Ekyabalamuzi 5
5
Debola ne Balaki bayimbira Mukama oluyimba
1Debola ne Balaki mutabani wa Abinoamu ne bayimba oluyimba luno nti;#Kuv 15:1
2“Mumwebaze Mukama,
kubanga abakulembeze mu Isiraeri baamalirira okulwana, era n'abantu ne beewaayo nga beeyagalidde.”#2 Byom 17:16
3Muwulire, mmwe bakabaka; mutege amatu, mmwe abalangira;
Nze, nze, nnaayimbira Mukama;
Naayimba okutendereza Mukama, Katonda wa Isiraeri.
4Mukama, bwe wafuluma mu Seyiri,
Bwe wava mu nnimiro ya Edomu okutabaala,
Ensi n'ekankana, eggulu ne litonnyesa enkuba ng'efukumuka okuva mu bire,#Ma 33:2, 2 Sam 22:8, Zab 18:7; 68:7,8; 77:18, Nak 1:5
5Ensozi nezikankanira mu maaso ga Mukama,
Ggwe Sinaayi oli mu maaso ga Mukama,
Katonda wa Isiraeri.#Kuv 19:18, Zab 97:5, Is 64:1,3
6Mu mirembe gya Samugali mutabani wa Anasi,
Mu mirembe gya Yayeeri,
enguudo zeewalibwanga,
ng'abatambuze bayita mu mpenda.#Balam 3:31; 4:17, Is 33:8
7Ebyalo byafuuka matongo,
Okutuusa ggwe Debola bwe wajja,
nga nnyina wa Isiraeri.
8Abaisiraeri bwe baweereza bakatonda abalala;
Olwo entalo ne zibaawo mu Isiraeri.
Mu basajja emitwalo ena (40,000) Isiraeri,#1 Sam 13:19,22
Waliwo eyatabaala n'engabo oba n'effumu?
9Omutima gwange gubalowooza abafuga Isiraeri,
abeewaayo bokka mu bantu nga beeyagalidde.
Mwebaze Mukama.
10Mukyogereko, mmwe abeebagala ku ndogoyi enjeru,
Mmwe abatuula ku biwempe ebidalize,
Nammwe abatambula mu kkubo.#Balam 10:4; 12:14, Zek 9:9
11Muwulirize eddoboozi ly'abayimbi
abali ku nzizi za mazzi,
Boogera ku buwanguzi
Mukama bwe yawa Abaisiraeri.
Awo abantu ba Mukama ne bakumba nga balaga ku miryango.
12Zuukuka, zuukuka, Debola;
Zuukuka, zuukuka, okoleeze oluyimba!
Golokoka Balaki
mutabani wa Abinoamu,
kulembeeramu abasibe b'owambye!#Zab 68:18, Bef 4:8
13Awo abakungu abasigalawo
ne baserengeta
abantu ba Mukama ne baserengeta ku lulwe okulwanyisa ab'amaanyi.
14Mu Efulayimu n'evaayo abasibuka mu Amaleki;
nga bakugoberera ggwe Benyamini ne baganda bo.
Abaduumizi ne baserengeta nga bava mu Makiri.
Ate okuva Zebbulooni n'evaayo abakungu
abakwata omuggo gw'oyo asimbisa ennyiriri.#Kubal 32:39,40, Yos 17:1, Balam 12:15; 21:9,10
15N'abakulembeze ba Isakaali ne bajja ne Debola;
nga bali bumu ne Balaki,
ne bamugoberera mu kiwonvu.
Naye ab'ekika kya Lewubeeni baateesa ne batasalawo
oba nga banaagenda.#Balam 4:14
16Baasigalira ki mu bisibo by'endiga,
okuwuliriza emirere gye bafuuyira amagana?
Mu bitundu bya Lewubeeni waliwo okwenoonya okukulu okw'omu mutima,
ne batasalawo oba nga banaagenda.
17Ab'omu Kika kya Gaadi baasigala mitala wa Yoludaani.
Ab'omu Kika kya Ddaani baasigalira ki mu maato?
Ab'omu Kika kya Aseri baasirikira eri ku lubalama lw'ennyanja,
beesigalira ku mwalo.#Yos 13:24-28
18Zebbulooni be bantu abawaayo obulamu bwabwe okutuusa okufa,
Ne Nafutaali n'alwanira mu bifo eby'ensozi.#Balam 4:10
19Bakabaka balwanira e Taanaki
ku mazzi g'e Megiddo.
Bakabaka b'e Kanani balwana,
ne batafuna munyago gwa feeza.#Yos 17:11, Balam 1:27, 2 Bassek 23:29,30
20Emmunyeenye mu bbanga zaalwana
mu lugendo lwazo,
zaalwanyisa Sisera.
21Omugga Kisoni gwabatwalira ddala,
Omugga ogwo ogw'edda, omugga Kisoni.
Ggwe obulamu bwange, tambula n'amaanyi.#Balam 4:7
22Olwo embalaasi ne ziduma, ng'ebinuulo byazo
bisambirira ettaka!
23Mukolimire Merozi,
bw'ayogera malayika wa Mukama,
Mukolimire nnyo abaatuula omwo;
Kubanga tebadduukirira Mukama,
mu kulwanyisa ab'amaanyi.#Balam 21:9,10
24Aliba n'omukisa Yayeeri okusinga abakazi,
Muka Keberi Omukeeni.
Aliba n'omukisa okusinga abakazi mu weema.#Balam 4:17, Luk 1:42
25Yasaba amazzi, n'amuwa amata;
N'amuleetera omuzigo mu kibya eky'ekikungu.#Balam 4:19
26Yakwasa omukono enkondo,
Yakwasa omukono gwe ogwa ddyo ennyondo ey'omukozi;
N'akuba Sisera ennyondo, yakomerera omutwe,
Weewaawo, yamufumita ekyenyi enkondo n'eyitamu.#Balam 4:21
27Ku bigere bye n'akutama n'agwa n'agalamira;
We yakutamira we yagwira ddala ng'afudde.
28Nnyina Sisera yalingiza mu ddirisa n'ayogerera waggulu,
Nti ekirwisizza eggaali lye okujja kiki?
Kiki ekirwisizza eggaali lye okudda
29Abakyala be ab'amagezi ne bamuddamu,
Weewaawo naye neyeddamu yekka,
30Tebaluddeyo lwa munyago gwe bakuŋŋaanya bagabane?
Buli musajja omuwala omu oba babiri;
Engoye ennungi za Sisera,
nfuneyo ez'emidalizo nange?#Kuv 15:9, Zab 68:12
31Bwe batyo, ai Mukama abalabe bo bonna bazikirirenga;
Naye abo bonna abakwagala
babe ng'enjuba bw'evaayo mu maanyi gaayo.#Kubal 10:35, Balam 3:11, Zab 19:5; 68:1,2; 83:9,10, Dan 12:3, Mat 13:43
Awo ensi ne baamu emirembe okumala emyaka ana (40).
Currently Selected:
Ekyabalamuzi 5: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: