Yeremiya 40:3-4
Yeremiya 40:3-4 LBR
Mukama abutuukiriza, era akoze nga bwe yayogera; kubanga mwayonoona Mukama, so temugondedde ddoboozi lye, ekigambo kino kyekivudde kibatuukako. Kale nno, laba, nkusumulula leero mu masamba agali ku mukono gwo. Oba ng'osiima okujja nange okugenda e Babbulooni, jjangu, nange nnaakukuumanga bulungi; naye oba ng'okiyita kibi okujja nange e Babbulooni, tojja. Laba, ensi yonna eri mu maaso go; gy'osiima okugenda era gy'osinga okwagala, gy'oba ogenda.


