Ekyabalamuzi 6
6
Omulamuzi Gidyoni
1Awo abaana ba Isiraeri ne baddamu nate okukola ekibi mu maaso ga Mukama; Mukama n'abagabula eri Abamidiyaani ne babafugira emyaka musanvu (7).#Balam 2:19 2Abamidiyaani ne banyigiriza nnyo Abaisiraeri; abaana ba Isiraeri kyebaava beekolera obuyu ku nsozi okwekwekamu era n'ebekwekanga ne mu mpuku ne mu bifo ebyekusifu.#1 Sam 13:6 3Kubanga Abaisiraeri buli lwe baamalanga okusiga, Abamidiyaani n'Abamaleki n'abatuuze b'omu Buvanjuba baasitukiranga wamu ne babalumba.#Lub 29:1, Balam 3:13; 6:33; 7:12; 8:10, 1 Bassek 4:30, Yob 1:3 4Baabazindanga ne bazikiriza ebirime byabwe, okutuukira ddala okumpi n'e Gaaza, ne batalekangawo kya kulya mu Isiraeri, wadde endiga oba ente oba endogoyi.#Ma 28:30-33,51 5Bajjanga n'ente zaabwe n'eweema zaabwe, nga bali ng'enzige ezitabalika obungi, bo bennyini n'eŋŋamira zaabwe, ne bayingira mu nsi, ne bagizikiriza.#Balam 7:12 6Isiraeri n'ajeezebwa nnyo Abamidiyaani; abaana ba Isiraeri ne bakaabira Mukama.#Balam 3:7
7Awo abaana ba Isiraeri bwe baakaabira Mukama olwa Midiyaani, 8Mukama n'atuma nnabbi eri abaana ba Isiraeri n'abagamba nti, “Mukama, Katonda wa Isiraeri agamba nti, nnabaggya mu Misiri gye mwali mufugibwa obuddu;#Kuv 20:2, 1 Sam 10:18 9era n'abawonya obuyinza, bw'Abamisiri n'obuyinza obwabo bonna ababajogeranga mu nsi eno mwe muli, ne mbagoba mu maaso gammwe, ne mbawa ensi yaabwe;#Zab 44:2,3 10ne mbagamba nti, ‘Nze Mukama Katonda wammwe; temusinzanga bakatonda b'Abamoli ba nannyini nsi gyemutulamu,’ naye ne mutawulira ddoboozi lyange.”#Kuv 20:3-5; 23:24, Yos 23:7; 24:7; 24:15, 2 Bassek 17:35-38
11Malayika wa Mukama n'ajja, n'atuula wansi w'omwera ogwa Yowaasi Omwabiezeri: Gidyoni mutabani we yali mussogolero nga awuula eŋŋaano agikise Abamidiyaani.#Yos 17:2, Beb 11:32, Kuv 33:20 12Malayika wa Mukama n'amulabikira, n'amugamba nti, “Mukama ali wamu naawe, ggwe omusajja ow'amaanyi omuzira.”#Yos 1:5, Balam 13:3, Luk 1:11,28 13Gidyoni n'amugamba nti, “Mukama wange, oba Mukama ali wamu naffe, kale lwaki tutuukibwako bino byonna? Era eby'amagero byeyakolanga bajjajjaffe bwe batunyumizanga nti, ‘Mukama yabagya mu Misiri biri ludda wa?’ ” Naye kaakano Mukama atusudde, atugabudde mu mukono gwa Midiyaani.#Zab 44:1; 89:49, Is 63:15 14Mukama n'amutunuulira n'ayogera nti, “Genda n'amaanyi go gano, olokole Isiraeri mu mukono gwa Midiyaani; si nze nkutumye?”#Kuv 3:10-12, Yos 1:9, 1 Sam 12:11 15N'amugamba nti, “Ayi Mukama wange, Isiraeri ndimulokola ntya? Kubanga baganda bange be basinga okuba abanafu mu Manase, nange nze nsinga obuto mu nnyumba ya kitange.”#Kuv 3:11, 1 Sam 9:21; 18:18, Yer 1:6 16Mukama n'amugamba nti, “Mazima ndibeera wamu naawe, era olyanguyirwa okuwangula Abamidiyaani ng'awangula omuntu omu.”#Kuv 3:12 17N'amugamba nti, “Oba nga kaakano ndabye ekisa mu maaso go, kale ndaga akabonero nga ggwe wuuyo ayogera nange.#Kuv 4:1-8; 33:13, 2 Bassek 20:8,9, Is 7:11 18Nkwegayiridde tova wano, mmale okukuleetera ekirabo.” N'agamba nti, “Nja kubeera wano okutuusa lw'onookomawo.”#Lub 18:3-5, Balam 13:15 19Gidyoni n'ayingira, n'ateekateeka omwana gw'embuzi, n'emigaati egitazimbulukuswa ne efa ey'obutta; ennyama n'agiteeka mu kibbo, omucuuzi gwayo n'aguteeka mu kibya, n'abimuleetera wansi w'omwera, n'abimuwa.#Lub 18:6-8 20Malayika wa Mukama n'amugamba nti, “Ddira ennyama n'emigaati egitazimbulukuswa obiteeke ku jjinja lino, obifukeko omucuuzi gw'ennyama.” N'akola bw'atyo.#Balam 13:19 21Awo malayika wa Mukama n'agolola ekikolo ky'omuggo ogwali mu mukono gwe, n'akoma ku nnyama ne ku migaati egitazimbulukuswa; omuliro ne guva mu jjinja ne gwokya ennyama n'emigaati; malayika wa Mukama n'abulawo.