YouVersion Logo
Search Icon

Yokaana 19

19
Piraato akuba Yesu embooko
1Awo Piraato n'alyoka atwala Yesu n'amukuba emiggo.#Mat 27:2,11-30, Mak 15:1-19, Luk 23:1-25 2Basserikale ne baluka engule y'amaggwa, ne bagimutikkira ku mutwe, ne bamwambaza olugoye olw'effulungu; 3ne bajja w'ali ne bagamba nti, “Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya!” Ne bamukuba empi.#Yok 18:22 4Piraato n'afuluma nate ebweru, n'abagamba nti, “Laba mmufulumya ebweru we muli, mutegeere nga siraba musango ku ye.” 5Awo Yesu n'afuluma, ng'atikkiddwa engule ey'amaggwa, era ng'ayambadde n'olugoye olw'effulungu. Piraato n'abagamba nti, “Laba omuntu oyo!” 6Awo bakabona abakulu n'abaweereza bwe baamulaba, ne boogerera waggulu nga bagamba nti, “Komerera, komerera.” Piraato n'abagamba nti, “Mumutwale mmwe mumukomerere, kubanga nze siraba musango ku ye.” 7Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Ffe tulina etteeka n'olw'etteeka eryo agwanidde okufa, kubanga yeefuula Omwana wa Katonda.”#Yok 5:18; 10:33, Leev 24:16 8Awo Piraato bwe yawulira ekigambo ekyo, ne yeeyongera okutya; 9n'ayingira nate mu kigango, n'agamba Yesu nti, “Oli wa wa?” Naye Yesu n'atamuddamu. 10Awo Piraato n'amugamba nti, “Toyogera nange? Tomanyi nga nnina obuyinza obw'okukuta, era nnina obuyinza obw'okukukomerera?” 11Yesu n'amuddamu nti, “Tewandibadde na buyinza bwonna ku nze, singa tebwakuweebwa okuva waggulu; ampaddeyo gy'oli kyavudde abeera n'ekibi ekisinga.”#Yok 10:18, Bik 2:23 12Okusookera awo Piraato n'asala amagezi okumuta: naye Abayudaaya ne boogerera waggulu nga bagamba nti, “Bw'onoomuta oyo nga toli mukwano gwa Kayisaali: buli muntu yenna eyeefuula kabaka awakanya Kayisaali.”#Bik 17:7 13Awo Piraato bwe yawulira ebigambo ebyo n'afulumya Yesu ebweru, n'atuula ku ntebe ey'emisango mu kifo ekiyitibwa Amayinja Amaaliire, naye mu Lwebbulaniya Gabbasa. 14Lwali lunaku lwa kuteekateeka Okuyitako: zaali nga ziri essaawa mukaaga. N'agamba Abayudaaya nti, “Laba Kabaka wammwe!” 15Awo bo ne boogerera waggulu nti, “Muggyeewo, muggyeewo mukomerere.” Piraato n'abagamba nti, “Nnaakomerera Kabaka wammwe?” Bakabona abakulu ne baddamu nti, “Tetulina kabaka wabula Kayisaali.”#Yok 19:6 16Awo Piraato n'alyoka abawa Yesu okumukomerera. #Mat 27:31-50, Mak 15:20-37, Luk 23:26-46
Yesu akomererwa ku musaalaba
(Mat 27:32-44, Mak 15:21-32, Luk 23:26-43)
Awo ne batwala Yesu: 17n'afuluma, nga yeetisse yekka omusaalaba gwe, n'atuuka mu kifo ekiyitibwa Ekyekiwanga, ekiyitibwa mu Lwebbulaniya Gologoosa. 18Ne bamukomererera ku musaalaba mu kifo ekyo, era ne bakomerera n'abalala babiri wamu naye, eruuyi n'eruuyi, nga Yesu ali wakati. 19Ne Piraato n'awandiika ebbaluwa n'agissa ku musalaba, ng'ewandiikiddwa nti, “YESU Omunazaaleesi KABAKA w'Abayudaaya.” 20Awo ebbaluwa eyo bangi ku Bayudaaya ne bagisoma: kubanga ekifo kye baakomereramu Yesu kyali kumpi n'ekibuga: era yawandiikibwa mu Lwebbulaniya, ne mu Luyonaani, ne mu Luruumi. 21Awo bakabona abakulu b'Abayudaaya ne bagamba Piraato nti, “Towandiika nti Kabaka w'Abayudaaya; naye nti oyo eyayogera nti Nze Kabaka w'Abayudaaya.” 22Piraato n'addamu nti, “Kye mpandiise kye mpandiise.”
