Yakobo 2
2
Ekibi ky'okusosola
1Ab'oluganda, temubanga na kukkiriza kwa Mukama waffe Yesu Kristo ow'ekitiibwa, ate ne muba n'okusosolanga mu bantu.#1 Kol 2:8 2Kubanga bw'ayingira mu kkuŋŋaaniro lyammwe omuntu alina empeta eya zaabu ayambadde eby'obuyonjo, era n'omwavu ayambadde enziina n'ayingira,#Beb 10:25 3nammwe ne mwaniriza ayambadde ebyambalo eby'obuyonjo, ne mwogera nti, “Ggwe tuula wano awalungi,” era ne mugamba omwavu nti, “Ggwe yimirira eri,” oba “Tuula wansi awali ebigere byange;” 4nga temwawukanye mu mmwe mwekka, ne mufuuka abalamuzi ab'ebirowoozo ebibi? 5Muwulire, baganda bange abaagalwa; Katonda teyalonda abalina obwavu bw'omu nsi okubeeranga n'obugagga obw'okukkiriza, n'okusikira obwakabaka bwe yasuubiza abamwagala?#1 Kol 1:26, Luk 12:21 6Naye mmwe mwanyooma omwavu. Abagagga si be babajooga ne babawalula bennyini ne babatwala awasalirwa emisango? 7Si beebo abavuma erinnya eddungi lye muyitibwa? 8Naye bwe muba mutuukiriza etteeka lino eriri nga kabaka w'amateeka, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Oyagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka,” mukola bulungi.#Leev 19:18 9Naye bwe munaasosolanga mu bantu, nga mukoze kibi, ne musingibwa amateeka ng'aboonoonyi.#Ma 1:17 10Kubanga omuntu yenna bw'aba akwata amateeka gonna, naye n'asobya mu limu, ng'azzizza omusango gwa gonna.#Mat 5:19 11Kubanga oyo eyayogera nti, “Toyendanga,” ate yayogera nti, “Tottanga.” Kale bw'otoyenda naye n'otta, ng'ofuuse mwonoonyi w'amateeka.#Kuv 20:13,14, Ma 5:17 12Mwogerenga era mukolenga bwe mutyo ng'abagenda okusalirwa omusango n'amateeka ag'eddembe.#Yak 1:25 13Kubanga omusango tegubaako kusaasirwa eri atasaasira, naye okusaasira kuwangula omusango. #Mat 5:7; 18:30,34; 25:45,46
Okukkiriza okutalina bikolwa si kulungi
14Kigasa kitya, ab'oluganda, omuntu bw'ayogera ng'alina okukkiriza, naye n'ataba na bikolwa? Okukkiriza okwo kuyinza okumulokola?#Mat 7:21; 21:29 15Bwe wabaawo ow'oluganda omusajja oba mukazi nga bali bwereere, ng'emmere eya buli lunaku tebamala, 16era omu ku mmwe bw'abagamba nti, “Mugende n'emirembe mubugume, mukkute,” naye ne mutabawa omubiri bye gwetaaga; kigasa kitya?#1 Yok 3:17 17Era n'okukkiriza bwe kutyo, bwe kutabaako bikolwa, kwokka nga kufudde. 18Naye omuntu alyogera nti, “Ggwe olina okukkiriza, nange nnina ebikolwa.” Ndaga okukkiriza kwo awatali bikolwa byo, nange olw'ebikolwa byange nnaakulaga okukkiriza kwange.#Bag 5:6 19Okkiriza nga Katonda ali omu; okola bulungi, era ne badayimooni bakkiriza, ne bakankana.#Mak 5:7 20Naye oyagala okutegeera, ggwe omuntu ataliimu, ng'okukkiriza awatali bikolwa tekuliiko kye kugasa? 21Ibulayimu jjajjaffe teyaweebwa butuukirivu lwa bikolwa, bwe yawaayo Isaaka omwana we ku kyoto?#Lub 22:9,10,12 22Olaba ng'okukkiriza kwakolera wamu n'ebikolwa bye, era okukkiriza kwe kwatuukirizibwa olw'ebikolwa bye.#Beb 11:17 23Ekyawandiikibwa ne kituukirira ekyogera nti, “Ibulayimu n'akkiriza Katonda, ne kumubalirwa okuba obutuukirivu;” n'ayitibwa mukwano gwa Katonda. 24Mulaba ng'omuntu aweebwa obutuukirivu lwa bikolwa, so si lwa kukkiriza kwokka. 25Era ne Lakabu omwenzi bw'atyo teyaweebwa butuukirivu lwa bikolwa, kubanga yasembeza ababaka, n'abayisa mu kkubo eddala? 26Kuba ng'omubiri awatali mwoyo bwe guba nga gufudde, era n'okukkiriza bwe kutyo awatali bikolwa nga kufudde.#Yak 2:17
Currently Selected:
Yakobo 2: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.