Yeremiya 49
49
Mukama asalira Abammoni omusango
1Ebikwata ku baana ba Amoni, bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “ Isiraeri talina baana ba bulenzi? Talina musika? Kale Malukamu kiki ekimwefuza Gaadi, ne batuula mu bibuga byayo?#1 Bassek 11:5,33, Ez 21:28, Am 1:13,14 2Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndiwuliza eŋŋoma z'olutalo nga bazirayiza mu Labba, ekibuga eky'abaana ba Amoni; era kirifuuka kifunvu ekyalekebwawo, n'ebyalo byakyo biryokebwa omuliro: kale Isiraeri alifuga abo abaamufuganga.#Ez 21:20, Am 1:4 3Kuba ebiwoobe ggwe Kesuboni, kubanga Ayi kinyagiddwa; mukaabe, mmwe abawala ba Labba, mwesibe ebibukutu, mukungubage, mudduke nga mubuna emiwabo mu bisaakaate; kubanga Malukamu aligenda mu busibe, awamu ne bakabona be n'abakungu be.#Yer 48:7 4Lwaki mwenyumiriza olw'ebiwonvu byo ebikulukuta, ggwe omuwala atali mwesigwa eyeesiganga eby'obugagga bwe ng'ayogera nti, ‘Ani anaatulumba?’ 5Laba, ndikuleetako entiisa, bw'ayogera Mukama, Mukama w'eggye, okuva eri abo bonna abakwetoolodde; era muligobebwamu buli muntu aliviiramu ddala, so tewaliba akuŋŋaanya abo abadduka. 6Naye oluvannyuma ndizzaawo emikisa gy'abaana ba Amoni, bw'ayogera Mukama.”#Yer 48:47
Mukama asalira Edomu omusango
7Ebikwata ku Edomu. Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Amagezi tegakyali mu Temani? Abakalabakalaba tebakyamanyi kuteesa? Amagezi gaabwe gagenze?#Is 34:5, Am 1:11, Ob 1:1-21 8Mudduke, mukyuke okudda emabega, mutuule mu buziba, mmwe abatuula mu Dedani! Kubanga ndimuleetako obuyinike bwa Esawu, ekiseera kyendimubonererezaamu.#Yer 46:21; 49:30 9Singa abanozi b'ezabbibu bazze gy'oli tebandinoze ne balekako ezimu? Singa ababbi bazze ekiro, tebandinyaze ebyo bye baagala? 10Naye nze nnyambudde Esawu ne muleka bwereere, mbikkudde ebifo bye bye yeekwekamu, era takyayinza kwekweka. Abaana be baazikiriziddwa, bwe batyo ne baganda be ne baliraanwa be, era naye takyaliwo.#Yer 31:15, Mal 1:3 11Leka abaana bo abatalina bakitaabwe, nze nja kubakuuma nga balamu; ne bannamwandu bo banneesige nze.” 12Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Oba nga abo abaali batagwanidde kunywa ku kikompe#49:12 Ekikompe kabonero ka kubonaabona oba kibonerezo. kya kubonerezebwa baakinywako, ggwe oligenda nga tobonerezeddwa? Toligenda nga tobonerezeddwa, ekikompe olikinywerako ddala.#Yer 25:28,29 13Kubanga nneerayidde nzekka, bw'ayogera Mukama, nti ekibuga Bozula kirifuuka ekyennyamiza, n'ekivume n'amatongo n'ekikolimo; n'ebibuga byayo byonna binaabanga matongo ga lubeerera.”#Is 63:1, Yer 22:5; 24:9 14Mpulidde ebigambo ebivudde eri Mukama, era n'omubaka atumiddwa mu mawanga, ng'ayogera nti, “Mwekuŋŋaanye mukitabaale, musituke mulwane!”#Is 13:4 15Kubanga, laba, nkufudde mutono mu mawanga, era anyoomebwa mu bantu. 16Entiisa gyoyolesa ekulimbye, era n'amalala ag'omu mutima gwo, ggwe atuula mu njatika ez'omu lwazi, eyeekwata entikko y'olusozi. Naye ne bw'onoozimba ekisu kyo awagulumivu, okwenkana n'empungu, era ndikukkakkanya nga nkuwanulayo, bw'ayogera Mukama. 17Kale Edomu alifuuka kyewuunyo, buli anaayitangawo aneewuunyanga era anaasoozanga olw'ebibonoobono byayo byonna.#Ez 35:3,7,9 18Nga Sodomu ne Ggomola n'ebibuga ebiriraanyeewo bwe byazikirizibwa, bw'ayogera Mukama, bw'etyo neyo tewali muntu alibeera eyo wadde omuntu alituula omwo.#Ma 29:23, Is 13:19 19Laba ng'empologoma eva mu bibira bya Yoludaani, okulumba amalundiro g'endiga ag'amaanyi, bw'entyo mangu ago ndimuddusa okumuvaako; era ndironda gwe ndyagala mubo okubafuga. Kubanga ani afaanana nga nze? Ani ayinza okumpozesa? Omusumba aluwa ayinza okuyimirira mu maaso gange?#Yer 50:44-46, Yer 4:7; 10:6; 30:21; 50:44-46 20Kale muwulire okuteesa, Mukama kw'ateesezza eri Edomu; n'ebyo by'amaliridde okukola ku abo abatuula mu Temani, mazima n'abaana abato ab'omu kisibo balikululibwa, mazima ekisibo kiryewuunya olw'ebyo ebikituuseeko. 21Olw'eddoboozi ery'okuggwa kwabwe ensi erikankana, eddoboozi ly'okukaaba kwabwe, liwulirwa ku Nnyanja Emmyufu.#Yer 50:46, Ez 26:15 22Laba, omu alirinnya n'abuuka ng'empungu n'ayanjuluza ebiwaawaatiro bye okulwanyisa Bozula, era omutima gw'abalwanyi ba Edomu ku lunaku luli guliba ng'omutima gw'omukazi alumwa okuzaala.