#Leev 9:24, 1 Bassek 18:38, 1 Byom 21:26, 2 Byom 7:1 22Gidyoni n'amanya nga gw'alabye abadde malayika wa Mukama, n'agamba nti, “Zinsanze, ayi Mukama, Katonda, kubanga ndabye malayika wo maaso na maaso!”#Lub 32:30, Ma 5:26, Balam 13:21 23Mukama n'amugamba nti, “Emirembe gibe gy'oli; totya: tojja kufa.”#Dan 10:19 24Gidyoni n'azimbira Mukama ekyoto mu Ofula eky'Ababiezeri n'akituuma erinnya Yakuwasalumu;#6:24 Yakuwasalumu mu Lwebbulaniya kitegeeza Mukama gye mirembe. n'okutuusa leero kikyaliyo.#Lub 22:14; 33:20, Kuv 17:15, Yos 22:34, Balam 8:27,32
25Mu kiro ekyo, malayika wa Mukama n'agamba Gidyoni nti, “Kwata ente endala ennume ey'emyaka omusanvu (7), omenyewo ekyoto, kitaawo kye yazimbira Baali, otemeeteme n'empagi ya Asera eri okumpi nakyo.#Kuv 34:13, Ma 7:5; 12:3, Balam 3:7 26Ozimbire Mukama Katonda wo ekyoto waggulu ku kigo kino, ng'okozesa amayinja agatereezeddwa obulungi. Oddire ente eyo eyokubiri, oweeyo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuti gwa Asera gw'onootemaatema.” 27Awo Gidyoni n'atwala abasajja kkumi (10), ku baddu be, n'akola nga Mukama bw'amulagidde; naye olw'okutya ab'ennyumba ya kitaawe n'abasajja ob'omukibuga, n'atayinza kukola bw'atyo emisana, kyeyava akikola ekiro. 28Abasajja ab'omu kibuga bwe baagolokoka enkya mu makya, laba ekyoto kya Baali nga kimenyesemenyese, ne Asera akibadde okumpi ng'atemeddwatemeddwa, n'ente eyo eyokubiri ng'eweereddwayo ku kyoto ekizimbiddwa. 29Ne beebuzaganya nti, “Ani akoze kino?” Awo bwe baabuuliriza era ne bakemereza, ne boogera nti, “Gidyoni mutabani wa Yowaasi ye y'akikoze.” 30Awo abasajja ab'omu kibuga ne bagamba Yowaasi nti, “Fulumya mutabani wo tumutte, kubanga amenyemenye ekyoto kya Baali, era kubanga atemyetemye Asera akibadde okumpi.” 31Yowaasi n'agamba bonna abaamulumba nti, “Mwagala kuwolereza Baali oba mwagala kumulwanirira? Ayagala okumuwolereza wakuttibwa nga bukyali bwankya; oba nga ye Katonda yeewolereze, kubanga bamenyeemenye ekyoto kye.”#Ma 17:2-5, 1 Bassek 18:27 32Okuva olwo Gidyoni n'ayitibwa Yerubbaali, kubanga Yowaasi yagamba nti, “Baali yeewolereze kubanga ekyoto kye kyebamenye.”#Balam 7:1, 1 Sam 12:11, 2 Sam 11:21 33Awo Abamidiyaani bonna n'Abamaleki n'abatuuze ab'ebuvanjuba ne bakuŋŋaana wamu; ne basomoka omugga Yoludaani, ne basiisira mu kiwonvu eky'e Yezuleeri.#Balam 6:3 34Omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Gidyoni; n'afuuwa ekkondeere; Ababiezeri n'ebajja gy'ali.#Balam 3:10,27, 1 Byom 12:18, 2 Byom 24:20 35N'atuma ababaka okubuna Manase yonna; era nabo ne bajja gy'ali. N'atuma ababaka eri Aseri, Zebbulooni ne Nafutaali nabo ne bajja gyali.#Balam 7:23,24 36Gidyoni n'agamba Katonda nti, “Oba nga olirokola Isiraeri n'omukono gwange, nga bwe wayogera,#Balam 6:17 37laba bwe n'ateeka ebyoya by'endiga mu gguuliro; omusulo ne guba ku byoya byokka ng'ettaka lyonna kkalu, ne ndyoka mmanya ng'olirokola Isiraeri n'omukono gwange, nga bwe wayogera.” 38Awo bwe kyali bwe kityo. Awo Gidyoni bw'eyagolokoka enkya ku makya n'akamula ebyoya by'endiga ne muvaamu amazzi agajjuza ekibya. 39Gidyoni n'agamba Katonda nti, “Obusungu bwo buleme okumbuubuukirako, leka njogereyo omulundi gumu gwokka. Nzikiriza ngezese ebyoya by'endiga omulundi gumu gwokka, ku mulundi guno, ebyoya by'endiga bibe bikalu, ettaka lye liba litoba omusulo.”#Lub 18:32 40Ekiro ekyo, Katonda n'akola bw'atyo. Enkeera ku makya ebyoya by'endiga byokka bye byali ebikalu, ettaka lyonna nga lye litobye omusulo.
Currently Selected:
Ekyabalamuzi 6: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: