Yeremiya 45:3-4
Yeremiya 45:3-4 LBR
Wayogera nti, Zinsanze kaakano! kubanga Mukama ayongedde obuyinike ku kulumwa kwange; okusinda kwange kunkooyezza, so siraba kuwummula kwonna. Bw'oti bw'oba omugamba nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, ekyo kye nnazimba ndikyabya, n'ekyo kye nnasimba ndikisimbula; era bwe ndikola bwe ntyo mu nsi yonna.





