Yoswa 5
5
1Awo, bakabaka bonna ab'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebugwanjuba, ne bakabaka ab'Abakanani, abaali ku lubalama lw'ennyanja Eyawakati, bwe baawulira Mukama bwe yakaliza amazzi ga Yoludaani okutuusa abaana ba Isiraeri lwe baamala okusomoka, ne batekemuka ne baggwamu amaanyi olw'abaana ba Isiraeri.#Kuv 15:14, Yos 2:11, 1 Bassek 10:5
Okukomolebwa e Girugaali
2Mu biro ebyo Mukama n'agamba Yoswa nti, “Kola obwambe obw'amayinja, okomole abaana ba Isiraeri abatakomolebwanga.”#Kuv 4:25 3Yoswa n'akola obwambe obw'amayinja, n'akomolera abaana ba Isiraeri ku lusozi, olw'ebikuta. 4Eno ye nsonga Yoswa kye yava akomola abasajja; kubanga abasajja bonna abalwanyi abava mu Misiri nga bakomole baafiira mu kkubo mu ddungu nga bava e Misiri.#Kubal 14:29, Ma 2:16, Zab 106:26, 1 Kol 10:5, Beb 3:17 5Naye abantu bonna abaazaalirwa mu kkubo mu ddungu nga bava e Misiri baali tebakomolwanga. 6Kubanga abaana ba Isiraeri baatambulira emyaka ana (40) mu ddungu, okutuusa eggwanga lyonna, be balwanyi bonna abaava e Misiri, lwe baggwaawo, kubanga tebaawulira ddoboozi lya Mukama. Mukama kye yava alayira obutabaganya kulaba nsi gye yalayira bajjajjaabwe, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.#Kuv 3:8, Kubal 14:23,33, Ma 1:3; 2:7,14; 8:4, Zab 95:10,11 7Era baali baana baabwe be yazza mu kifo kyabwe, abo Yoswa be yakomola; kuba baali si bakomole, olw'okuba tebaabakomolera mu kkubo.#Kubal 14:31, Ma 1:39 8Awo, bwe baamala okukomola eggwanga lyonna, ne babeera mu bifo byabwe mu lusiisira okutuusa lwe bamala okuwona. 9Mukama n'agamba Yoswa nti, “Leero mbaggyeeko ekivume eky'e Misiri.” Erinnya ery'ekifo ekyo kyeryava liyitibwa Girugaali#5:9 Girugaali mu Lwebbulaniya kitegeeza okuggyawo. n'okutuusa kaakano.
10Abaana ba Isiraeri bwe baali baasisidde e Girugaali, ne baakwata Okuyitako olw'eggulo ku lunaku olw'ekkumi n'ennya (14) olw'omwezi mu lusenyi olw'e Yeriko.#Kuv 12:6, Kubal 9:5 11Ku lunaku olwaddirira Okuyitako ne balya emmere enkalu ey'omwaka ogwaggwaako, emigaati egitazimbulukusiddwa ne kasooli omusiike. 12Awo bwe baamala okulya emmere ey'ensi ey'omwaka ogwaggwako; emmaanu n'erekera awo okugwa; awo ne batandika okulya emmere ey'ensi eya Kanani omwaka ogwo.#Kuv 16:35
Yoswa asisinkana omusajja ow'ekitala
13Awo, Yoswa bwe yali ng'asemberedde e Yeriko, n'ayimusa amaaso ge n'atunula, era, laba, omusajja ng'ayimiridde okumwolekera, ng'alina ekitala ekisowole mu mukono gwe; Yoswa n'amusemberera, n'amubuuza nti, “Oli ku lwaffe, oba oli ku lwa balabe baffe?”#Lub 18:2; 32:24, Kuv 23:20, Kubal 22:23,31, 1 Byom 21:16, Bik 1:10 14Omusajja n'amuddamu nti, “Nedda; naye nze omukulu ow'eggye lya Mukama ntuuse kaakano.” Yoswa n'afukamira mu maaso ge, n'asinza, n'amugamba nti, “Mukama wange, kiki ky'ogamba omuddu wo?” 15Omukulu ow'eggye lya Mukama n'agamba Yoswa nti, “Ggyamu engato mu bigere byo; kubanga ekifo mw'oyimiridde kitukuvu.” Yoswa n'akola bw'atyo.#Kuv 3:5, Bik 7:33
Currently Selected:
Yoswa 5: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.