YouVersion Logo
Search Icon

Yeremiya 27

27
Yeremiya yeeyambika ekikoligo ky'ente
1Ku ntandikwa y'obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ekigambo kino ne kijja eri Yeremiya nga kiva eri Mukama nga kyogera nti, 2Bw'ati Mukama bw'aŋŋamba nti, “Weekolere ebisiba n'emiti egy'ekikoligo obiteeke mu bulago bwo;#Leev 26:13, 1 Bassek 22:11, Yer 28:10 3oweereze ekigambo eri kabaka wa Edomu ne kabaka wa Mowaabu ne kabaka w'abaana ba Amoni ne kabaka w'e Ttuulo ne kabaka w'e Sidoni, ng'oyita mu babaka baabwe abajja e Yerusaalemi okulaba Zeddekiya kabaka wa Yuda.#2 Bassek 24:17, Yer 25:21,22 4Balagire ebigambo bino eby'okutwalira bakama baabwe nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti, Mugambe bakama bammwe nti, 5Nze olw'obuyinza bwange obungi, n'omukono ogugoloddwa, nnakola ensi, n'abantu, n'ensolo ebiri ku nsi; era ngiwa oyo gwe nsiima.#Zab 115:15,16, Is 45:12, Yer 21:5, Dan 4:17 6Era kaakano ensi zino zonna nziwadde Kabaka Nebukadduneeza, kabaka w'e Babbulooni omuddu wange; era mmuwadde n'ensolo zonna ez'omu nsiko okumuweerezanga.#Yer 25:9; 28:14, Ez 30:25 7N'amawanga gonna galimuweereza ye ne mutabani we n'omwana wa mutabani we, okutuusa ekiseera kye nnategekera eggwanga lye lwe kiriggwaako, olwo nalyo ne liryoka liweereza amawanga mangi, aga bakabaka abakulu ne balyoka naye bamufuula omuddu.”#Yer 25:12,14; 52:31, Dan 2:37,38; 5:1,30 8“Awo olulituuka eggwanga n'obwakabaka abatalikkiriza kuweerezanga Nebukadduneeza oyo kabaka w'e Babbulooni, era abatalikkiriza kuteeka nsingo yaabwe wansi w'ekikoligo kya kabaka w'e Babbulooni, eggwanga eryo ndiribonereza, bw'ayogera Mukama, n'ekitala, n'enjala ne kawumpuli okutuusa lwe ndimala okubazikiriza n'omukono gwe. 9Naye mmwe temuwulirizanga bannabbi bammwe, newakubadde abafumu bammwe, newakubadde abaloosi, abalaguzi, oba abasamize bammwe ababagamba nti, ‘Temuliweereza kabaka w'e Babbulooni.’#Mat 18:10, Is 2:6, Yer 14:14; 29:8 10Kubanga bya bulimba bye babalagula, n'ekirivaamu mulitwalibwa wala n'ensi yammwe, ndigibagobamu, era mulizikirira. 11Naye eggwanga eririteeka ensingo yaabwe wansi w'ekikoligo kya kabaka w'e Babbulooni ne limuweereza, eggwanga eryo ndirireka libeere mu nsi yaabwe bo, bw'ayogera Mukama; era baligirima ne batuula omwo.”
12Awo ne ŋŋamba Zeddekiya kabaka wa Yuda ng'ebigambo ebyo byonna bwe byali nga njogera nti, “Muteeke ensingo zammwe wansi w'ekikoligo kya kabaka w'e Babbulooni, mumuweereze ye n'abantu be mubeere abalamu.#Yer 38:17 13Mwagalira ki okufa, ggwe n'abantu bo, n'ekitala, n'enjala ne kawumpuli, nga Mukama bw'ayogedde ku ggwanga lyonna eritalikkiriza kuweereza kabaka w'e Babbulooni?#Ez 18:31 14So temuwulirizanga bigambo bya bannabbi aboogera nammwe nti, ‘Temuliweereza kabaka w'e Babbulooni,’ kubanga babalagula kya bulimba. 15Kubanga sibatumanga, bw'ayogera Mukama, naye balagula bya bulimba mu linnya lyange; n'ekirivaamu nja kugibagobamu era mulizikirira, mmwe ne bannabbi ababalagula.” 16Era ne ŋŋamba ne bakabona n'abantu bano bonna nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Temuwulirizanga bigambo bya bannabbi bammwe ababalagula nga boogera nti, ‘Laba, ebintu eby'omu nnyumba ya Mukama binaatera okukomezebwawo nate okuva mu Babbulooni,’ kubanga babalagula kya bulimba.#2 Bassek 24:13 17Temubawulirizanga; naye muweereze kabaka w'e Babbulooni, mulyoke mubeere abalamu. Lwaki ekibuga kino kifuuka amatongo?#Yer 7:34 18Naye bwe baba nga bannabbi ddala, era n'ekigambo kya Mukama oba nga kiri nabo, beegayirire nno Mukama w'eggye ebintu ebisigadde mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ya kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi bireme okutwalibwa e Babbulooni.#Is 59:16, Dan 1:2 19Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, ebikwata ku mpagi, ne tanka, n'ebikondo by'ebinaabiro, n'eby'entebe, n'eby'ebintu ebirala ebyasigala mu kibuga kino,#2 Bassek 25:13 20Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni by'ataatwala bwe yatwala mu buwaŋŋanguse Yekoniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n'amuggya e Yerusaalemi n'amutwala e Babbulooni n'abakungu bonna aba Yuda ne Yerusaalemi;#2 Bassek 24:14,15, Yer 24:1-10 21weewaawo, bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, ku bikwata ku bintu ebisigadde mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ya kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi nti, 22biritwalibwa e Babbulooni, era biribeera eyo okutuusa ku lunaku lwe ndibajjira, bw'ayogera Mukama; kale ne ndyoka mbiggyayo ne mbikomyawo mu kifo kino.”#Ezer 1:7,8, Yer 29:10; 52:17,20,21

Currently Selected:

Yeremiya 27: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Yeremiya 27