Yeremiya 42
42
Abantu beegayirira Yeremiya abasabire
1Awo abaami bonna ab'ebitongole ne Yokanani mutabani wa Kaleya ne Yezaniya mutabani wa Kosaaya n'abantu bonna abato n'abakulu ne basembera,#Yer 43:2 2ne bagamba Yeremiya nnabbi nti, “Tukwegayiridde, okusaba kwaffe kukkirizibwe gyoli, otusabire eri Mukama Katonda wo, ng'osabira ffe ffenna abasigaddewo; kubanga tusigaddewo batono fekka abaabanga abangi ng'amaaso go bwe gatulaba;#Leev 26:22, 1 Sam 12:19, Yer 40:15 3Mukama Katonda wo atulage ekkubo eritugwanira okutambuliramu, era n'ekigambo ekitugwanira okukola.”#Ezer 8:21 4Awo Yeremiya nnabbi n'abaddamu nti, “Mbawulidde; laba, nja kusaba Mukama Katonda wammwe nga bwe mugambye; kale olulituuka kyonna Mukama ky'alibaddamu ndikibabuulira; siribakisa kigambo kyonna.”#1 Sam 3:18 5Awo ne bagamba Yeremiya nti, “Mukama abe omujulizi ow'amazima era omwesigwa gyetuli, bwe tutalikola ng'ekigambo kyonna Mukama, Katonda wo ky'alikutuma gyetuli.#Balam 11:10, Kub 1:5; 3:14 6Oba nga kirungi oba nga kibi, tuligondera eddoboozi lya Mukama Katonda waffe gye tukutuma; tulyoke tubenga bulungi bwe tunagonderanga eddoboozi lya Mukama Katonda waffe.”#Yer 7:23
Mukama ayanukula okusaba kwa Yeremiya
7Awo olwatuuka ennaku kkumi (10) bwe zaayitawo, ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya.#Ez 3:16 8Awo n'ayita Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali naye, n'abantu bonna okuva ku muto okutuuka ku mukulu, 9n'abagamba nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri gye mwantuma okwanjula okusaba kwammwe nti, 10Bwe mulikkiriza okubeera mu nsi eno, kale ndibazimba, so siribaabya, era ndibasimba, so siribasimbula, kubanga nejjusizza obubi bwe nnabakola.#Yer 18:8; 24:6 11Temutya kabaka w'e Babbulooni, oyo gwe mweralikirira; temumutya, bw'ayogera Mukama, kubanga nze ndi wamu nammwe okubalokola n'okubawonya mu mukono gwe.#Yer 41:18, Bar 8:31 12Ndibawa mmwe okusaasirwa, alyoke abakwatirwe ekisa, era abaleke musigale mu nsi yammwe.#Nek 1:11 13Naye bwe munaagamba nti, ‘Tetujja kusigala mu nsi eno;’ ne mutagondera ddoboozi lya Mukama, Katonda wammwe;#Yer 43:4 14nga mwogera nti, ‘Nedda; naye tuligenda mu nsi y'e Misiri gye tutalirabira ntalo, era gye tutaliwulirira ddoboozi lya kkondeere, wadde okulumwa enjala; eyo gye tulituula;’#Yer 4:19; 41:17 15kale nno muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abafisseewo ku Yuda,” bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti, bwe muba nga mumaliridde ddala okuyingira mu Misiri, era ne mugenda okubeera omwo;#Ma 17:16, Yer 44:12-14 16kale olulituuka ekitala kye mutya kiribakwatira eyo mu nsi y'e Misiri, n'enjala gye mutidde eribacoccera eyo mu Misiri; era eyo gye mulifiira.#Ez 11:8 17Abasajja bonna abamaliridde okugenda e Misiri okubeera eyo; balifa n'ekitala, n'enjala, ne kawumpuli; so tewaliba ku bo abalifikkawo wadde abaliwona bwe ndibaleetako.#Kung 2:22 18“Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti, nga obusungu bwange n'ekiruyi kyange bwe byafukibwa ku abo abaali mu Yerusaalemi, ekiruyi kyange bwe kirifukibwa ku mmwe bwe kityo, bwe muliyingira mu Misiri; muliba ekikyayibwa, ekitiisa, ekikolimo n'ekyewuunyo, so temuliraba nate kifo kino. 19Mukama ayogedde ku mmwe, ayi ekitundu ekifisseewo ku Yuda, nti, ‘Temugenda mu Misiri,’ mutegeerere ddala nga leero nze mbalabudde.#Ez 2:5 20Kubanga mukoze eby'obukuusa era mutunze obulamu bwammwe, kubanga mwantuma eri Mukama Katonda wammwe nga mwogera nti, ‘Tusabire eri Mukama Katonda waffe; era nga byonna bwe biriba Mukama, Katonda waffe by'alyogera, naffe tulibikola;’ 21era leero mbibabuulidde; naye temugondedde ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe mu byonna by'antumye gye muli. 22Kale nno mutegeerere ddala nga mulifa n'ekitala, n'enjala ne kawumpuli, mukifo gye mwagala okugenda okubeera.”
Currently Selected:
Yeremiya 42: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: