Yona 2
2
Okusaba kwa Yona
1Awo Yona n'asaba Mukama Katonda we ng'ali mu lubuto olw'ekyennyanja. 2N'agamba nti,
“Mu nnaku yange ennyingi nakaabirira Mukama
N'anziramu;
Nasinziira emagombe ne nkukoowoola,
N'owulira eddoboozi lyange.#Zab 118:5; 120:1, Kung 3:55,56
3Kubanga wansuula mu buziba,
wakati mu nnyanja,
Amazzi ne ganneetooloola,
Amayengo go ag'amaanyi ne gampita kungulu.#Zab 42:7; 88:6,7
4Ne ndyoka njogera nti, ‘Ngobeddwa mu maaso go.
Ddala ndiddamu nate okulaba Yeekaalu yo entukuvu?’#1 Bassek 8:35,38, Zab 31:22
5Amazzi gansaanikira ne gaagala okunsaanyaawo,
Obuziba bw'ennyanja bwanneetooloola,
Omuddo ogw'omu nnyanja nga gunneezingiridde ku mutwe gwange.#Zab 69:1
6Nnakka wansi ensozi we zisibuka,
Mu nsi, enzigi zaayo gye ziba ensibe ennaku zonna.
Naye ggwe, ayi Mukama, Katonda wange, onziggye mu bunnya nga ndi mulamu.#Zab 16:10; 103:4
7Bwe n'awulira ng'obulamu bunzigwamu
ne njijukira Mukama,
N'okusaba kwange ne kutuuka gy'oli, mu Yeekaalu yo entukuvu.#1 Bassek 8:30, Zab 107:5; 142:3
8Abo abassa omwoyo ku by'obulimba ebitaliimu beefiiriza kusaasirwa kwa Katonda okubalindiridde!#2 Bassek 17:15, Yer 2:5,13
9Naye nze nnaakuwa ssaddaaka yange nga bwe nkutendereza.
Naasasula obweyamo bwange.
Kubanga obulokozi buva eri Mukama.”#Zab 50:14
10Awo Mukama n'alagira ekyennyanja ne kisesema Yona ku lukalu.
Currently Selected:
Yona 2: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: