Isaaya 61
61
1 #
Leev 25:10, Luk 4:18,19 Omwoyo gwa Mukama Katonda guli ku nze;
kubanga Mukama anfuseeko amafuta
okubuulira abawombeefu ebigambo ebirungi;
antumye okusiba abalina emitima egimenyese,
okulangirira eddembe eri abawambe,
n'abasibe okuggulirwawo ekkomera;#Is 11:2; 42:1
2Okulanga omwaka gwa Mukama ogw'okukkiririzibwamu,
n'olunaku lwa Katonda waffe olw'okuwalanirwamu eggwanga;
okusanyusa bonna abanakuwadde;#Is 34:8, Mat 5:4
3okubateekerawo abanakuwalidde mu Sayuuni,
okubawa engule mu kifo ky'evvu,
amafuta ag'okusanyuka mu kifo ky'okunakuwala,
ekyambalo eky'okutendereza mu kifo ky'omwoyo ogw'okukungubaga;
balyoke bayitibwe miti gya butuukirivu,
Mukama gye yasimba, alyoke aweebwe ekitiibwa ye.#Zab 45:7, Is 60:21, Yok 15:8
4Kale balizimba ebyazika eby'edda,
baliyimusa amatongo agaasooka okubaawo,
era baliddaabiriza ebibuga ebyazika,
amatongo ag'emirembe emingi.#Is 58:12, Am 9:14
5Era bannamawanga baliyimirira ne baliisa endiga zammwe,
n'abagenyi be banaabalimiranga be banaabalongooserezanga emizabbibu.#Is 14:2; 60:10
6Naye mmwe muliyitibwa bakabona ba Mukama,
abantu balibayita baweereza ba Katonda waffe;
mulirya obugagga obw'amawanga,
ne mu kitiibwa kyabwe mwe mulyenyumiririza.#Kuv 19:6, Is 60:5,11,16, 1 Peet 2:9, Kub 1:6
7Mu kifo ky'ensonyi zammwe muliweebwa emirundi ebiri;
ne mu kifo ky'okuswala balisanyukira omugabo gwabwe;
kyebaliva babeera n'emigabo ebiri mu nsi yaabwe;
baliba n'essanyu eritaliggwaawo.#Zek 9:12
8Kubanga nze Mukama njagala obwenkanya,
nkyawa okunyaga wamu n'obutali butuukirivu;
era ndibawa empeera yaabwe ng'amazima bwe gali,
era ndiragaana nabo endagaano etaliggwaawo.#Is 55:3
9N'ezzadde lyabwe lirimanyibwa mu mawanga,
n'enda yaabwe mu bantu,
bonna abaabalabanga balibakkiriza
ng'abo ly'ezzadde Mukama ly'awadde omukisa.
10Nnaasanyukiranga nnyo Mukama,
emmeeme yange eneesanyukiranga Katonda wange;
kubanga annyambazizza ebyambalo eby'obulokozi,
ambisseeko omunagiro ogw'obutuukirivu,
ng'awasa omugole bwe yeeyonja n'engule,
era ng'omugole bwe yeewoomya n'eby'obuyonjo bwe.#Is 59:17, Kaab 3:18, Zek 3:4, Luk 1:46, Kub 19:8; 21:2
11Kuba ng'ettaka bwe lisansuza ekimuli kyalyo,
era ng'olusuku bwe lumeza ebyo ebisigibwa mu lwo;
bw'atyo Mukama Katonda bw'alimeza obutuukirivu n'okutendereza
mu maaso g'amawanga gonna.
Currently Selected:
Isaaya 61: LBR
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: