YouVersion Logo
Search Icon

Yona 3

3
Yona addamu okutumibwa e Nineeve
(3:1-10)
Yona Agondera Mukama
1Awo Mukama n'ayogera ne Yona omulundi ogwokubiri, nti, 2“Golokoka, ogende e Nineeve, ekibuga ekyo ekinene, okitegeeze obubaka bwe nakugamba.” 3Awo Yona n'agolokoka n'agenda e Nineeve nga Mukama bwe yamugamba. Era Nineeve kyali kibuga kinene nnyo nnyini nga kitwala ennaku ssatu okukibuna kyonna. 4Yona n'ayingira mu kibuga, n'atambula olugendo lwa lunaku lumu, n'alangirira nti, “Esigadde ennaku ana (40), Nineeve kizikirire.” 5Abantu ab'omu Nineeve ne bakkiriza obubaka bwa Katonda ne balangirira okusiiba, ne bambala ebibukutu, bonna okuva ku mukulu okutuuka ku muto.#2 Byom 20:3, Mat 12:41 6Ebigambo bino ne bituuka ku kabaka ow'e Nineeve, naava ku ntebe n'ayambulamu ekyambalo kye, n'ayambala ebibukutu n'atuula mu vvu.#Yob 1:20; 2:8 7N'aweereza ekiragiro wonna mu Nineeve nga kigamba nti, “Kino kye kiragiro kya kabaka n'abakungu be: Tewaba muntu yenna, ensolo oba ggana n'ekisibo, ekikomba ku mmere wadde okunywa ku mazzi;#Dan 6:26, Yo 1:14, Yon 4:11 8naye abantu bambale ebibukutu, beegayirire nnyo Katonda. Buli omu ave mu mpisa ze embi, n'ebikolwa bye ebibi.#Is 59:6, Yer 18:11 9Ani amanyi? Oboolyawo Katonda anaakyusa ku kibonerezo kye yatusalira n'atuggyako obusungu bwe obukambwe n'atatuzikiriza?”#2 Sam 12:22, Yo 2:14 10Katonda n'alaba bye bakoze, nga baleseeyo empisa zaabwe embi, n'akyusa okusalawo kwe n'atabazikiriza.#Yer 18:8

Currently Selected:

Yona 3: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in