Yeremiya 19
19
Ensumbi enjatifu
1Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Genda ogule ensumbi ey'ebbumba ery'omubumbi, otwale ku bakadde b'abantu ne ku ba bakabona abakulu;#2 Bassek 19:2, Yer 18:2, Ez 8:1 2ofulume okugenda mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ekiri awayingirirwa mu mulyango Kalusiisi, olangiririre eyo ebigambo bye nnaakugamba. 3Onooyogera nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe bassekabaka ba Yuda, nammwe abali mu Yerusaalemi; bw'atyo bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti, Laba, ndireeta obubi ku kifo kino, obulyanaamiriza amatu ga buli muntu alibuwulira.#1 Sam 3:11, Yer 17:20 4Kubanga bandekawo ne bakaafuwaza ekifo kino, ne bootereza omwo obubaane eri bakatonda abalala, be batamanyanga, bo ne bajjajjaabwe ne bassekabaka ba Yuda; era bajjuza ekifo kino omusaayi gw'abantu abataliiko musango;#Yer 1:16; 2:34, 2 Bassek 21:16 5era baazimba ebifo ebigulumivu ebya Baali okwokya batabani baabwe mu muliro okuba ebiweebwayo ebyokebwa eri Baali; kye ssiragiranga so saakyogera so tekinzijirangako na mu mwoyo gwange;#Leev 18:21, Yer 7:31-33; 32:35 6kale, laba ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, ekifo kino nga tekikyayitibwa nti Tofesi newakubadde nti Kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, naye nti Kiwonvu eky'okuttirwamu. 7Era mu kifo kino ndisaanyaawo okuteesa kwa Yuda ne Yerusaalemi; era ndibasuula n'ekitala mu maaso g'abalabe baabwe, era ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe; n'emirambo gyabwe ndigigabula okuba eby'okulya eri ennyonyi ez'omu bbanga n'eri ensolo ez'omu nsi.#Leev 26:17, Is 19:3 8Era ndifuula ekibuga kino ekyewuunyo era eky'okusoozebwanga; buli aliyitawo alyewuunya n'asooza olw'ebibonoobono byakyo byonna.#Yer 18:16 9Era ndibaliisa omubiri gwa batabani baabwe, n'omubiri gw'abawala baabwe, era balirya buli muntu omubiri gwa mukwano gwe, mu kuzingizibwa ne mu kunyigirizibwa abalabe baabwe, n'abo abanoonya obulamu bwabwe balibanyigiriza.’”#Leev 26:29, Ma 28:53, Ez 5:10 10“Awo n'olyoka omenya ensumbi eyo, abasajja abagenda naawe nga balaba,#Yer 51:63,64 11n'obagamba nti,‘ Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Era bwe ntyo bwe ndimenya abantu bano n'ekibuga kino ng'omuntu bw'amenya ekintu eky'omubumbi ekitayinzika kuyungibwa nate. Abasajja baliziika mu Tofesi kubanga tewaliba kifo kyonna kirala eky'okuziikamu.#Zab 2:9, Nge 6:15, Kung 4:2 12Bwe ntyo bwe ndikola ekifo kino, bw'ayogera Mukama, n'abakituulamu, nga nfuula ekibuga kino okuba nga Tofesi.#2 Bassek 23:10,12 13Ennyumba ez'e Yerusaalemi n'ennyumba za bassekabaka ba Yuda, ennyumba zonna ze baayotererezangako waggulu obubaane eri eggye lyonna ery'eggulu, era ne bafukira bakatonda abalala ebiweebwayo eby'okunywa, ziriba zoonoonese ng'ekifo Tofesi.’ ”#Ma 4:19, 2 Bassek 23:12, Yer 7:18; 32:29, Zef 1:5, Bik 7:42
14Awo Yeremiya n'ajja ng'ava e Tofesi Mukama gye yali amutumye okwogera ebigambo; n'ayimirira mu luggya olw'ennyumba ya Mukama, n'agamba abantu bonna nti,#2 Byom 20:5, Yer 26:2 15“Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti, Laba, ndireeta ku kibuga kino ne ku mbuga zaakyo zonna obubi bwonna bwe nnakirangirirako; kubanga bakakanyaza ensingo zaabwe, ne bagaana okuwulira ebigambo byange.”#Yer 7:26
Currently Selected:
Yeremiya 19: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: