YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 7

7
Obunnabi eri Yuda mu biseera bya kabaka Akazi
(7:1—12:6)
Isaaya awa kabaka Akazi essuubi
1Awo olwatuuka, Akazi mutabani wa Yosamu, muzzukulu wa Uzziya, bwe yali nga ye kabaka mu Yuda, Lezini kabaka w'e Busuli, ne Peka mutabani wa Lemaliya, nga ye kabaka mu Isiraeri, ne balumba Yerusaalemi okukirwanyisa, naye ne kibalema okuwangula.#2 Bassek 15:37; 16:5 2Bwe baabulira ennyumba ya Dawudi nti Obusuuli bwekobaanye ne Efulayimu, omutima gwa kabaka n'ogw'abantu be ne gunyeenyezebwa, ng'emiti egy'omu kibira bwe ginyeenyezebwa embuyaga.#Is 8:12
3Mukama n'alyoka agamba Isaaya nti, “Fuluma kaakano ogende ne mutabani wo Seyalusayubu, osisinkane Akazi, mu kifo omukutu gw'ekidiba eky'engulu we gukoma, ku luguudo olugenda ku nnimiro y'omwozi w'engoye.”#7:3 Seyalusayubu Mu Lwebbulaniya litegeeza, “Abatono balikomawo.” #2 Bassek 18:17, Is 36:2 4Omugambe nti, “Weekuume, kkakkana, totya, era toggwaamu maanyi. Obusungu n'obukambwe obwa Lezini n'Obusuuli, n'obwa mutabani wa Lemaliya, buli ng'omukka ogw'emimuli ebiri egiggweeredde, ogunyooka. 5Kubanga Obusuuli ne Efulayimu ne mutabani wa Lemaliya bateesezza bubi ku ggwe, nga bagamba nti, 6Ka twambuke tulumbe Yuda, tukiyuzeeyuze tukyegabanye, tufuule mutabani wa Tabeeri okuba kabaka waakyo. 7Naye bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda nti, Ekyo tekijja kubaawo, tekijja kutuukirira.#Is 8:10 8Kubanga Lezini afuga Busuli yekka n'ekibuga kyayo ekikulu Ddamasiko, Naye mu bbanga lya myaka enkaaga mu etaano (65), Efulayimu alibetentebwatentebwa nga takyayinza kuba ggwanga. 9Ekibuga ekikulu ekya Efulayimu ye Samaliya, ne kabaka wa Isiraeri ye Peka mutabani wa Lemaliya. Bwe muligaana okukkiriza, mazima temulinywezebwa.”#2 Byom 20:20
Akabonero ka Imanueri
10Awo Mukama n'atumira Akazi obubaka obulala ng'amugamba nti, 11“Saba Mukama Katonda wo akabonero, ne bwe kanaaba mu buziba oba mu bbanga waggulu.” 12Naye Akazi n'addamu nti, “Sijja kusaba kabonero, sijja kukema Mukama.” 13Isaaya n'ayogera nti, Muwulire kaakano, mmwe ennyumba ya Dawudi; kigambo kitono gye muli mmwe okukooya abantu era n'okwagala ne mwagala okukooya ne Katonda wange? 14Mukama yennyini kyaliva abawa akabonero; laba, omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wa bulenzi, era alituumwa erinnya lye Imanueri.#Is 9:6, Mat 1:23, Luk 1:31,34,35#7:14 Imanueri Mu Lwebbulaniya litegeeza nti, “Katonda ali naffe.” 15W'alituukira okwawula ekirungi n'ekibi aliba alya muzigo n'omubisi gw'enjuki.#7:15 Omubisi gw'enjuki Baibuli endala zikozesa amata n'omubisi gw'enjuki. Bino byali bikulu nnyo mu byafaayo bya Israeri. 16Era ekyo bwe kiriba tekinatuukirira, ensi ezo z'okyawamu bakabaka baazo ziriba zaabuliddwa.#Is 6:12; 8:4 17Mukama alikuleetako ne ku bantu bo, ne ku nnyumba ya kitaawo, ennaku ezitabangawo bukyanga Efulayimu eva ku Yuda. Ajja kubaleetera kabaka w'e Bwasuli.#1 Bassek 12:16, 2 Byom 28:20, Nek 9:32, Is 8:7,8 18Olunaku olwo nga lutuuse, Mukama alikoowoola Abamisiri okujja ng'ensowera, nga bava mu bifo eby'ewala, eby'oku mugga gwe Misiri, n'Obwasuli okujja ng'enjuki nga bava mu nsi yaabwe. 19Balijja bonna ne beeyiwa mu biwonvu ebyazika, ne mu mpuku ez'omu njazi, ne mu bisaka byonna eby'amaggwa, ne mu malundiro gonna. 20Ku lunaku olwo Mukama alimwesa akamwano akapangise ak'emitala w'emigga, ye Kabaka w'e Bwasuli, alibamwako enviiri ku mutwe, n'obwoya bw'okumagulu, alibasalirako ddala n'ebirevu.#2 Bassek 18:13-16, Is 8:7 21Olunaku olwo bwerulituuka, omuntu ne bw'aliba asigazizzaawo ente eyonsa ento n'endiga bbiri, 22amata amangi ge zirigabiza galisundwamu omuzigo: kubanga buli muntu aliba asigadde mu nsi eyo, anaalyanga omuzigo n'omubisi gw'enjuki.
23Era ku lunaku olwo, buli kifo awaabanga emizabbibu olukumi (1,000), buli gumu nga gwa sekeri lukumi (1,000), kiriba kisigaddemu myeramannyo n'amaggwa.#Is 5:6 24Abantu banaayiggiranga omwo n'emitego n'obusale, kubanga ensi yonna eriba ejjudde myeramannyo n'amaggwa. 25Obusozi bwonna okwalimwanga, buliba buzise ng'omuntu tasobola kutuukayo olw'okutya emyeramannyo n'amaggwa, naye waliba wa kusindikayo nte, n'okulinnyirirwa endiga.#Is 32:13,14

Currently Selected:

Isaaya 7: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in