Mukama asalira Ddamasiko omusango
23Ebikwata ku Ddamasiko. Kamasi ne Alupadi basobeddwa, kubanga bawulidde ebigambo ebibi; basaanuuka olw'okutya, batabuse ng'ennyanja eteyinza kuteeka.#Is 17:1, Am 1:3 24Ddamasiko ayongobedde, akyuka okudduka, n'okukankana kumukutte, obubalagaze n'obuyinike bimunywezezza ng'omukazi alumwa okuzaala.#Yer 46:5 25Engeri ekibuga ekimanyifu gy'ekirekeddwawo, ekibuga ekyalinga ekyessanyu! 26Abalenzi baakyo kyebaliva bagwira mu nguudo zaakyo, era abalwanyi be bonna balizikirizibwa ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama w'eggye.#Yer 50:30 27Era ndikuma omuliro mu bbugwe w'e Ddamasiko, era gulyokya ebifo eby'amaanyi ebya Benukadaadi.#1 Bassek 20:1, Yer 17:27
Mukama asalira omusango ekika kya Kedali n'ekibuga Kazoli
28Ebikwata ku Kedali n'eby'obwakabaka bwa Kazoli, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni bwe yakuba.#Balam 6:3, Is 11:14; 21:16, Ez 25:4,10 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti: “Musituke mulumbe Kedali! Muzikirize abantu ab'ebuvanjuba! 29Eweema zaabwe n'ebisibo byabwe biritwalibwa, entiimbe zaabwe n'ebintu byabwe byonna, eŋŋamira zaabwe tezikyabagasa, era abantu balibakabirira nti, ‘Entiisa ebali ku njuyi zonna.’#Zab 120:5, Lu 1:5, Yer 6:25 30Mudduke, mutambuliretambulire wala, mwekweke wansi, mmwe ababeera mu Kazoli! bw'ayogera Mukama; kubanga Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni abateeserezza ebigambo, era abasalidde amagezi. 31Musituke mujje tulumbe eggwanga eriri mu ddembe, eribeera nga likuumibwa; bw'ayogera Mukama, eritalina nzigi, wadde ebisiba, abatuula bokka.#Ez 38:8,11 32N'eŋŋamira zaabwe ziriba munyago, n'amagana gaabwe ag'ente ga kwegabanya. Ndisaasaanyiza eri buli mpewo abo abamwa ensonda z'enviiri zaabwe, era ndibaleetako obuyinike okuva ku njuyi zonna, bw'ayogera Mukama.#Yer 9:26 33Era Kazoli kinaabanga kifo kya bibe, era matongo ag'olubeerera; tewaabenga muntu alibeera eyo, so tewaabenga mwana wa alituula omwo.”#Yer 9:11
Mukama asalira Eramu omusango
34Ekigambo kya Mukama ekyajja eri Yeremiya nnabbi nga kikwata ku Eramu, Zeddekiya kabaka wa Yuda, bwe yali nga kyajje afuuke kabaka, nga kyogera nti,#2 Bassek 24:17,18, Is 11:11, Ez 32:24, Dan 8:2 35Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, “Laba, ndimenya omutego gwa Eramu, ensibuko y'amaanyi gaabwe.#Is 22:6 36Era ndireeta ku Eramu empeewo ennya okuva mu bitundu ebina eby'eggulu; era ndibasaasaanyiza eri empeewo ezo zonna, era abo abagobebwa mu Eramu tewaliba ggwanga gye batalituuka. 37Era nditiisa Eramu mu maaso g'abalabe baabwe, ne mu maaso g'abo abanoonya obulamu bwabwe; era ndibaleetako obubi, obusungu bwange obungi, bw'ayogera Mukama; era ndisindika ekitala okubagoberera okutuusa lwe ndibamalirawo ddala; 38era nditeeka nnamulondo yange mu Eramu, era ndizikiriza kabaka waabwe, n'abakungu baabwe,” bw'ayogera Mukama. 39“Naye mu nnaku ez'oluvannyuma, ndizzawo emikisa gya Eramu, bw'ayogera Mukama.”#Yer 48:47
Currently Selected:
Yeremiya 49: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.