23Awo basserikale bwe baamala okukomerera Yesu, ne batwala ebyambalo bye, ne bateeka emiteeko ena, buli sserikale muteeko; n'ekkanzu ye: n'ekkanzu ye teyatungwa, yalukibwa bulukibwa yonna okuva waggulu. 24Ne bagamba bokka na bokka nti, “Tuleme okugiyuzaamu, naye tugikubire akalulu, tulabe anaaba nnyiniyo,” ekyawandiikibwa kituukirire, ekyogera nti, #Zab 22:18
“Bagabana ebyambalo byange,
Era bakubira akalulu eky'okwambala kyange.”
Awo basserikale ne bakola ebyo. 25Naye awo awali omusaalaba gwa Yesu waali wayimiridde nnyina, ne muganda wa nnyina, Malyamu muka Kuloopa, ne Malyamu Magudaleene. 26Awo Yesu bwe yalaba nnyina, n'omuyigirizwa gwe yali ayagala ng'ayimiridde kumpi, n'agamba nnyina nti, “Omukyala, laba, omwana wo!”#Yok 13:23 27Oluvannyuma n'agamba omuyigirizwa nti, “Laba nnyoko.”Awo okuva mu ssaawa eyo omuyigirizwa oyo n'atwala nnyina eka ewuwe.
Okufa kwa Yesu
(Mat 27:45-56, Mak 15:33-41, Luk 23:44-49)
28Oluvannyuma lw'ebyo, Yesu bwe yamanya nti kaakano ebigambo byonna bimaze okutuukirira, olw'okwagala okutuukiriza ebyawandiikibwa, n'agamba nti, “Nnina ennyonta.”#Yok 13:3; 18:4, Zab 22:15 29Waali wateekeddwawo ekibya ekijjudde omwenge omukaatuufu: awo ne bassa ku ezobu ekisuumwa ekijjudde omwenge omukaatuufu, ne bakitwala ku mumwa gwe.#Zab 69:21 30Awo Yesu bwe yamala okuweebwa omwenge, n'agamba nti, “Kiwedde,” n'akutamya omutwe gwe, n'awaayo omwoyo gwe.
Yesu afumitibwa effumu mu mbiriizi
31Awo Abayudaaya, kubanga lwali lunaku lwa Kuteekateeka, emirambo gireme okubeera ku musaalaba ku lunaku lwa Ssabbiiti (kubanga olunaku lwa ssabbiiti eyo lwali lukulu) ne basaba Piraato okubamenya amagulu gaabwe, balyoke baggibweko.#Ma 21:23 32Awo basserikale ne bajja, ne basookera ku omu ne bamumenya amagulu, n'omulala eyakomererwa naye: 33naye bwe bajja eri Yesu, ne balaba ng'amaze okufa, ne batamumenya magulu: 34naye sserikale omu n'amufumita mu mbiriizi ze n'effumu, amangu ago ne muvaamu omusaayi n'amazzi. 35Naye eyalaba n'ategeeza n'okutegeeza kwe kwa mazima: era oyo amanyi ng'ayogera amazima, nammwe mulyoke mukkirize. 36Kubanga ebyo byabaawo, ekyawandiikibwa kituukirire nti, “Talimenyebwa ggumba.”#Kuv 12:46, Kubal 9:12, Zab 34:20 37Era nate ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti, “Balimulaba gwe baafumita.”#Zek 12:10, Kub 1:7
Okuziikibwa kwa Yesu
(Mat 27:57-61, Mak 15:42-47, Luk 23:50-56)
38Awo oluvannyuma lw'ebyo Yusufu ow'e Alimasaya, eyali omuyigirizwa wa Yesu, naye mu kyama olw'okutya Abayudaaya, ne yeegayirira Piraato okuggya omulambo gwa Yesu ku musaalaba: awo Piraato n'akkiriza. Yusufu n'ajja, n'aggyako omulambo gwa Yesu.#Mat 27:57-61, Mak 15:42-47, Luk 23:50-55 39Ne Nikoodemo n'ajja (eyasooka okujja gy'ali ekiro), ng'aleese ebitabule eby'envumbo ne akaloosi, obuzito bwabyo laateri nga kikumi (100).#Yok 3:2, Mat 2:11 40Awo ne batwala omulambo gwa Yesu, ne baguzinga mu ngoye z'ekitaani wamu n'eby'akaloosa ebyo, ng'empisa y'Abayudaaya ey'okuziika bwe yali. 41Awo mu kifo we yakomererwa waaliwo olusuku ne mu lusuku mwalimu entaana empya etannaba kuteekebwamu muntu. 42Awo kubanga lwali lunaku lwa Kuteekateeka okw'Abayudaaya (era kubanga entaana yali kumpi) ne bassa omwo Yesu.

Currently Selected:

Yokaana 19: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in