Yokaana 20
20
Okuzuukira kwa Yesu
(Mat 28:1-8, Mak 16:1-8, Luk 24:1-12)
1Awo ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, Malyamu Magudaleene n'ajja mu matulutulu, nga tebunnalaba, eri entaana, n'alaba ng'ejjinja liggiddwa ku ntaana.#Mat 28:1-10, Mak 16:1-11, Luk 24:1-12 2Awo n'adduka n'agenda eri Simooni Peetero, n'eri omuyigirizwa oli omulala Yesu gwe yayagalanga, n'abagamba nti, “Baggyeemu Mukama waffe mu ntaana, so tetumanyi gye bamutadde.”#Yok 13:23 3Awo Peetero n'afuluma, n'omuyigirizwa oyo omulala, ne bagenda ku ntaana. 4Ne badduka bombi, naye omuyigirizwa oyo omulala n'ayisa Peetero, n'asooka okutuuka ku ntaana: 5n'akutama n'alingizaamu, n'alaba engoye z'ekitaani nga ziteekeddwa awo; naye n'atayingira. 6Awo ne Simooni Peetero n'ajja ng'amugoberera, n'ayingira mu ntaana; n'alaba engoye z'ekitaani nga ziteekeddwa awo, 7n'ekiremba ekyali ku mutwe gwe nga tekiteekeddwa wamu na ngoye z'ekitaani, naye nga kizingiddwa nga kiri kyokka ku bbali.#Yok 11:44 8Awo n'omuyigirizwa oyo omulala eyasooka okujja ku ntaana, n'ayingira, n'alaba n'akkiriza. 9Kubanga baali tebannategeera ekyawandiikibwa nti, “kimugwanira okuzuukira mu bafu.”#1 Kol 15:4, Bik 2:24-32 10Awo nate abayigirizwa ne baddayo ewaabwe eka.
Yesu alabikira Malyamu Magudaleene
(Mat 26:9-10, Mak 16:9-11)
11Naye Malyamu yali ayimiridde ebweru awaali entaana ng'akaaba: awo bwe yali ng'akaaba, n'akutama n'alingiza mu ntaana; 12n'alaba bamalayika babiri nga bambadde enjeru, nga batudde, omu emitwetwe n'omulala emirannamiro w'ekifo, omulambo gwa Yesu we gwali guteekeddwa. 13Abo ne bamugamba nti, “Omukyala, okaabira ki?” N'abagamba nti, “Kubanga baggyeemu Mukama wange, nange simanyi gye bamutadde.” 14Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'akyuka emabega, n'alaba Yesu ng'ayimiridde, n'atamanya nga ye Yesu. 15Yesu n'amugamba nti, “Omukyala, okaabira ki? Onoonya ani?” Ye ng'alowooza nti ye mukuumi w'olusuku, n'amugamba nti, “Ssebo, oba nga ggwe omututte awalala, mbuulira gy'omutadde, nange nnaamuggyayo.” 16Yesu n'amugamba nti, “Malyamu.” N'akyuka n'amugamba mu Lwebbulaniya nti, “Labooni;” amakulu gaakyo Muyigiriza. 17Yesu n'amugamba nti, “Tonkwatako; kubanga sinnaba kulinnya mu ggulu eri Kitange: naye genda eri baganda bange, obabuulire nti Nninnya mu ggulu eri Kitange, era Kitammwe, eri Katonda wange, era Katonda wammwe.”#Beb 2:11,12, Bar 8:29 18Malyamu Magudaleene n'ajja n'abuulira abayigirizwa nti, “Ndabye Mukama waffe;” era n'abategeeza Mukama by'amugambye.
Yesu alabikira abayigirizwa be
(Mat 28:16-20, Mak 16:14-18, Luk 24:36-46)
19Awo ku lunaku luli akawungeezi ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, enzigi bwe zaali nga ziggaddwawo mu kifo abayigirizwa mwe baali, olw'okutya Abayudaaya, Yesu n'ajja, n'ayimirira wakati mu bo, n'abagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe.”#Mak 16:14-18, Luk 24:36-49 20Awo bwe yamala okwogera bw'atyo, n'abalaga engalo ze n'embiriizi ze. Abayigirizwa ne basanyuka, bwe baalaba Mukama waabwe.#1 Yok 1:1 21Awo Yesu n'abagamba nate nti, “Emirembe gibe mu mmwe: nga Kitange bwe yantuma nze, nange bwe ntyo mbasindika mmwe.”#Yok 17:18 22Bwe yamala okwogera ekyo, n'abassiza omukka, n'abagamba nti, “Mutoole Omwoyo Omutukuvu:#Lub 2:7 23ebibi byabo bonna bye munaasonyiwanga, binaabasonyiyibwanga; ne by'abo be munaasibiranga, nga bibasibiriddwa ddala.”#Mat 16:19; 18:18
Yesu asisinkana Tomasi
24Naye Tomasi omu ku kkumi n'ababiri (12), eyayitibwanga Didumo, teyali nabo Yesu bwe yajja.#Yok 11:16; 14:5 25Awo abayigirizwa abalala ne bamubuulira nti, “Tulabye Mukama waffe.” Naye n'abagamba nti, “Bwe ssiriraba mu bibatu bye enkovu z'enninga, ne nzisa olunwe lwange ku nkovu z'enninga, ne nsonseka omukono gwange mu mbiriizi ze, sirikkiriza n'akatono.”#Yok 19:34
26Oluvannyuma nga wayiseewo ennaku munaana, ate abayigirizwa be baali munda, ne Tomasi ng'ali nabo, Yesu n'ajja, enzigi nga ziggaddwawo, n'ayimirira wakati mu bo n'agamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe.”#Yok 20:19 27Awo n'agamba Tomasi nti, “Leeta wano olunwe lwo olabe ebibatu byange; era oleete n'omukono gwo, ogusse mu mbiriizi zange; oleme okuba atakkiriza naye akkiriza.” 28Tomasi n'addamu n'amugamba nti, “Ggwe Mukama wange, era Katonda wange.”#Yok 1:1 29Yesu n'amugamba nti, “Kubanga ondabye, kyovudde okkiriza; balina omukisa abakkiriza nga tebaliiko kye balabye.”#1 Peet 1:8
Ekyawandiisisa ebigambo bino
30Waliwo obubonero obulala bungi Yesu bwe yakolera mu maaso g'abayigirizwa be, obutawandiikiddwa mu kitabo kino; 31naye buno bwawandiikibwa, mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo, Omwana wa Katonda; era bwe mukkiriza mube n'obulamu mu linnya lye.#1 Yok 5:13, Bar 1:17
Currently Selected:
Yokaana 20: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: