YouVersion Logo
Search Icon

Yeremiya 18

18
Yeremiya ew'omubumbi
1Ekigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama, 2“Situka oserengete mu nnyumba ey'omubumbi, era eyo gye nnaakuwulizisa ebigambo byange.”#Yer 19:1 3Awo ne nserengeta eyali ennyumba ey'omubumbi, kale, laba, ng'akolera omulimu gwe ku bannamuziga. 4Awo ekintu kye yabumbanga bwe kyayonoonekeranga mu mukono gw'omubumbi, yaddiranga ebbumba, n'abumbamu ekintu ekirala ng'omubumbi bwe yasiimanga.#Yer 13:7
5Awo ekigambo kya Mukama ne kijja gyendi nga kyogera, 6“Ayi ennyumba ya Isiraeri, nze siyinza kubakola ng'omubumbi ono? Bwayogera Mukama. Laba, ebbumba nga bwe liri mu mukono gw'omubumbi, nammwe bwe muli bwe mutyo mu mukono gwange, ayi ennyumba ya Isiraeri.#Yob 10:9, Is 45:9; 64:8, Bar 9:21 7Singa mba njogedde ku ggwanga ne ku bwakabaka, nti ŋŋenda, okusimbula n'okumenya n'okuzikiriza;#Yer 1:10 8naye eggwanga eryo lye njogeddeko bwe lirikyuka okuleka obubi bwabwe, ndyejjusa obubi bwe nnali ndowooza okubakola.#Balam 2:18, Yer 26:3,13,19, Ez 18:21, Yon 3:10 9Bwe ndiba nga njogedde ku ggwanga ne ku bwakabaka, nti ŋŋenda, okulizimba n'okulisimba; 10naye bwe lirikola obubi mu maaso gange, ne batawulira ddoboozi lyange, kale ndikyusa obulungi bwe nnayogera okubakola. 11Kale nno gamba abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi nti, ‘Laba, nteesa obubi ku mmwe era nteeketeeka okubabonereza, mukomewo nno buli muntu ng'ava mu kkubo lye ebbi, mulongoose amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe.’”#2 Bassek 17:13, Yer 35:15 12“Naye bo ne boogera nti, ‘Tewali ssuubi! kubanga tunaatambulanga okugoberera ebyo bye twagunja ffe, era tunaakolanga buli muntu ng'obukakanyavu bw'omutima gwe omubi bwe buli.’ ”#Yer 2:25; 3:17
Abantu bava ku Mukama
13“N'olwekyo bwati bwayogera Mukama nti, Mubuuze nno mu mawanga, oba eriyo eyali awulidde ebigambo ebyenkana awo? Omuwala wa Isiraeri atamanyi musajja akoze ekigambo eky'ekivve ennyo.#Yer 2:10,11; 5:30 14Omuzira oguli ku Lebanooni guliggweerawo ku lwazi olw'oku ttale? Amazzi amannyogovu agakulukuta agava ewala galikalira? 15Kubanga abantu bange banneerabidde, booterezza ba katonda obubaane; beesittadde mu makubo gaabwe, mu makubo ag'edda, ne batambulira mu mpenda, ne mu kkubo eritali ssende;#Is 57:14, Yer 2:5,32; 6:16 16okufuula ensi yaabwe ekyewuunyo n'okusoozebwanga ennaku zonna; buli muntu anaayitangawo aneewuunyanga n'anyeenya omutwe gwe.#2 Byom 29:8, Yob 16:4, Zab 22:7, Yer 19:8, Kung 1:15, Mat 27:39 17Nga embuyaga eziva ebuvanjuba, ndibasaasaanya mu maaso g'abalabe baabwe. Nditunuulira amabega gaabwe so si mu maaso gaabwe ku lunaku mwe balirabira obuyinike.”#Zab 48:7, Yer 13:24, Ez 27:26
Olukwe ku Yeremiya
18Awo ne balyoka boogera nti, “Mujje tusalire Yeremiya amagezi; kubanga amateeka tegalibula awali kabona, newakubadde okuteesa awali ow'amagezi, newakubadde ekigambo awali nnabbi. Mujje tumukube n'olulimi era tuleme okussaayo omwoyo eri ebigambo bye n'ekimu.”#Yer 2:8; 5:31; 6:13; 9:8; 11:19
19Ssaayo omwoyo gyendi, ayi Mukama, owulire okwegayirira kwange.#Zab 35:1, Is 49:25 20Obubi bulisasulwa olw'obulungi? Naye basimye obunnya olw'obulamu bwange. Jjukira bwe nnayimiriranga mu maaso go, okuboogerera ebirungi, okukyusa ekiruyi kyo kibaveeko.#Zab 35:7; 57:6; 119:85 21Kale waayo abaana baabwe bafe enjala, obagabule eri obuyinza bwe kitala; bakazi baabwe bafiirwe abaana baabwe era babe bannamwandu; n'abasajja baabwe battibwe, n'abalenzi baabwe bafumitibwe n'ekitala mu lutalo. 22Okukaaba kuwulirwe okuva mu nnyumba zaabwe, bw'olibaleetako ekibiina kya banyazi nga tebamanyiridde; kubanga basimye obunnya okunsuulamu, era bakwekedde ebigere byange ebyambika.#Zab 140:5 23Era naye, Mukama, ggwe omanyi byonna bye bateesa okunzita; tosonyiwa bubi bwabwe, so tosangula kwonoona kwabwe mu maaso go, naye basuulibwe mu maaso go; obabonereze mu kiseera eky'obusungu bwo.#Nek 4:5, Zab 35:22

Currently Selected:

Yeremiya 18: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in