Yeremiya 29
29
Yeremiya awandiikira Abayudaaya mu Babbulooni
1Era bino bye bigambo eby'omu bbaluwa Yeremiya nnabbi gye yaweereza ng'asinziira e Yerusaalemi eri abakadde, babo abali mu buwaŋŋanguse, n'eri bakabona, ne bannabbi, n'abantu bonna Nebukadduneeza be yali atutte mu buwaŋŋanguse okuva e Yerusaalemi okugenda e Babbulooni.#Ez 8:1 2Kino kyaliwo oluvannyuma lwa kabaka Yekoniya, ne nnamasole n'abalaawe n'abakungu ba Yuda ne Yerusaalemi ne bafundi n'abaweesi okuggyibwa mu Yerusaalemi.#Yer 24:1 3Ebbaluwa n'agiwa Erasa mutabani wa Safani ne Gemaliya mutabani wa Kirukiya, abo Zeddekiya kabaka wa Yuda be yatuma e Babbulooni eri Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni. Yali egamba bweti, 4“Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri, eri abo bonna abawaŋŋangusibwa be n'asindika mu buwaŋŋanguse okuva e Yerusaalemi okugenda e Babbulooni nti, 5Muzimbenga ennyumba mutuulenga omwo; musimbenga ensuku, mulyenga emmere yaamu; muwasenga abakazi, muzaalenga abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala; 6era muwasizenga batabani bammwe abakazi, era ne bawala bammwe mubafumbizenga, bazaalenga abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala; mweyongere obungi, muleme kukendeera. 7Mwagalizenga ekibuga emirembe, gye nnabasindika mu buwaŋŋanguse, era mukisabirenga eri Mukama, kubanga olw'emirembe gyakyo nammwe muliba n'emirembe.#Ezer 6:10, 1 Tim 2:1,2 8Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti, Bannabbi bammwe abali wakati mu mmwe n'abasamize bammwe balemenga okubalimba, so temuwulirizanga birooto byabwe bye baloota.#Yer 5:31; 27:9 9Kubanga balagulira mu linnya lyange eby'obulimba, so sibatumanga,” bw'ayogera Mukama. 10“Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Emyaka nsanvu (70) gye nawa Babbulooni bwe giriggwaako, ndibakyalira, era ndituukiriza ekisuubizo kyange, ne mbakomyawo mu kifo kino.#Yer 25:12; 27:22; 33:14, Yer 31:17; 33:3 11Kubanga mmanyi ebirowoozo bye ndowooza gye muli, bw'ayogera Mukama, ebirowoozo eby'emirembe so si bya bubi, okubawa eby'omu maaso ne suubi. 12Olwo mulinkoowoola, nange ne nzijja; mulinsaba, nange ndibawulira.#Yer 33:3 13Era mulinnoonya ne mundaba, bwe mulinkenneenya n'omutima gwammwe gwonna.#Ma 4:29, 2 Byom 15:2, Nge 8:17, Yer 24:7 14Nange mulindaba, bw'ayogera Mukama, era ndizaawo emikisa gyammwe, ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu mawanga gonna ne mu bifo byonna gye nnabagobera, era ndibakomyawo mu nsi mwe nnabaggya okubatwala mu buwaŋŋanguse.”#Ma 30:3, Yer 23:3 15“Kubanga mwogedde nti,‘ Mukama atuwadde bannabbi mu Babbulooni.’ 16Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama ebikwata ku kabaka atuula ku nnamulondo ya Dawudi, era n'ebikwata ku bantu bonna abali mu kibuga kino, baganda bammwe, abataagenda nammwe mu buwaŋŋanguse,#Yer 22:2 17‘bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Laba, ndisindika ku bo ekitala, n'enjala ne kawumpuli, era ndibafuula ng'ettiini ezitaliiko kye zigasa ezitaliika kubanga ziyinze obubi.#Yer 24:8,10 18Era ndibayigganya n'ekitala, n'enjala ne kawumpuli, era ndibawaayo okuyuuguumizibwa mu nsi zonna eza bakabaka eziri ku nsi, era okuba ekikolimo, eky'entiisa, n'okusoozebwanga n'ekivume mu mawanga gonna gye nnabagobera,#Yer 24:9; 42:18 19kubanga tebawulirizza bigambo byange, bye n'atuma abaddu bange bannabbi, be nnabaweerezanga obutayosa; naye ne mutakkiriza kuwulira, bw'ayogera Mukama.’#Yer 25:4 20Kale muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna abaagenda mu buwaŋŋanguse, be nnasindika e Babbulooni okuva e Yerusaalemi.”
21Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri ebikwata ku Akabu mutabani wa Kolaya n'ebya Zeddekiya mutabani wa Maaseya abalagula eby'obulimba mu linnya lyange nti, Laba, ndibagabula mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni; era alibatta nga mulaba;#Yer 14:14 22era ku lwabwe ekikolimo kino kinaakozesebwanga abo bonna abali mu buwaŋŋanguse abaava mu Yuda abali e Babbulooni nti, “ Mukama akufuule nga Zeddekiya ne Akabu kabaka w'e Babbulooni be yayokya omuliro,”#Is 65:15, Yer 24:9, Dan 3:6 23kubanga bakoze eby'obusirusiru mu Isiraeri; benze ku bakazi ba bannaabwe, era boogedde ebigambo eby'obulimba mu linnya lyange bye sibalagiranga; nze mwene nze mmanyi, era ndi mujulirwa gyebali, bw'ayogera Mukama.#Yer 23:14, Mal 3:5
Ebbaluwa ya Semaaya
24Eri Semaaya Omunekeramu on'omugamba nti, 25“Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Kubanga oweerezza ebbaluwa mu linnya lyo ggwe, eri abantu bonna abali mu Yerusaalemi n'eri Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona n'eri bakabona bonna ng'oyogera nti,#2 Bassek 25:18, Yer 21:1; 35:4 26Mukama akufudde kabona mu kifo kya Yekoyaada kabona, obeere omukulu mu nnyumba ya Mukama. Mulimu gwo okulaba nga buli mulalu eyeefuula nnabbi, omuteeka mu nvuba ne mu masamba.#2 Bassek 11:4,15; 9:11, Yer 20:1,2 27Kale nno kiki ekikulobedde okunenya Yeremiya ow'e Yanasosi eyeefuula nnabbi gye muli?”#Yer 32:7 28Kubanga yatutumira e Babbulooni ng'ayogera nti, “Obuwaŋŋanguse bwa kulwawo; muzimbenga ennyumba, mutuulenga omwo; era musimbenga ensuku, mulyenga emmere yaamu.” 29Awo Zeffaniya kabona n'asomera Yeremiya nnabbi ebbaluwa eno. 30Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya nga kyogera nti, 31“Tumira abo bonna abali mu buwaŋŋanguse e Babbulooni ng'oyogera nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama ku bya Semaaya Omunekeramu nti, Kubanga Semaaya abalagudde, so nga nze simutumanga, era n'abaleetera okwesiga eby'obulimba.#Yer 5:31 32Mukama kyava ayogera bw'ati nti, Laba, ndibonereza Semaaya Omunekeramu n'ezzadde lye; taliba na musajja aliba omulamu mu bo aliraba ebirungi bye ndikolera abantu bange, bw'ayogera Mukama, kubanga ayogedde eby'obujeemu eri Mukama.’ ”#Yer 17:6; 28:16
Currently Selected:
Yeremiya 29: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: