Bible App logo
Search Icon

Yakobo 3

3
Okwegendereza olulimi
1Temubeeranga bayigiriza bangi, baganda bange, nga mumanyi nga ffe abayigiriza tulisalirwa omusango ogusinga obunene.#Yak 1:19 2Kubanga ffenna tusobya mu bingi. Omuntu yenna bw'atasobya mu kigambo, oyo ye muntu eyatuukirira, ayinza okuziyiza era n'omubiri gwe gwonna.#Yak 1:26 3Naye bwe tuteeka ebyuma eby'embalaasi mu mimwa gyazo ziryoke zitugonderenga, tuyinza okufuga emibiri gyazo gyonna. 4Laba, era n'emeeri, newakubadde nga nnene bwe zityo, era nga zitwalibwa empewo ez'amaanyi, enkasi entono ennyo ye zigoba yonna yonna omugoba gy'asiima mu kwagala kwe. 5Era n'olulimi bwe lutyo kye kitundu ekitono, era lwenyumiriza nnyo. Laba, emiti emingi egyenkanidde awo okwokebwa akaliro akatono bwe katyo. 6N'olulimi muliro, ensi ey'obubi mu bitundu byaffe lwe lulimi, olwonoona omubiri gwonna, era olukoleeza nnamuziga w'ebitonde byonna, era olukoleezebwa Ggeyeena.#Mat 15:11,18,19; 12:36,37 7Kubanga buli ngeri ey'ensolo n'ennyonyi n'ebyewalula n'ebyennyanja bifugika era byafugibwa dda abantu. 8Naye olulimi tewali muntu ayinza kulufuga; bubi obutaziyizika, lujjudde obusagwa obutta.#Zab 140:3 9Olwo lwe tutenderezesa Mukama waffe ye Kitaffe; era olwo lwe tukolimiza abantu abaakolerwa mu kifaananyi kya Katonda.#Lub 1:27 10Mu kamwa ke kamu mwe muva okutendereza n'okukolima. Ab'oluganda, ebyo tekibigwanira kubeera bwe bityo. 11Ensulo ekulukuta amazzi amalungi n'agakaawa mu liiso erimu? 12Omutiini guyinza, ab'oluganda, okubala ezeyituuni, oba omuzabbibu okubala ettiini? So amazzi ag'omunnyo tegayinza kuvaamu malungi.
Amagezi agava mu ggulu malungi
13Ani alina amagezi n'okutegeera mu mmwe? Mu mpisa ennungi alagenga ebikolwa bye mu buwombeefu n'amagezi. #Yak 2:18, 1 Peet 2:12 14Naye bwe muba n'obuggya obukambwe, n'okuyomba mu mutima gwammwe, temwenyumirizanga so temulimbanga okuziyiza amazima.#Bef 4:31 15Amagezi gano si ge gakka okuva waggulu, naye ga mu nsi, ga buzaaliranwa, ga Setaani.#Yak 1:5,17 16Kubanga awaba obuggya n'okuyomba, we waba okutabuka na buli kikolwa ekibi. 17Naye amagezi agava waggulu okusooka malongoofu, nate ga mirembe, mawombeefu, mawulize, agajjudde okusaasira n'ebibala ebirungi, agatalina kwawula, agatalina bunnanfuusi.#Beb 12:11 18Era ekibala eky'obutuukirivu kisigibwa mu mirembe eri abo abaleeta emirembe.#Is 32:17, Mat 5:9

Currently Selected:

Yakobo 3: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in