YouVersion Logo
Search Icon

Yona Ennyanjula

Ennyanjula
Ekitabo kya Yona kirina ekyenjawulo okuva ku bitabo bya bannabbi ebirala. Ebitabo ebyo birimu obubaka bwabwe nga bugenda eri Isiraeri n'amawanga amalala, naye kino kirimu ebigambo nga bikwata ku nnabbi yennyini. Ekitabo kiraga nga nnabbi bwe yatumibwa okugenda e Nineeve okubuulira okwenenya kyokka ye n'atayagala kukikola, n'asalawo adduke okuva mu maaso ga Mukama. Ekitabo kitegeeza byonna ebyatuuka ku Yona, era n'okugenda kwe e Nineeve n'abuulira okwenenya.
Ebiri mu kitabo
I. Okutumibwa kwa Yona n'okudduka okuva mu maaso ga Mukama (1:1-3).
II. Yona n'abalunnyanja abatamanyi Katonda wa Isiraeri (1:4-16).
III. Essaala ya Yona ey'okwebaza (1:17—2:10).
IV. Yona addamu okutumibwa e Nineeve (3:1-10).
V. Essaala ya Yona ey'obusungu (4:1-4).
VI. Yona ayiga ku kisa kya Katonda (4:5-11).

Currently Selected:

Yona Ennyanjula: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in