YouVersion Logo
Search Icon

Yeremiya 28

28
Yeremiya ne nnabbi Kananiya
1Mu mwaka ogwo gwennyini, ku ntandikwa y'obufuzi bwa Zeddekiya kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw'okutaano ogw'omwaka ogwokuna, Kananiya mutabani wa Azzuli nnabbi ow'e Gibeoni n'ayogera nange mu nnyumba ya Mukama, bakabona n'abantu bonna nga weebali, nga agamba nti,#Yer 1:3 2“Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti, Mmenye ekikoligo kya kabaka w'e Babbulooni.#Yer 27:11,12 3Mu bbanga lya myaka ebiri, ndikomyawo nate mu kifo kino ebintu byonna eby'omu nnyumba ya Mukama, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni bye yaggya mu kifo kino n'abitwala e Babbulooni. 4Ndikomyawo mu kifo kino Yekoniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda wamu n'abantu bonna abawaŋŋanguka okuva mu Yuda abaagenda e Babbulooni, bw'ayogera Mukama, kubanga ndimenya ekikoligo kya kabaka w'e Babbulooni.”#Yer 22:24-26 5Awo nnabbi Yeremiya n'ayogera ne nnabbi Kananiya, mu maaso ga bakabona, n'abantu bonna abaali bayimiridde mu nnyumba ya Mukama, 6nnabbi Yeremiya n'ayogera nti, “Amiina! Mukama akole bw'atyo; Mukama atuukirize ebigambo byo byonna by'olagudde okukomyawo mu kifo kino okuva e Babbulooni, ebintu byonna eby'omu nnyumba ya Mukama n'abo bonna abatwalibwa mu buwaŋŋanguse.#1 Bassek 1:36 7Era naye wulira nno ekigambo kino kye njogera mu matu go ne mu matu g'abantu bano bonna, 8Bannabbi abansooka nze era n'abaakusooka ggwe edda baalagulanga, entalo, enjala ne kawumpuli eby'okujjira ensi nnyingi, n'amatwale ga bakabaka ab'amaanyi.#Yer 26:18 9Nnabbi alagula emirembe, ekigambo kya nnabbi bwe kirituukirira, kale kirimanyibwa nga ddala Mukama, yaatumye nnabbi oyo.”#Ma 18:22, Yer 6:14 10Awo Kananiya nnabbi n'aggya omuti gwe kikoligo mu nsingo ya nnabbi Yeremiya n'agumenya. 11Awo Kananiya n'ayogera abantu bonna nga weebali nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Era bwe ntyo bwe ndimenya n'ekikoligo kya Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni nga nkiggya ku nsingo y'amawanga gonna, emyaka ebiri emirambirira nga teginnaggwaako.” Awo nnabbi Yeremiya ne yeddirayo.#1 Bassek 22:11, Yer 27:7 12Ekiseera bw'ekyayitawo nga nnabbi Kananiya amaze okumenya emiti gy'ekikoligo okuva mu nsingo ya nnabbi Yeremiya, ekigambo kya Mukama ne kiryoka kijjira Yeremiya, 13“Genda obuulire Kananiya nti,‘ Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Omenye ekikoligo eky'emiti, naye olikola ekikoligo eky'ebyuma okudda mu kifo kyakyo. 14Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti, Ntadde ekikoligo eky'ebyuma mu nsingo y'amawanga gano gonna gaweereze Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni; era balimuweereza, era mmuwadde n'ensolo ez'omu nsiko okumuweereza.’ ”#Ma 28:48, Yer 25:11 15Awo nnabbi Yeremiya n'alyoka agamba nnabbi Kananiya nti, “Wulira nno, Kananiya; Mukama takutumanga; naye oleetera abantu bano okwesiga eby'obulimba.#Ma 18:20, Yer 29:31, Ez 13:22,23 16N'olwekyo bw'ati bw'ayogera Mukama nti, ‘Laba, nja kukuggya mu nsi, mu mwaka guno mw'olifiira kubanga oyogedde eby'obujeemu eri Mukama.’ ”#Ma 13:5, Yer 29:32 17Mu mwaka ogwo gw'ennyini, mu mwezi ogw'omusanvu nnabbi Kananiya naafa.

Currently Selected:

Yeremiya 28: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in