YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 60

60
1Golokoka, oyake, kubanga omusana gwo guzze,
n'ekitiibwa kya Mukama kikuviiriddeyo.#Mal 4:2, Bef 5:14
2Kubanga, laba, ekizikiza kiribikka ku nsi
n'ekizikiza ekikutte kiribikka ku mawanga;
naye Mukama alikuviirayo
n'ekitiibwa kye kirirabikira ku ggwe.
3N'amawanga galijja eri omusana gwo,
ne bakabaka balijja eri okumasamasa kwo ng'ovaayo.#Is 42:6, Kub 21:24
4Yimusa amaaso go omagemage olabe;
bonna beekuŋŋaanyizza wamu, bajja gy'oli,
batabani bo balijja nga bava wala,
ne bawala bo balisitulibwa mu mikono.#Is 49:18
5Awo n'olyoka olaba n'oyakirwa,
n'omutima gwo gulikankana ne gugaziyizibwa;
kubanga obusukkirivu obuli mu nnyanja bulikyusibwa gy'oli,
obugagga obw'amawanga bulikujjira.#Zab 34:5
6Olufulube lw'eŋŋamira lulikubikkako,
eŋŋamira eze Midiyaani ne Efa;
bonna balijja nga bava e Seeba;
balireeta ezaabu n'omugavu
ne balanga amatendo ga Mukama.#Balam 6:5, 1 Bassek 10:1, Mat 2:11
7Endiga zonna eza Kedali zirikuŋŋaanyizibwa gy'oli,
endiga ennume eza Nebayoosi zirikuweereza,
zinaalinnyanga ku kyoto kyange ne zikkirizibwa,
era ndissaamu ekitiibwa ennyumba ey'ekitiibwa kyange.#Is 56:7, Kag 2:7
8Bano be baani ababuuka ng'ekire
era ng'amayiba agadda mu bisu byago?
9Mazima ebizinga birinnindirira,
n'ebyombo eby'e Talusiisi bye birisooka
okuleeta batabani bo okubaggya ewala,
effeeza yaabwe n'ezaabu yaabwe wamu nabo,
olw'erinnya lya Mukama Katonda wo
n'olw'Omutukuvu owa Isiraeri,
kubanga ye yakussizzaamu ekitiibwa.#Is 2:16; 51:5; 55:5
10Era bannamawanga balizimba enkomera zo
ne bakabaka baabwe balikuweereza:
kubanga nnakukuba nga nkwatiddwa busungu,
naye nkusaasidde nga nkwatiddwa kisa.#Is 45:1,13
11Era n'enzigi zo zinaabanga si nzigale bulijjo;
teziggalwengawo misana n'ekiro;
abantu bakuleeterenga obugagga obw'amawanga
ne bakabaka baabwe nga bawambe.#Kub 21:25,26
12Kubanga eggwanga eryo n'obwakabaka
abatalikkiriza kukuweereza baliggwaawo;
weewaawo, amawanga ago galizikiririzibwa ddala.#Zek 14:17-19
13Ekitiibwa kya Lebanooni kirikujjira,
enfugo n'omuyovu ne namukago wamu;
okuwoomya ekifo eky'awatukuvu wange,
era ndifuula ekifo eky'ebigere byange okuba eky'ekitiibwa.#Is 41:19
14N'abaana b'abo abaakujooganga
balijja nga bakukutaamirira;
n'abo bonna abaakunyoomanga
balivuunama awali ebigere byo;
ne bakuyita kibuga kya Mukama,
Sayuuni eky'Omutukuvu owa Isiraeri.#Is 14:1,2; 49:23; 62:2,4, Kub 3:9
15Kubanga walekebwa n'okyayibwa
ne wataba muntu ayita mu ggwe,
ndikufuula okuba obulungi obungi
obutaliggwaawo, essanyu ery'emirembe emingi.#Zab 47:4, Is 65:18
16N'okuyonka oliyonka amata ag'amawanga,
era oliyonka amabeere ga bakabaka;
era olimanya nga nze Mukama ndi mulokozi wo
era mununuzi wo, Ow'amaanyi owa Yakobo.#Lub 49:24, Is 49:23
17Mu kifo ky'ekikomo ndireeta zaabu
ne mu kifo ky'ekyuma ndireeta ffeeza,
ne mu kifo ky'omuti ndireeta kikomo,
ne mu kifo ky'amayinja ndireeta kyuma;
era ndifuula abaami bo okuba emirembe
n'abakusolooza okuba obutuukirivu.#Is 58:3
18Ekyejo tekiriwulirwa nate mu nsi yo,
newakubadde okuzika newakubadde okuzikirira mu nsalo zo;
naye oliyita enkomera zo Bulokozi
n'enzigi zo Kutendereza.#Is 11:9; 26:1
19Enjuba si yeeneebanga
nate omusana gwo emisana;
so n'omwezi si gwe gunaakwakiranga olw'okumasamasa;
naye Mukama ye anaabeeranga gy'oli omusana ogutaliggwaawo,
era Katonda wo ye anaabanga ekitiibwa kyo.#Is 24:23; 30:26, Kub 21:23; 22:5
20Enjuba yo terigwa nate lwa kubiri
so n'omwezi gwo tegulyegendera:
kubanga Mukama ye anaabanga omusana gwo ogutaliggwaawo,
n'ennaku ez'okukungubaga kwo ziriba nga ziweddewo.#Is 35:10, Kub 21:4
21Era n'abantu bo banaabanga batuukirivu bonna,
balisikira ensi okutuusa emirembe gyonna;
ettabi nze lye nnasimba, omulimu gw'engalo zange
ndyoke mpeebwe ekitiibwa.#Is 52:1, Ez 37:25
22Omuto alifuuka lukumi (1,000)
n'omutono alifuuka ggwanga lya maanyi;
nze Mukama
ndikyanguya ebiro byakyo nga bituuse.#Kaab 2:3, Mat 13:31

Currently Selected:

Isaaya 60: LBR

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in