Bible App logo
Search Icon

Yoweeri 2

2
Enzige ng'akabonero k'okulabula ku lunaku lwa Mukama
1Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni, era mukube enduulu ku lusozi lwange olutukuvu! Abantu bonna abali mu nsi bakankane, kubanga olunaku lwa Mukama lujja, era luli kumpi,#Yo 1:15; 2:15 2olunaku olw'ekizikiza n'ekikome, era olunaku olw'ebire n'ekizikiza ekikutte! Ng'ekizikiza ekikutte, lisaasanira ku nsozi, abantu abangi era abamaanyi; tewabangawo babafaanana, so tewalibaawo nate oluvannyuma lwabwe, okuyita mu myaka emirembe gyonna.#Ez 30:3, Am 5:18,20, Zef 1:15 3Omuliro gwokya mu maaso gaabwe, era emabega waabwe ennimi z'omuliro zaaka. Ensi eri ng'Olusuku lwa Adeni, oluli mu maaso gaabwe, naye emabega waabwe ddungu eryazika, era tewali kiwona ku zo.#Lub 2:8,9, Is 51:3, Yo 1:19,20, Zek 7:14 4Enfaanana yaazo eringa ey'embalaasi, era ziddukanga ng'embalaasi bwe zidduka mu lutalo.#Kub 9:7,9 5Zibuukira ku ntikko z'ensozi, nga ziwuuma ng'amagaali, era ng'omuliro bwe gutulika nga gwokya ebisambu, ng'eggye ery'amaanyi eryetegese okulwana olutalo.#Is 5:24, Ob 18 6Mu maaso gaazo abantu banyikaavu; amaaso ga buli omu gafuuse ebbala.#Nak 2:10 7Ng'abalwanyi zirumba, ng'abasserikale zirinnya bbugwe, era zitambulira mu kkubo lyazo, nga tewali n'emu eva ku mugendo. 8Tewali eziyiza ginnaayo kugenda, buli emu esimba n'etambulira mu kkubo lyayo, era ziwaguza awali eby'okulwanyisa, ne watabaawo aziziyiza.#Nge 30:27 9Zifubutuka ne zizinda ekibuga, zibuna bbugwe wa kyo, ziwalampa ne zituuka mu nnyumba, ziyingirira mu madirisa ng'omubbi.#Is 33:4, Yok 10:1 10Ensi ekankana mu maaso gaazo, eggulu lijugumira. Enjuba n'omwezi bibaako ekizikiza, n'emmunyeenye zirekayo okwaka kwazo.#Zab 18:7, Is 13:10, Yo 3:15,16 11Mukama ayogera n'eddoboozi lye mu maaso g'eggye lye, kubanga eggye lye ddene era lya maanyi. Oyo atuukiriza ekigambo kye wa maanyi. Olunaku lwa Mukama lukulu lwa ntiisa nnyo nnyini; era ani ayinza okulugumira?#Yo 2:25, Mal 3:2, 1 Bas 4:16, Kub 18:8
Okuyita abantu okwenenya
12“Era naye ne kaakano,” bw'ayogera Mukama, “munkyukire n'omutima gwammwe gwonna, n'okusiiba n'okukaaba amaziga n'okuwuubaala;#Ma 4:30, 1 Sam 7:3,6, Yer 4:1 13era muyuze omutima gwammwe so si byambalo byammwe.” Mukyukire Mukama Katonda wammwe, kubanga wa kisa, era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala, era akwatirwa nnyo ekisa, era yejjusa obutaleeta bubi.#Kuv 34:6, Zab 34:18; 86:5,15, Am 7:2-4, Yon 4:2 14Ani amanyi oba nga taakyuke ne yejjusa, n'abalekera omukisa, kye kiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunnywa eri Mukama Katonda wammwe?#Yo 1:9,13, Yon 3:9, Kag 2:19, Mal 3:10
Okulangirira okusiiba
15Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni, mulangirire okusiiba, muyite okukuŋŋaana okutukuvu. 16Mukuŋŋaanye abantu, mutukuze ekibiina, mukuŋŋaanye abakadde, muleete abaana abato, n'abawere abayonka, omugole omusajja ave mu kisenge kye, n'omugole omukazi ave mu nju ye.#Kuv 19:10,14,15, Ma 24:5, 2 Byom 20:13, Mub 3:5, 1 Kol 7:5 17Bakabona, abaweereza ba Mukama, bakaabire amaziga wakati w'ekisasi n'ekyoto, era boogere nti, “ Saasira abantu bo, ayi Mukama, so towaayo busika bwo okuvumibwa, n'amawanga okubafuga. Kiki ekinaaba kiboogezza mu mawanga nti, ‘Katonda waabwe ali ludda wa?’ ”#Zab 42:3, Ez 8:16
