YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 66

66
1Bw'ati bw'ayogera Mukama
nti, “ Eggulu ye ntebe yange,
n'ensi ye ntebe y'ebigere byange;
nnyumba ki gye mulinzimbira?
Era kifo ki ekiriba ekiwummulo kyange?#1 Bassek 8:27, Mat 5:34,35, Bik 7:49-50; 17:24
2Kubanga bino byonna omukono gwange gwe gwabikola,
era ebyo byonna ne bibaawo bwe bityo,
bw'ayogera Mukama.
Naye omuntu alina omwoyo oguboneredde
era ow'eggonjebwa era omwetoowaze
era akankanira ekigambo kyange ye wuuyo gwe nditunuulira.#1 Byom 29:14, Zab 34:18, Is 57:15
3Asala ente aliŋŋaanga atta omuntu;
awaayo omwana gw'endiga aliŋŋaanga amenyako embwa ensingo;
aleeta ekiweebwayo eky'empeke aliŋŋaanga awaddeyo omusaayi gw'embizzi;
era n'oyo anyookeza obubane bw'ekijjukizo, ali ng'oyo asabira ekifaananyi omukisa;
balonze amakubo gaabwe bo,
n'emmeeme yaabwe esanyukira emizizo gyabwe;#Yer 7:24
4Nange ndisalawo mbatuseeko ekibambulira,
ne mbaleetako ebyo bye batya;
kubanga bwe nnayita, teri n'omu eyayitaba;
bwe nnayogera tebaawulira;
naye ne bakola ekyali ekibi mu maaso gange,
ne balonda ekyo kye ssaasanyukira.#Is 65:12
5Muwulire ekigambo kya Mukama,
mmwe abakankanira ekigambo kye;
Baganda bammwe abaabakyawa,
abaabagoba okubalanga erinnya lyange,
boogedde nti, Leka Mukama aweebwe ekitiibwa
tulyoke tulabe essanyu lyammwe;
naye balikwatibwa ensonyi.
6Eddoboozi ery'okuyoogaana eriva mu kibuga,
eddoboozi eriva mu Yeekaalu,
eddoboozi lya Mukama
asasula abalabe be empeera.#Is 59:18
7Yali nga tannalumwa n'azaala;
obubalagaze bwe bwali nga tebunnatuuka
n'azaala omwana wa bulenzi.
8Ani eyali awulidde ekigambo ekifaanana bwe kityo?
Ani eyali alabye ebigambo ebifaanana bwe bityo?
Ensi erizaalwa ku lunaku lumu?
eggwanga liriva mu lubuto mulundi gumu?
Kubanga Sayuuni yali nga kyajje alumwe
n'azaala abaana be.
9Ndituusa okuzaalisa abantu bange ne ssizaaza?
Bw'ayogera Mukama;
nze azaaza ndiggala olubuto?
Bw'ayogera Katonda wo.
10Musanyukire wamu ne Yerusaalemi, mujaguze ku lulwe,
mmwe mwenna abamwagala;
musanyukire wamu naye olw'essanyu,
mmwe mwenna abamukaabirira,#Is 65:19
11mulyoke muyonke mukkute
amabeere ge agasanyusa;
mulyoke mukkutire ddala,
ekitiibwa kye ekisukkirivu.
12Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama
nti Laba, ndibunya emirembe gy'ali ng'omugga,
n'obugagga bw'amawanga ng'omugga ogwanjaala,
nammwe muliyonkako; muliweekerwa ku mbiriizi,
era mulibuusibwabuusibwa ku maviivi.#Is 48:18
13Ng'omuntu nnyina gw'asanyusa,
bwe ntyo bwe ndisanyusa mmwe;
ne musanyusibwa mu Yerusaalemi.#Is 51:12
14Era mulikiraba n'omutima gwammwe gulijaguza
n'amagumba gammwe galyera ng'omuddo omugonvu;
n'omukono gwa Mukama gulimanyibwa eri abaddu be,
era alisunguwalira abalabe be.#Ezer 8:22,31, Is 58:11
15Kubanga, laba, Mukama alijja n'omuliro,
n'amagaali ge galiba ng'empewo ey'akazimu;
okusasula obusungu bwe n'ekiruyi,
n'okunenya kwe n'ennimi ez'omuliro.#Zab 68:17; 97:3, 2 Bas 1:7-8
16Kubanga Mukama aliwoza na muliro
era na kitala kye eri bonna abalina omubiri,
era Mukama baalitta baliba bangi.#Yo 3:2
17Abo abeetukuza ne beerongoosa okugenda mu nsuku, emabega w'omu ali wakati, nga balya ennyama y'embizzi n'eky'omuzizo ekyo n'omusonso; baliggweerawo wamu, bw'ayogera Mukama.
18Kubanga nze mmanyi emirimu gyabwe n'ebirowoozo byabwe; ebiro bijja lwe ndikuŋŋaanya amawanga gonna n'ennimi; kale balijja ne balaba ekitiibwa kyange.#Zek 14:16 19Era nditeeka akabonero mu bo, n'abo abaliwona ku bo ndibatuma mu mawanga, eri Talusiisi, Puuli ne Luudi, abaleega omutego, eri Tubali ne Yavani, mu bizinga ebiri ewala, abatawuliranga ttutumu lyange, so tebalabanga kitiibwa kyange; kale balibuulira amawanga ekitiibwa kyange.#Bar 15:20,21 20Awo balireeta baganda bammwe bonna nga babaggya mu mawanga gonna okuba ekiweebwayo eri Mukama, ku mbalaasi ne mu magaali ne ku nnyinyo ne ku nnyumbu ne ku nsolo ez'embiro, awali olusozi lwange olutukuvu Yerusaalemi, bw'ayogera Mukama, ng'abaana ba Isiraeri bwe baleeta ekyo kye bawaayo mu kintu ekirongoofu mu nnyumba ya Mukama.#Is 14:2, Bar 15:16 21Era nditwala ne ku bo okuba ba Kabona n'Abaleevi, bw'ayogera Mukama.#Kuv 19:6
22Kubanga eggulu eriggya n'ensi empya
bye ndikola
bwe birisigala mu maaso gange, bw'ayogera Mukama,
bwe bityo bwe lirisigala ezzadde lyammwe n'erinnya lyammwe.#Zab 89:29, Is 65:17
23Awo olulituuka, okuva ku mwezi okutuusa ku mwezi,
n'okuva ku Ssabbiiti okutuusa ku Ssabbiiti,
bonna abalina omubiri banajjanga okusinziza mu maaso gange,
bw'ayogera Mukama.”#Zab 86:9, Zek 14:16
24“Kale balifuluma ne batunuulira emirambo gy'abasajja abansobezzaako: kubanga envunyu yaabwe terifa, so n'omuliro gwabwe tegulizikizibwa: era baliba kyenyinyalwa eri bonna abalina omubiri.”#Mak 9:48

Currently Selected:

Isaaya 66: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in