YouVersion Logo
Search Icon

Yeremiya 43

43
Yeremiya atwalibwa e Misiri
1Awo olwatuuka Yeremiya bwe yamalira ddala okwogera n'abantu bonna ebigambo byonna ebya Mukama Katonda waabwe, Mukama Katonda waabwe bye yali amutumye gyebali; 2awo Azaliya mutabani wa Kosaaya ne Yokanani mutabani wa Kaleya n'abasajja bonna ab'amalala ne bagamba Yeremiya nti, “Olimba, Mukama Katonda waffe takutumye kwogera nti, ‘Temugenda Misiri okubeera eyo;’#Zab 86:14 3naye Baluki mutabani wa Neriya ye akutuwendulidde okutugabula mu mukono gw'Abakaludaaya balyoke batutte, oba batutwale e Babbulooni nga tuli basibe.”#Yer 38:23 4Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole n'abantu bonna ne batagondera ddoboozi lya Mukama okusigala mu nsi ya Yuda. 5Naye Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole ne batwala ekitundu kyonna ekya Yuda, abaafikkawo abaali bakomyewo okubeera mu Yuda, okuva mu mawanga gonna gye baali babagobedde;#Yer 40:11,12 6abasajja, n'abakazi n'abaana abato n'abawala ba kabaka, na buli muntu Nebuzaladaani omukulu w'abambowa gwe yali alekedde Gedaliya mutabani wa Akikamu, Akikamu mutabani wa Safani, ne Yeremiya nnabbi ne Baluki mutabani wa Neriya;#Yer 41:10 7ne bayingira mu nsi ye Misiri, kubanga tebaagondera ddoboozi lya Mukama, ne batuuka e Tapanesi. 8Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya e Tapanesi nga kyogera nti, 9“Twala mu mikono gyo amayinja amanene, ogakweke mu ttaka ery'omu matoffaali agali awayingirirwa mu nnyumba ya Falaawo e Tapanesi, nga abasajja ba Yuda balaba; 10obagambe nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Laba, ndituma ne nzirira Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, omuddu wange, ne nteeka entebe, ye ku mayinja gano ge nkwese; era alitimba eweema ye eya kabaka ku go.#Yer 1:15; 25:9 11Era alijja n'akuba ensi y'e Misiri; ab'okuttibwa baliweebwayo eri okuttibwa, n'ab'obusibe eri obusibe, n'ab'ekitala eri ekitala.#Yer 15:2; 46:13 12Era alikuma omuliro mu nnyumba za bakatonda b'e Misiri; era alibookya n'abatwala nga basibe, era alirongoosa ensi y'e Misiri ng'omusumba bw'alongoosa ekyambalo kye, okukiggyamu obuwuka, era alivaayo mirembe.#Kuv 12:12, Is 19:1; 49:18, Yer 48:7, Ez 30:13 13Era alimenya empagi ez'e Besusemesi ekiri mu nsi y'e Misiri; n'ennyumba za bakatonda b'e Misiri zonna alizookya omuliro.’ ”

Currently Selected:

Yeremiya 43: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in