Okusaasira kwa Katonda n'okusalira amawanga omusango
(2:18—3:21)
Katonda addiza ensi obugimu
18Awo Mukama n'alumirirwa ensi ye, era n'asaasira abantu be.#Zab 103:13, Zek 1:14 19Awo Mukama n'addamu n'agamba abantu be nti, “Laba, mbaweereza eŋŋaano, omwenge n'amafuta, era mulikutta; so siribafuula nate kivume eri amawanga.”#Zab 4:7, Yo 1:10, Mal 3:10-12 20“Ndibaggyako eggye ery'obukiikakkono ne nditwala wala, era ndibagobera mu nsi enkalu eyalekebwawo, mu maaso ge mu nnyanja ey'ebuvanjuba, n'emabega we mu nnyanja ey'ebugwanjuba; ekivundu n'okuwunya kwabwe okubi kulirinnya, kubanga bakoze ebikulu.#Is 34:3 21Totya, ggwe ensi, sanyuka era ojaguze; kubanga Mukama akoze ebikulu.#Zab 126:2,3 22Temutya mmwe ensolo ez'omu nsiko; kubanga amalundiro ag'omu ddungu gaafuuse ga kiragala, omuti gubala ebibala byagwo, omutiini n'omuzeyituuni gibaze ebibala bingi. 23Kale musanyuke, mmwe abaana ba Sayuuni, era mujagulize Mukama Katonda wammwe; kubanga abawa enkuba eya ttoggo mu kigera kyayo ekisaana, era abatonnyeseza enkuba eya ttoggo n'eya ddumbi, nga bwe yagibatonnyesezanga edda.#Ma 11:14, Kos 6:3, 1 Bas 4:16, Kub 18:8 24Amawuuliro galijjula eŋŋaano, n'amasogolero galibooga omwenge n'amafuta. 25Era ndibaddizawo emyaka gye mwafiirwa ne byonna enzige bye zalya, kalusejjera n'akaacaaka n'akawuka, eggye eddene lye n'asindika okubalumba. 26Kale munaalyanga bingi nnyo, ne mukkuta, ne mutendereza erinnya lya Mukama Katonda wammwe abakoledde eby'ekitalo. Abantu bange tebaliddayo nate kuswazibwa.#Leev 25:19, Is 49:23 27Mulimanya nga ndi wakati mu mmwe Isiraeri, era nga ndi Mukama Katonda wammwe, so tewali mulala. Abantu bange tebaliddayo nate kuswazibwa.”#Is 44:8, Ez 37:26, Kos 11:9, Yo 3:17
Olunaku lwa Mukama
28Awo olulituuka oluvannyuma lw'ebyo ndifuka omwoyo gwange ku bonna abalina omubiri; kale batabani bammwe ne bawala bammwe baliragula, abakadde bammwe baliroota ebirooto, abalenzi bammwe baliraba okwolesebwa.#Bik 2:17-21, Is 32:15, Ez 39:29, Yok 7:39, Bik 10:45 29Ku baddu n'abazaana bammwe mu nnaku ezo nabo ndibafukako omwoyo gwange.#1 Kol 12:13 30Era ndyolesa eby'ekitalo mu ggulu ne mu nsi, omusaayi n'omuliro n'empagi ez'omukka.#Mal 4:5, Mat 24:29, Kub 6:12 31Enjuba erifuuka kizikiza, n'omwezi gulifuuka omusaayi, olunaku lwa Mukama olukulu era olw'entiisa nga terunatuuka. 32Awo olulituuka buli alisaba erinnya lya Mukama, alirokoka; kubanga ku lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi walibaawo abo abaliwona, nga Mukama bwe yayogera, era mu baliwonawo, mulibaamu abo Mukama b'aliyita.#Is 59:20, Ob 17, Mi 4:7, Zek 8:12, Bar 9:27; 10:13

Currently Selected:

Yoweeri 2: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in