Nze Mukama.”#Kuv 23:1,7, 1 Bassek 21:10-13, Mat 26:60,61
17“Tokyawanga muganda wo mu mutima gwo, tolemanga kunenya muliraanwa wo, oleme okubaako ekibi ku lulwe.#Lub 27:41, Luk 17:3, Bar 1:32, Bef 5:11, 1 Tim 5:22, 1 Yok 2:9,11; 3:15 18Towalananga ggwanga, so tobanga na kiruyi eri mulirwanaawo, naye onoomwagalanga nga bwe weeyagala wekka: Nze Mukama.”#Mat 5:43; 19:19; 22:39, Mak 12:31, Luk 10:27, Bar 12:17,19, Bag 5:14, Yak 2:8
19“Mwekuumenga amateeka gange. Tozaalisanga nsolo zo nga si za ngeri emu. Tosiganga mu nnimiro yo nsigo ezitali za ngeri emu. Toyambalanga kyambalo kya ngeri bbiri ezitafaanagana.”#Leev 18:4, Ma 22:9-11
20“Buli anaasulanga n'omuzaana ayogerezebwa omusajja omulala, era nga tanunulwanga, so nga taweebwanga ddembe, bombi banaabonerezebwanga, naye tebattibwenga, kubanga omuzaana yali tanunulwanga. 21Awo omusajja oyo anaaleetanga ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, endiga ennume, okuba ekiweebwayo eri Mukama olw'omusango.#Leev 6:6,7 22Awo kabona anaamutangirizanga endiga eyo ey'ekiweebwayo olw'omusango mu maaso ga Mukama olw'ekibi kye yakola; era anaasonyiyibwanga ekibi kye yakola.”
23“Era bwe mubanga muyingidde mu nsi eyo, era nga mumaze okusimba emiti egy'engeri zonna egy'ebibala ebiriibwa, ebibala ebyo temubiryangako okumala emyaka esatu kubanga biriba si birongoofu gye muli. 24Naye mu mwaka ogwokuna ebibala ebyo byonna biriba bitukuvu, olw'okutendereza Mukama. 25Naye mu mwaka ogw'okutaano mulirya ku bibala ebyo. Bwe mulituukiriza ebyo byonna mulifuna ekyengera: Nze Mukama Katonda wammwe.”
26“Temulyanga nnyama yonna ng'ekyalimu omusaayi, so temuloganga era temulagulanga.#Leev 17:10, Ma 18:10, 2 Bassek 21:6 27Temumwanga nkiiya, so temukomolanga birevu byammwe.#Leev 21:5, Yer 9:26 28Temwesalanga misale ku mibiri gyammwe olw'abafu, wadde okweyolako enjola olw'okwewoomya: Nze Mukama.”#Ma 14:1
29“Temwonoonanga bawala bammwe nga mu bawaayo mu bwenzi, ensi ereme okwonooneka olw'obwenzi, n'ejjula ebibi.#Ma 23:17, Kos 4:13,14 30Mwekuumenga Ssabbiiti zange, era mussengamu ekitiibwa ekifo kyange ekitukuvu: Nze Mukama.”#Leev 19:3; 26:2, Mub 5:1, Mat 21:12,13
31“Temugendanga eri abasamira emizimu, newakubadde abalogo; temubanoonyanga muleme okwonooneka: Nze Mukama Katonda wammwe.”#Leev 20:6, 1 Sam 28:7, Is 8:19
32“Oseguliranga alina envi, era ossangamu ekitiibwa amaaso g'omukadde, era otyanga Katonda wo: Nze Mukama.”#Leev 19:14, Nge 20:29, 1 Tim 5:1
33“Era munnaggwanga bw'anaatuulanga nammwe mu nsi yammwe, temumukolanga bubi.#Kuv 22:21 34Munnaggwanga anaatuulanga nammwe anaabanga gye muli ng'enzaalwa mummwe, era munaamwagalanga nga bwe mweeyagala mwekka, kubanga nammwe mwali bagenyi mu nsi y'e Misiri: Nze Mukama Katonda wammwe.”#Kuv 12:48,49, Ma 10:19
35“Temusalirizanga so temukumpanyanga nga mukozesa ebipimo ebitali bituufu mu kupima obuwanvu, obuzito n'obungi bw'ebintu. 36Munaabanga ne minzaani entuufu, n'ebigera ebituufu, efa entuufu, ne ini entuufu: Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri.#Ma 25:13,15, Nge 20:10 37Era mukwatenga amateeka gange gonna, n'ebiragiro byange byonna mubituukirizenga: Nze Mukama.”#Leev 18:4,5
Currently Selected:
Eby'Abaleevi 19: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.